Omuliro gukutte ebyuuma ebibunya amasanyalaze mu bitundu bye Mulago n’emiriraano.
Ebyuuma bino byebigaba amasanyalaze eri abe Kwempe, Nakulabye ne bizingiramu ne Kololo kko n'ebitundu ebirala.
Akulira ekifo kino, Hassan Hussein omuliro agutadde ku masanyalaze agaafunye obuzibu ku ddwaliro lya ba muzibe e Mulago
Obuzibu buno bwebuvuddeko tulansifooma okwabika omuliro negukwata.
DPC we Wandegeya, Julius Tusingwire wabula agamba nti basobodde…
Spiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga akakasizza nti Katikkiro wa Buganda ow'ekitiibwa Charles Peter Mayiga wakukyaala mu palamenti
Kamalabyonna agenda kuba akulembeddemu omulimu gw’okusonda ensimbi z’amasiro ge Kasubi ng’omulimu guno gugenda mu maaso okwetoloola ebitundu bya Buganda ebitali bimu.
Akulira akabondo k’ababaka abava mu Buganda, Godfrey Kiwanda ategeezezza bannamawulire nti katikiro tagenda kukyalira Baganda bokka wabula palamenti…
Ensimbi obukadde 6 zeezisondedwa olunaku olwaleero mu masiro e Kasubi.
Ensimbi zino ziwereddwaayo abantu okuva mu kibuga kye Kalisizo, awamu n’abantu sekinoomu.
Ate ebintu ebikalu omuli sementi ebitiiyo, obuuma obukebera ebibalirirwamu obukadde 4 byebiwereddwaayo,
Ye Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu bas Ssabasajja awatali okusosola mu myaka, oba ddiini okwongera okuwaayo ensimbi.
Okuva olunaku lw’eggulo obukadde obusoba…
Essimu eno efuuwa akawoowo ka kaawa era nga abamwagala ku luno ssi bakwekwasa
Okufuna akawoowo kano osobola okussaako akadde akapima obudde olwo buli kade wekakuba ng'akawoowo kafuluma
Essimu eno esobola n'okutambulira ku mukutu gwa Facebook nga buli lw'ofuna obubaka, ng'akawoowo kafumluma
Tiimu ya Uganda cranes yakuzannyamu ogw'omukwano n’abe Rwanda aba amavubi stars mu kwetegekera ekikopo kya CECAFA.
Omupiira guno gwakubeera mu kisaawe e Namboole nga 15 omwezi ogujja
Uganda cranes yakusooka kukwatagana ne Kenya nga 24 omwezi ogujja
Enteekateeka z’okuwaayo ekibangirizi awanasimba emmotoka z’ababaka ba palamenti ziwedde
Omulimu guno gubadde gugenda mu maaso okumala emyaka 2 n’ekitundu era nga guwemmense obuwumbi 36
Omwogezi wa palamenti, Hellen Kaweesa agamba nti ekibangirizi kino kigenda kusimbamu emmotoka ezisoba mu 500.
Poliisi yakusomesa abakuumi bonna ku ngeri y’okukozesaamu obuuma obukebera abantu.
Kiddiridde amateeka amapya agafulumiziddwa nga buli kifo ekikungaanya abantu kirina okubaako omukuumi n’obuuma obukebera
Akulira poliisi y’omu bitundu bya kampala mukadde, Moses Gobolo agamba nti bannanyini bifo bino bangi bajjumbidde naye ng’abakuumi benyini tebamanyi kyakukola
Eby’omuyimbi Irene Namubiru ssi birungi n’akatono.
Ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue authority emmotoka ye kika kya Toyota Landcruiser bagiwambye ng’akadde konna bagitunda lwa butawa misolo.
Abawooza bano bagamba nti Namubiru yakola ekivvulu ng’atongoza oluyimba mu mwaka gwa 2011 kyokka n’atasasula okutuusa kati
Akulira abakola ku babanjibwa Abdusalam Waiswa agamba nti ensimbi zino zizze zeeyongera okutuuka kati ku bukadde…
Munnabyabusuubuzi omugundiivu, David Katumwa akwatiddwa ng’atambulira mu muddo gwa KCCA.
Ono alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya cityhall, Sarah Langa era teyegaanye misango gino.
Omulamuzi amusalidde ekibonerezo kyakusasula emitwalo 2 egyabuliwo oba okusibwa sabbiiti 2 yadde nga ab’oludda oluwaabi basabye nti aweebwa ekibonerezo ekikakali
Kigambibwa nti nga 29 omwezi guno, Katumwa bweyali ku luguudo lwa Nile Avenue…
Poliisi mu district ye Nakasongola etandise okunoonya abatuuze abakakanye ku bantu 2 mu gombolola ye wabaale nebabakuba emigo egyabagye mu budde.
Bano babadde babalanga kubba nkoko.
Omwogezi w'ekitundu kya Ssezibwa Lameck Kigozi agamba nti omu ku bavubuka abakubiddwa yafiirddewo ate omulala afudde lwaleero
Kigozi avumiridde omuze gw'okutwalira amateeka mu ngalo ng'agamba nti abasinga okutta beebakwata nga babateebereza okubeera…