Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Akatale ka USAFI kakyaali kakalu

Abatembeyi ku makubo basabiddwa okugenda mu katale ka USAFI okukkalabya egyaabwe nga teri abakuba ku mukono Amyuka omwogezi w’akatale kano Mohammed Segwaanyi agamba nti emitwalo 150 gikyaali mikalu Ono agamba nti bakyayogeraganyaamu ne bannanyini katale okulaba nti bakendeeza ku nsimbi ezisasulwa buli mwezi. Mu kadde kano abasuubuzi basasula emitwalo 8 buli mwezi kyokka nga bangi zibalema olw'obungi.

Read More

Akafuba- Abe Iganga basetuuse

Abasawo mu distuliki ye Iganga bali mu kucacanca oluvanyuma lw’okukizuula nti abantu abekebeza obulwadde bw’akafuba beeyongeredde ddala Abaddukanya distulikiti eno bagamba basobodde okuzuula abantu 50 abalina akafuba ekibadde kitasoboka luli nga bazuulayo abantu 10 bokka Akulira ekiwayi ekirwanyisa obulwadde buno mu district eno, Joseph Iga kino akitadde ku kubangula kwebongedde okukola mu bantu Ono agamba nti balina n’enkola…

Read More

Akeedimo ke Kyambogo kayimirdde

Abasomesa b’ettendekero lye Kyambogo kyaddaaki basazizzaamu akeediimo kaabwe. Kino kiddiridde olukungaana wakati w'abasomesa bano ne minista omubeezi akola ku matendekero aga waggulu John Crizistom Muyingo . Gavumenti okusooka yategeezezza nga bweyabadde agenda  okuggalawo ettendekero lino saako n'okukangavvula abasomesa bonnaa abapika banaabwe obutadda mu bibiina. Bano babadde bawakanya eky’amyuuka chansala w’ettendekero lino Prof Isiah Omolo Ndiege okukomawo ku ttendekero…

Read More

Loodimeeya akwatiddwa

Loodimeeya w'ekibuga kampala, Salongo Erias Lukwago akwatiddwa. Lukwago abamukutte yakafuluma amaka ge e Wakaliga agakedde okwebulungulwa poliisi. Lukwago atwaliddwa ku poliisi ye Naggalama. Poliisi era ekutte akulira abakyala ba FDC Ingrid Turinawe abadde atuuse ku Nakivubo settlement awategekeddwa olukiiko. Wano abawera bakwatiddwa poliisi n'ebaggalira Ne mu division ye Makindye ku kyaalo Masajja bwegubadde nga nayo era poliisi ekozesezza omukka ogubagala…

Read More

Ababaka babazinzeeko, akatale ka Kisekka kaggaddwa

Poliisi esazeeko ababaka okuli  Mohammed Nsereko, Barnabas Tinkasimire, Joseph Sewungu, ne Theodore Sekikubo nga bano babadde mu katale ke wa kisekka. Ababaka bano babadde bagenze kukyalira basuubuzi mu kaseera nga beekalakaasa nga bawakanya eby'okusindikiriza loodimeeya Erias Lukwago Ababaka bano okuvanyuma baddukidde mu kifo kya little flowers kyokka ng'eno nayo poliisi ebetoolodde era obwedda abagoberera okutuukira ddala ku…

Read More

Loodimeeya gumusse mu vvi- ayuuga

Ebya  Lord Mayor, Erias Lukwago bibi. Akakiiko akabadde kawuliriza okwemulugunya kwaba kansala 17 nga baagala Lukwago agobwe mu ofiisi ye nti emirimu gimulemye kamusingisizza emisango. Mu gimu ku misango egisingisiddwa Loodi Mayor mwemuli ogw'okulemererwa okutuuza enkiiko za ba ansala ng'mateeka bwegalagira. Minister wa Kampala  Frank Tumwebaza  ategeeezza nga bw'agendaokuyita olukiiko lwaba kansala abatula ku lukiiko lwa KCCA mu…

Read More

Abakunganyizza okusaba omukwano

Omusajja amaze ssabiiti mukaaga nga yetegeka kusaba muganzi we okumufumbirwa kyadaaki akikubyeewo Lee Vernon apamgisa kwaaya namba , abazinyi kko n’abakumba nga balina bandi nga bano bayise ku nguudo ezitali zimu Bano obwedda buli gyebayita ng’abantu era batuukidde w’abadde ne muganzi we , bwaatyo afukamidde ku maviivi n’amusaba akkirize amufumbirwe. Omuwala ono mu ssanyu appitirivu agambye nti yye.

Read More

Abasomesa basitudde buto

Abasomesa okwetwoloola eggwanga lyonna nate bategeezeza nga bwebagenda okuddamu okuteeka wansi ebikola, singa gavumenti  tebanguyize musaala gwaabwe. Ssabawandiisi w'ekibiina ekibagatta James Tweheyo agambye nti gavumenti  kirabika nga ebazanyira ku bwongo , anti nabuli kati ekyagaanyi okutuukiriza byebakiriziganyaako nga bakomya akeediimo kaabwe. Ono agamba nti baali bakkiriziganya nti abasomesa baweebwe omusaala gwaabwe mu nnaku 28 zokka, wabula nakati…

Read More