Abanene mu kibiina kya FDC bategezeza nga okuva kwa Maj Rubaramira Ruranga’s mu kibiina kino ,bwekitayinza kunafuya kibiina.
Kati olw’obutakkanya obweyongera okuyuza ekibiina kino abakulu bategezezza nga bwebalina essuubi mu lusirika lw’abakungu b’ekibiina kino olw'okubeerawo omwaka ogujja okusobola okwetereeza.
Okusinziira ku minisita w’ebyobulimi mu gavumenti y’ekisikirize Dr. Francis Epetait, ekibiina kyakweddabulula nga bayita mu kulonda.
Agamba nti era…
Nga ebula ennaku 3 zokka nsalesale w'okuwandiisa abavuzi ba boda boda aggweeko, abagoba ba bodaboda beeyiye ku mawandiisizo ag'enjawulo , era nga balabiddwako nga bali mu nkalalala.
Ebimu ku bifo bino mwemuli ku City Hall, Makindye, Kawempe, Lubaga, Nakawa neku kitebe kya division ya Kampala.
Gyebuvuddeko ab'ekitongole kya KCCA bategezezza nga bwebatajja kwongezaayo nsalesale w’okuwandiisa boda boda…
Abasomesa b'ettendekero lye Kyambogo baweze okutanula okwekalakaasa , singa amyukassenkulu'w'ettendekero lino agezaako okulinya ekigere ku tendekero lino.
Kino kisaliddwaawo mu lukungaana lw'abasaomesa bano ,oluvanyuma lwa kooti ye Nakawa okulagira Isaiah Omolo Ndiege adde ku mulimu.
Abasomesa bano bategezezza nti kooti y’asazewo nga okunonyereza tekunaggwa kale nga Ndiege tageza n'alinya ekigere ku tendekero lino.
Gyebuvudeko abakulira ettendekero basindika Ndiege…
Abakozi mu kkampuni ekola ogw'obukuumi eya Saracen abawererea dala 47 bagobeddwa nga bavunaanibwa kwekalakaasa
Bano batugambye nti ebbaluwa ebaweereddwa eraga nti balangibwa kulaga nti bagobeddwa lwakwetaba mu kwekalakaasa
Bino bigenze okugwaawo nga bano beekubira dda enduulu eri ekimu ku bibiina ebitaba abakozi ekya platform for labor action organization nga basaba buyambi.
Obulwadde bw'emitima
Abaana 20 beebalongoseddwa emitima mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Abaana bano balongooseddwa ku bwereere ekibinja kya basawo abawerede ddala 40 nga bano babadde bayiga kulongoosa kw’ekika kino.
Kawefube ono bannaRotary eya kampala mu bukiikakkono nga bali wamu n’ekibiina kya Gift of life beebamusakiridde
Minisita akola ku byobulamu, Dr Ruhakana Rugunda ategeezezza nga kawefube ono w’okutandika okulongoosa abantu…
Pulezident museveni alagidde aba ministry y’ebyobulamu okugula ebyuuma byonna ebyetaagisa ku dwaliro ekkulu e Mulago
Kino kizze ng’ebyuuma ebisinga birina ebizibu ,ebipya byebyetaagisa nga n’ebimu byatalagga dda.
Minista w’ebyobulamu, Dr Ruhakana Rugunda agamba nti batandise kawefube w’okugula ebyuuma bino okulaba nti eddwaliro litereera mu buli kimu
Rugunda agamba nti eddwaliro lino lifuna abalwadde bangi kyokka ng’ebyuuma bitono.
Omukadde ow’emyaka 86 akimazeeko ab’omu ggwanga lya China
Mukyala Tao ku myaka gye omusuubira kutuula awo nebalabirira naye ssi bweguli
Ono asobola okukola buli kimu omuli n’okubuukabuuka n’okutuuza 180
Ono nga wamulabye wewuunya kubanga asinga n’abato okubeera fiiti
Abadde akulira akakiiko k’eby'okulonda mu kibiina kya FDC ,munnamagye eyawumula Maj Rubalamira Ruranga ategezezza nga bwatejusa kusala diiro kuddayo mu kibiina kya NRM.
Ng'awayaamu ne Dembe FM, Ruranga ategezezza nga bw'amaze obulamu bwe obusinga nga atoba n’ekirwadde kya mukenenya nga ate pulezidenti naye abadde musaale mu kulwanyisa obulwadde buno kale nga yeetaga okumuwagira.
Ono ategezezza nga bweyejusa…
Ensonga z’omusawo eyalagajjalira omukyala w’olubuto n’afa zikutte wansi ne waggulu
Ekimu ku kibina ky’obwanakyewa ekya Center for Health, Human Rights and Development kyakukwanga akakiiko akakola ku nsonga z’abasawo ekiwandiiko ekiragira omusawo eyaavako omukyala ono okufa agobwe n’ebbaluwa zze zisazibweemu n’ensonga endala.
Akulira ekibiina kino Moses Mulumba agamba omusawo ono yeeyisa mu ngeri etali yakikugu era yetaaga okunonyerezebwako…
Abavubuka babiri bakwatiddwa mu kwelakaasa okubadde e Wandegeya.
Bano beebamu ku kibinja ky’abavubuka ababadde beekalakaasa nga bavumirira eky’okulwaawo okuweebwa emidaala mu katale
Bano era bagamba nti engeri ebintu gyebitambulamu kyeyolese nti abasuubuzi bangi bandiviiramu awo ssinga teberwanako
Wabula ssentebe w'akatale Mutesaasira Mawejje agamba nti tewali musuubuzi atagenda kufuna mudaala n’asaba abavubuka bano okubeera abagumikiriza