Omusajja eyazaalwa n’engalo 12 afuuse ensonga
Ono bw’omussa ku komputa awandiika ebigambo 100 mu ddakiika emu
Vijay Singh ng’alina n’ebigere 12 ateekateeka kusenguka okuva e Buyindi okudda mu Bungereza oluvanyuma lw’okulemererwa okufuna omulimu mu ggwanga lye.
Omusajja ono agambye nti yakasaba emirimu egisoba mu 50 nga teri amuwa kubanga bagaala bawala babalagavu
Kyokka era agamba nti ne mu buyindi…
Bulijjo bagamba nti ssi kirungi kweyingiza mu bitakwatako,
Kakati mu kibuga Florida, omukyala eyakubidde poliisi amasimu g’okumukumu ng’awaaba abantu ababadde batamiridde mu baala nebafuuka ebyeneena ate yye gwebasibye
Omukyala ono ow’emyaka 58 avunaaniddwa gwakumalira poliisi budde
Poliisi egambye nti ebbaala ebeera mu banywi era bamala nebatamiira ng’okubayita baduukirire kuba kumala budde
Omutendesi wa tiimu ya Arsenal. Arsene Wenger agamba nti tekikkirizikika nti bagenda kukwatagana ne Manchester united nga Sir Alex Ferguson ssi ye mutendesi.
Wenger ne Ferguson beebatandisi abaali basinga okuba abakulu kyokka nga yye Ferggie yawummula mu mwezi gw’okutaano
Arsenal ssinga ewangula omupiira guno ejja kutuuka ku bubonero 11 kyokka nga Wenger agamba nti kino kizibu…
Enkayaana eziri mu kibuga tezijja kuggwaawo okutuusa ng’etteeka likyuuseemu
Omubaka akiikirira abantu be Makindye mu buvanjuba, John ssimbwa agamba nti gavumenti nebw’enaleeta loodi meeya , ajja kukubagana ne Executive director kubanga etteeka likyaamu
Ono bino abyogedde oluvanyuma lwa loodimeeya okutegeeza nga bweyagudde mu lukw eng’agenda kujjibw amu ofiis ng’omwezi guno tegunaba kuggwaako
Omubaka Ssimbwa kyokka yye agamba nti…
Abawala abasangiddwa nga beerenze ku makubo bamalidde mu kkomera.
Prossy Sentongo ne Edith Nanteza bavunaaniddwa mu maaso g’omulamuzi Sarah Langa
Ba maama bano ababiri tebegaanye gwakulenga kaboozi
Basaliddwa ekibonerezo kya wiiki 2 nga bali mu kkomera
Bano nno kigambibwa nti nga 6th omwezi guno basangibwa nga beerenze kyokka ate nebatakoma awo nebatandika okukuba poliisi amayinja
Mu ngeri yeemu
Abatembeeyi abasoba nmu…
Aba Kampala capital city authority bagenda kuddamu okumenya ebizimbe ebitatuukagana na mutindo
Muno mwemuli ebizimbibwa nga tekuli makubo ga baziinya mooto ssinga omuliro gukwata, ebifo awasimba emmotoka nga n’ebirala eby’okuusa okuva ku pulaani eziba ziyisiddwa
Omwogezi wa KCCA, Peter Kawuju agamba nti ebizimbe nga bino bissa obulamu bw’abantu mu matigga
Ono agamba nti ba landiloodi abalina ebizimbe bino…
Ettaka lye Kasokoso lya gavumenti
Minista akola ku by’ettaka Daudi Migereko agamba nti ettaka lino erisangibwa ng’okyamidde e Kireka ku luguudo lwe kinnawattaka lya kkampuni ya National Housing Corporation.
Ettaka lino n’abatuuze abasoba mu lukumi abaliriko bagamba nti lyaabwe era baweze dda okufafagana n’omuntu anetantala okulisemberera
Minister akola ku nsonga z’ettaka Daudi Migereko agamba nti balina enteekateeka okuzimba…
Pulezidenti Museveni akubirizza bannayuganda okwekebeza okumanya webayimiridde mu nsonga za mukenenya
Kino pulezidenti agamba nti kyakuyamba okutegeera abalwadde era batandisibwe ku ddagala nga bukyaali.
Ono agamba nti endwadde ya mukenenya ekyaalian akakwate ku ku nneyisa y’omuntu ng’engeri endala omuyita obulwadde buno ng’empiso, omusaayi kko n’obuva ku ba maama nga budda ku baana zzo bazinogedde eddagala
Olwaleero pulezidenti Museveni…
Ebbula ly'obupiira bugalimpitawa lirumbye abe Kamuli.
Kino kikakasiddwa akulira enteekateeka y'okugabira abantu eddagala eriweweeza ku mukenenya e Kamuli George Kalembe.
Alaajanidde ekitongole kya National Medical Store okubaddukiria kubbula lyo’bupiira buno elimaze ebbanga lya myezi ebiri miramba.
Kalembe ategezezza Dembe FM nti kino kizingamizza omulimu ogw'okulwanyisa sirimu n’okujanjaba abalina akawuka ka Mukenenya.
Wabula yo ministry y'eby’obulamu egamba nti balina obupiira…
Abasawo 12 beebakwatiddwa lwa kwepena mirimu
Kino kisanyalazza emirimu ku ddwaliro lye sembabule nga tewaliiwo basawo
Akuliddemu ekikwekweto, Swaibu Bagendana agamba nti bafunye okwemulugunya okutali kumu okuva eri abakozi olw’okugendanga mu malwaliro nga teri basawo
Ono agamba nti abasing okukosebwa beebakyaala b’embuto n’abalina obulwadde bwa mukenenya abetaaga okulabirirwa n’okuweebwa eddagala naye nga tewali babakolako .
Wabula ate wabaddewo katemba,…