Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abaana bafiiridde mu muliro

Abaana babiri bafiiridde mu muliro e Kitakuta Gombe mu district ye wakiso Abaana bano ababadde abalongo naye ssibamigogo gyegimu babadde bafumba chai mu ffumbiro engoye zaabwe nezikwata omuliro Abagenzi kuliko Thomas Wasswa ow’emyaka 5 ne Geoffrey Waswa ow’emyaka 9 Taata w’abagenzi, Ssalongo Joseph Lutwama agamba nti abaana bano abadde abalese waka ng’agenze kulima ate nga Nalongo agenze kusaba

Read More

Abakulembeze e Masaka baboggodde ku sikaani

Ab’obuyinza mu district ye Masaka basabye gavumenti okusitukiramu okubafunira ekyuuma ekikola sikaani ekiggya. Kino kiddiridde ekyuuma ekibaddewo okufa nga kati abalwadde balina okunoonya gyebakolera sikaani nga tebannajjanjabibwa Omubaka w’ekibuga kye Masaka Mathius Mpuuga agamba nti ekyuuma kino kyafa dda ensonga nebazituusa ne mu palamenti naye nga tewali kikolebwa Olunaku lwajjo abakulira eddwaliro lino bategeezezza nga ekyuuma kino bwekyaafa…

Read More

Embeera mbi mu malwaliro

Embeera y'amalwaliro mu ggwanga ekyayungula amaziga Ababaka ba palamenti abali mu kulambula amalwaliro bakizudde nti mangi tegalina ddagala Awamu teliiyo mpiso n’obukozesebwa okusaako abantu omusaayi oba amazzi Kino kirabiddwaako e Mukono ne Jjinja Ate yyo e jjinja kiri bubi nnyo nga n’ekyuuma ekitereka ebikyaafu kyaafa dda. Ekyuuma kino kiterekebwaamu ebikyaafu ebibeera mu ddwaliro era nga kati ekisu kyekikwaniriza Ekifo kino kikozesebwa…

Read More

Okulwanyisa abatujju kugenze mu masomero

Mu kawefube w’okulwanyisa obutujju, amasomero g'omu kampala gonna galagiddwa okutekawo obuuma obukebera ku buli mulyango oguyingira nga n'abazadde bakukeberebwa nga tebanayingira masomero gano. Mu buufu bwebumu abasomesa era basabiddwa okubulira abayizi beebasomesa okubeera obulindaala n'okuteekawo ebibiina ebijja okutendekebwa mu kulwanyisa obutujju. Omuduumizi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi agamba kino kigendereddwaamu kutaasa abayizi bano nga…

Read More

Babatutte mu kkooti

Waliwo ekibiina  ky’obwanakyewa ekisazeewo okuwawalawala govt okutuka  mu mbuga za mateeka, nga eno bagiranga kuviirako kufa kw'omukyala eyabadde agenda okuzaala. Florence Nakamya kakano omugenzi ,yafa ku lunaku lwa Sunday, nga kigambibwa nti ono yalemererwa okusonda ensimbi ezaali ez’okumukolako mu kuzaala . Kati getufunye gooleka nga ekibiina ekya Center for Health, Human Rights and Development bwekisazeewo okutwaala gavumenti…

Read More

Obuwale obusengejja omukka

Bw’oba oli eyo nga gwe omu ku bayisiza empewo mu kitanda nga mwebase bakuleeteddeyo akapya Waliwo obuwale bw’omunda obukoleddwa nga buno bukwata omukka nebukendeeza ku buka bwaagwo emirundi bibiri. Akawale kano buli lw’okooza oyongeramu eddagala gwe n’obeera nga weetewuluza nga bw’oyagala. Omwogezi wa kkampuni ekoze obupale buno eya Shreddies mu Bungereza agamba nti ekigendererwa kuyamba bantu okukoma kwekuniza naddala…

Read More

Beckham yali afuuse nantagambwaako

Eyali omutendesi wa Manchester United, Sir Alex Fergusson avuddemu omwaasi ku nsonga za David Beckham Ferguson ng’ayogerako eri bannamawulire agambye nti Beckham yali awulira agezze nnyo n’okumusinga era nga yalina okweyongerayo Ono agambye nti yayawukana ne Beckham oluvanyuma lw’okumunenyaako ow’engeri gyebazanyamu mu kikopo kya FA, tiimu ya Arsenal emale ebawangule. Beckham, eyawangula ebikopo ya Premier 6 n’ebya FA…

Read More

Poliisi ekyalemereddwa

Negyebuli kati poliisi tennafuna alipoota ku kiyinza kuba nga kyeekyavuddeko okufa kw’omukyala we mukono ayafiiridde mu sanya Florence Nakamya yafiiridde mu mikono gya Dr Christopher Bingi eyamujje mu ddwaliro lya gavumenti n’amuzza mu lirye Omubaka akiikirira abantu be Mukono Betty Nambooze agamba nti babasuubizza nga alipoota eno poliisi bw’egenda okugifuna olunaku lwaleero naye nga kino tekibaddewo. Nambooze kyokka…

Read More