Eyaliko Ssenkagale wa FDC Col Dr. Kiiza Besigye ategeezezza nga bw'atali mwetegefu kuddamu kwesimbawo kubwa pulezidenti mu mwaka 2016, singa amateeka agafuga okulonda tegakyuukamu.
Kinajjukirwa nti Besigye yaakegeza ku ntebe y’obukulembeze kaakano enfunda 3 namba, wabula ng'akubwa kyabugazi, newankubade nga abadde addukira mu kooti okuwakanya ebivudde mu kulonda .
Kati Besigye atugambye nti okulonda kwonna tekulina makulu…
Kooti enkulu eriko omusajja owe myaka 30 gw'ekalize emyaka 18, nga ono emulanga kubba bodaboda.
Godwin Kanyaanya owe Namuwongo alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Elizabeth Alividza ,akakasizza nti yabba piki ya Simon Kalaharo.
Omusango guno kigambibwa ni yaguzza ng'ennaku z'omwezi 15 , omwezi gw'okubiri mu mwak aoguwedde nga piki eno nno yagikukunula mu kifo weyali esimbiddwa…
Abasuubuzi abakolera mu katale ka Usafi empooza ya buli mwezi ebazitoweredde nga abamu bagaala kwabuulira katale kano.
Abasinga ku bakolera mu katale kano beebasuubuzi abali ku nguudo wabula nga kati ebintu bibasobodde olw'empooza egaanye nga ate abaguzi ba lubatu mu katale kano.
Abasuubuzi bano basasula empooza ya mitwaalo munaana omwezi,okwo kw'ossa amazzi n'amasanyalaze.
Wabula ye omwogezi w’akatale kano …
Ministry y’ebyobulamu ekakasizza nga abantu b'omu masekkati g’eggwanga bwebali ab'okufuna obutimba bw’ensiri ku bwerere nga omwezi guno tegunaggwako.
Omwogezi wa ministry eno Rukia Nakamatte agamba disitulikiti ez'okuganyulwa mu kino kuliko Luwero Masaka, Mpigi and Rakai nendala nga ate disitulikiti okuli kampala ne wakiso zakuweebwa obutimba buno nga December tannaggwawko.
Bbo ab'omu buvanjuba bagabanye dda ku butimba obusoba…
Akulira abakozi mu kampala, Jeniffer Musisi ategezezza nga okulamba siteegi za bodaboda bwekugenda okukolebwa omwaka ogujja.
Ekitongole kya KCCA kyakukwatagana n’ebitongole ebikola ku by'okwerinda, saako n'abakiikirira abavuzi ba bodaboda okumaliriza enteekateka eno okwetoolola ekibuga.
Oluvanyuma bakutandika kawefube w'okubunyisa zi kabuuti eri abavuzi bano, ebikoofira by'okumutwe ziyite helmet saako n'okubateerawo ebisikirize ku siteegi zabwe.
Abagoba ba bodaboda abasoba mu…
Ebikumi n’ebikumi byabasubuzi bakyakonkomalidde ku nsalo ya Uganda ne Sudan olw'enkuba efudemba obutasalako.
Enguudo okuli oluva e Atyak – Nimule terukyayitikamu nga n’emmotoka zikwamye olw'okusalwako amazzi.
Okusinziira ku sabawandiisi w’ekibiina ekigatta, abavuzi ba zi baasi abakolera e South Sudan Willy Katende, abantu batandise okwonoona mu mazzi gano nga kati waliwo okutya nti endwadde eziva ku bujama zandibalukawo.
Wano w'asabidde…
Abayizi ba siniya ey'omukaaga abasoba mu mitwalo 11 olwaleero a batandise ebigezo byaabwe eby'akamalirizo mu masomero agasoba mu 1000.
Bano batandise n’ekigezo ky’ebyenfuna ekya Economics paper 1 ate olweggulo bakole paper 2.
Sentebe w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga ekya Uganda National exnationas board Fagil Mande agamba nti beteeseteese bulungi mu buli kimu nga nebakalabalaba b’ebigezo bano babayungudde dda…
Team y'abakyaala ey'okubaka eya SHE Cranes eyitiddwa okutandika okutendekebwa olunaku lwa leero nga tenagenda mu ggwanga lya Singapore ku nkomerero y'omwezi guno.
Team eno erimu abazanyi 18 era nga bagenda kwetaba mu kikopo ky'amawanga omukaaga eky'omuzanyo gw'okubaka.
Uganda eggulawo n'eggwanga lya America nga 1st omwezi gujja wabula ye omuwandiisi w'ekibiina ekikulembera omuzanyo gw'okubaka wano mu ggwanga, Annet…
Poliisi ezzeemu okulabula bannayuganda ku batujju
Senkaggale wa poliisi, Gen Kale Kaihura agamba nti afunye amawulire nti abatujju bagaala kulumba Garden city oba Nakumatt mu kampala.
Kaihura agambye nti bakyagenda mu maaso n’okwetegereza amawulire gano kyokka era n’asaba abantu okubeera abegendereza ennyo
N’ab’ekibiina ky’amawanga amagatte bayisizza okulabula abakozi baabwe nga babagaana okuyita mu bifo bino mu nnaku zino.
Amyuka…
Abantu bana beebafiiridde mu kabenje akagudde e Kakira ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga.
Akabenje kano kabaddewo enkya ya leero nga kavudde taxi no. UAT 875K etomeraganye ne ki Fuso ekibadde kitisse seminti
Aduumira poliisi ekola ku ntambula y’ebidduka, Edison Turamyomwe akabenje akatadde ku ndiima
Ki loole kino kyalemereddwa okusiba nekigwa mu kikko olwo nekikoona taxi.
Abagenze…