Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abasomesa e Kyambogo balemeddeko

Olukiiko wakati w’abasomesa be Kyambogo n’akakiiko akafuzi lwabuse ngatewali kikyuuse. Bano balemereddwa okutuuka ku kukkaanya kwonna era nga bakuddamu okusisinkana olunaku lw’enkya Olukiiko luno lubadde lugendereddwamu kufuna kyakuddamu ku nsonga ezaaviirako abasomesa okussa wansi ebikola kati nnaku 8 ng’abayizi tebasoma. Mu lukiiko luno abasomesa bakiremeddeko nga bwebatasobola kukola na Prof Omolo Ndiege nga kati bakutuula olunaku lw’enkya Bino byonna…

Read More

Okubala abantu kwa mwaka gujja

Gavumenti yakukozesa abantu abasoba mu kanaana okubala abantu mu ddimu eritandika omwaka ogujja Akulira ekitongole ekikola ku by’emiwendo Ben Mugyereza, agamba nti okuwandiisa abantu abakola okukola ku kuwandiisa abalala  nakwo kwakutandika omwaka ogujja nga kuva  ku mutendera gwa disitulikiti Ng’ayogerako eri bannamawulire , Mugyereza agambye nti gavumenti yabawadde dda obuwumbi 50 ku buwumbi 75 zebetaaga okukola omulimu…

Read More

Abe kasokoso bagenze mu kkooti

Abatuuze be Kasokoso enkayaana z’ettaka lyaabwe bazitutte mu kooti Ssentebe w'ekyaalo , David Mugalya agamba nti bataddewo ekibinja kya bannamateeka 20 okuyamba abatuuze okutaasa ettaka lyaabwe okuva mu mikono gy’ekitongole kya National housing corporation. Abatuuze bawakanya eby’okubasengula  nga bagamba nti ettaka lyaabwe era tebalina gyebalaga. Ebyo nga biri bityo yye omu ku baddusiddwa mu ddwaliro e Mulago afudde Ono…

Read More

Empaka z’ebirevu

Kyabadde kijjobi ng’abasajjja abakuza ebirevu ne biwola bakungaamye okukuza olunaku lw’abantu abalina enviiri mu maaso Omukolo guno gubaawo buli mwaka nga gukozesebwa okusiima abo abasinga okulabirira ebirevu byaabwe nokubissaamu stitayiro Omwaka guno abasajja 300 beebetabye ku mukolo guno ogwatandika okubaawo mu mwaka gwa 1999 mu ggwanga lya Bugirimaani.  

Read More

Omufere akwatiddwa

Poliisi ekutte omusajja abadde afera abagula ettaka. Ono aliko gweyabbyeeko obukadde 110 nga yefuula nnanyini ttaka. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Ibin Ssenkumbi agamba nti  Moses Lule wakuvunaanibwa gwa kukozesa lukujjukukku okunyaga abantu. Mu ngeri yeemu era poliisi etandise okuwandiisa taxi okumalawo obubbi bw’omu taxi obweyongedde

Read More

Kyambogo- Muddeeyo musomese

Abasomesa mu ttendekero lye Kyambogo balagiddwa okudda ku mirimu ku lw’okusatu luno awatali kwekwasa nsonga yonna. Kino kituukiddwaako ba memba ku kakiiko akatwala ettendekero abatudde olunaku lwaleero Bano era bakwasizza Prof Omolo Ndiege ebikola okuddayo ku mulimu gwe. Akulira akakiiko kano, Prof John Okedi agambye nti abasomesa bano basaanye okwerabira ebye mabega batandike buto. Bino bizze nga kati ennaku…

Read More

E Kyambogo, nnaku musanvu tebasoma

Kati ennaku 7 be ddu nga ettendekero lye Kyambogo liggale. Olwaleero abakulira ettendekero lino poliisi ne prof . Ndiege Omolo nga ono abasomesa bamusindikiriza okuva ku ttendekero lino basuubirwa okwetaba mu lukiiko  bateese okulaba ng'abayizi baddamu okusoma. Bano basooka kusisinkana lwa mukaaga kyokka nebatabaako webatuuka nga y'ensonga lwaki bazzeemu okutuula leero. Omu ku basomesa  Daniel Kigenyi agamba nti…

Read More

Ebigezo by’ekibiina ky’omusanvu bitandise

Ebibuuzo by’ekibiina eky'omusanvu bitandise olunaku lwaleero. Abayizi abasoba mu mitwalo 58 beebasuubirwa okutuula ebigezo bino okwetoloola eggwanga. Abayizi bano bakedde mu kigezo kya okubala ate olweggulo bakole Eddiini. Ssabawandiisi w’ekibiina kya ekikola ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations board (UNEB) agamba nti baasindise dda bakalondoozi b’ebibuuzo bino abasoba mu kanaana  okukuuma abayizi bano nga bakola ebigezo.  

Read More

Ono atunda mbuzi ye

Omuwala enzaalwa ye Russia embereera atunda mbuzi ye Shatuniha ow’emyaka 18 agamba nti kyeky’obugagga kyokka ky’ayinza okutunda n’ajjamu ensimbi zeyetaaga mu kadde kano. Ono agambye nti bw’aba kyamaguzi kipya ttuku ekitakozesebwanga era ng’abakyetaaga bandibadde bamuwa ensimbi zeyetaga. Embuzi eno egitunda Euro lukumi mu lusnavu mu ataano nga mu za wano, bwebukadde 61 n’ezigwaamu ziizo  

Read More

Wenger yewaaanye

Akulira tiimu ya Arsenal, Arsene Wenger agamba nti musanyufu nti basobodde okukakasa ensi nti bakyalimu ssupu. Kino kiddiridde Arsenal okukuba Liverpool goolo 2 nga yyo eyanjala ngalo Wenger agambye nti bagenze okuzannya nga bamaliridde oluvanyuma lw’okuwangulwa emirundi ebiri nga bali waka. Wenger agamba nti ate kyamusnayudde nyo nti bawangudde ne goolo entangaavu nga tewalikubuusabuusa tegwabadde mukisa wabula bumanyirivu.

Read More