Omuliro gukutte ekizimbe kya Cham Towers ku luguudo lwa Kampala.
Omuliro guno gutandikidde ku mwlairo gw’omwenda okuli amaduuka agatunda emmere ne banka
Akulira abaziinya mooto, Joseph Mugisa agamba nti tebannategeera kivuddeko muliro kyokka nga gwamaanyi.
Ono agamba nti tebannamanya bungi bw abingi biyidde naye nga bakukola alipoota
Guno mulundi gwa kubiri ng'ekizimbe kino kikwata omuliro
Olwaleero omu ku baduumizi b'abayeekera ba M23 Sultan Makenge yeewaddeyo eri eggye l'yeggwanga erya UPDF, nga azze nebanne baabadde aduumira .
Ofwono Opondo nga ono y'ayogerera gavumenti ya Uganda , atugambye nti Makenge ayitidde mu kuumiro ly'ebisolo erya Mgahinga National Park, era n'ayanirizibwa amaggye ga Uganda .
Bino webigyidde ga mu sabbiiti eno yenyini ,bano kyebajje bakiteeke…
Embaga kafuuka kaseera kakukola kyanjawulo era kino tekikoma mu Uganda wokka
Mu ggwanga lya Bungereza, abagole bakoze keeki mu bifananyi by’emitwe gyaabwe nga gitemeddwaako gibunye omusaayi okulaga nti kufa kwekuli bawukanya
Omugole omukyaala mufumbi wa keeki era nga yamaze essaawa 40 ng’ajjayo ekifananyi ky’emitwe egibunye omusaayi
Omukyala ono yagambye nti yasazeewo okulonda ekifananyi kya keeki kino kubanga akimanyi…
Akapiira ga galimpitawo akakasukiddwa okuyita mu ddirisa kagudde ku ndabirwaamu y’emmotoka nekagyaasa
Abagalana ababadde bagenze okwemalako ejjakirizi mu loogi eri waggulu ku kizimbe kya myaliro 20 beebakasuse akapiira kano oluvanyuma lw’okukakozesa.
Bino bibadde mu ggwanga lya China.
Nanyini mmotoka ono ayitiddewo poliisi nayo esitukiddemu era okusanga nga n’akapiira kano kakyaali ku ndabirwaamu.
Omusajja ono atanziddwa okuddabiriza endabirwaamu eno.
Omuwuwuttanyi wa tiimu ya Southampton, Jay Rodriguez alondeddwa okusamba mu tiimu y’eggwanga lya Bungereza omulundi ogusoose mu gw’okuzannyamu ogw’omukwano ne Chile kko ne Bugirimaani.
Abalala ku bassiddwa mu tiimu omulundi ogusoose kweli goolo kiipa wa Mancity, Joe Hart.
England egenda kuzannya Chile nga 15 omwezi guno, ate ekwatagane ne Germany nga 19.
Tiimu zombie z’ekwata zamala dda okuyitawo…
Loodi meeya Erias Lukwago agamba nti wakusigala ng’alwanira entebe y’obwa loodimeeya gy’agamba nti olukwe olugitwaala lwawedde
Lukwago agamba nti akitegeddeko nti oluvanyuma lw’okugaana okwetondera pulezident museveni , agenda kujjibwa mu ofiisi omwezi guno nga gavumenti ekozesa akakiiko akassibwaawo okunonyereza ku nneyisa ye.
Ono wabula agamba nti kino bagenda kukikola nga bayita mu kakiiko akamunonyerezaako.
Wabula aweze nti tajja…
Embeera ezze mu nteeko mu ttendekero lye Kyambogo poliisi gyeyakedde okwezooba n’abayizi.
Abayizi bano beekalakaasizza nga bagala kuddamu okusoma oba ssi kkyo ettendekero liggalweeewo
Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okubagugumbulula kyokka nga bawera nti tebannaluba, bagaala kusoma
Lwo olukiiko olutudde wakati w'abasomesa n'abakulira ettendekro lyaabuse tewali kituukiddwaako
Poliisi eweze okukwata omuntu yenna anagezaako okuleeta akavuyo ku kyaalo kye Kasokoso
Kino kiddiridde abatuuze okukkira ssentebe Mamerito Mugerwa nebamukuba emiggo nebateekeera n’emmotoka ya gavumeti omuliro
Amyuuka omwogezi wa poliisi, Patrick Onyango agamba nti bongedde abasirikale mu kitundu okulaba nti tewabaawo kavuyo konna
Kyokka era mu ngeri yeemu asabye abaayo okusigala nga bakkamu ng’ensonga zaabwe bwezikolebwaako.
Olutalo wakati wa…
Mu kawefube ow’okusikiriza abafumbo okwekebeza obulwadde bwa mukenenya, pulezidenti Museveni wakwebeza nga bali ne kabiite we Janat Museveni olunaku lw’enkya.
Ekiwandiiko ekivudde mu kakiiko akakola ku bya mukenenya kiraga nti pulezidenti kino agenda kukikolera ku ddwaliro lye Kiswa erisangibwa e Bugoloobi
Pulezident era wakukozesa akakisa kano, okusaba bannabyabufuzi, abazadde, bannadiini, abakulembeze ku byaalo na buli omu okumanya…
Oluvanyuma lw'abasuubuzi b'okuluguudo lwa Nasser Road okwekalakaasa amakya galeero, ekitongole kya masanyalaze ekya UMEME kirabuddwa obutalinda nga bantu kwekalakaasa okukola ku nsonga zaabwe.
Adumira poliisi y'omu bukiikakkono bwa Kampala Mike Mugabi agamba bbo nga abalondoola obutebenkevu n’ebyokwerinda kibabeerera kizibu okuyingira mu nsonga nga zino eziyinza okuggwa ng'abantu tebeekalakaasizza.
Ono aweze nti poliisi si yakuva mu kifo…