Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Okuwandiisa aba Boda- Bizzeemu okutiisatiisa

Okuwandiisa abagoba ba bodaboda kukyagenda mu maaso wakati mu kwemulugunya nti waliwo abatulugunya abo ate abeewandiisa. Poliisi egamba nti efunye okwemulugunya nti waliwo ogubinda ogutulugunya abeewandiisa nti babaliddemu olukwe. Akakiiko ka bantu basatu kassiddwawo okunonyereza ku ngambo zino kakole alipoota. Omu ku batuula ku kakiiko kano y’akulilira poliisi egatta ekitongole kino muntu wa bulijjo Anatooli Muleterwa. Bino bizze nga…

Read More

Ettemu mu kampala

Poliisi etandise okubuuliriza ku ttemu eryabadde e mutungo mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero Abasajja abatannaba kutegeerekeka ababadde babagalidde emmundu bakubye amasasi owa Bodaboda n;afiirawo olwo nebakuulita ne piki ye Omugenzi ategerekeseeko lya Junior nga bamusanze atudde ku lubalaza lw’edduuka lya mukwano gwe erisangibwa mu zone 3 e Mutungo. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, ibin Ssenkumbi agamba nti…

Read More

Obwavu, Katikkiro atongozezza akakiiko

Gavumenti ya ssabassajja kabaka e mengo ezze na nkuba mpya ng’ekigendererwa kati kyakulaba nti buli muntu afuna enkumi ssaatu olunaku. Okutuukiriza kino gavumenti eno egenda kuyita mu kibiina kya BUCADEF nga kino omulimu gwaakyo kutumbula Buganda Omulaka gussiddwa ku balimi nga wakiri buli maka galina okwewa ekigezo ekitunda ebyamaguzi ebinavaamue nkumi ssatu Ekigendereddwa mu kino kujja bantu mu…

Read More

Enguzi esusse

Alipoota efulumiziddwa ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abantu ekya Human Right Watch eraga nti gavumenti esuddeyo gw annaggamba okulwanyisa enguzi Alipoota esonze ku banene mu gavumenti abeezibika ensimbi z’omuwi w’omusolo naye nebasigala nga balya butaala Alipoota eno efulumiziddwa ku mulamwa ogugamba nti okukwata abatono bokka tekimala kulwanyisa nguzi Awansinze okusongebwa ye ofiisi ya ssabaminista awagambibw aokuba nti waliwo okubwebwebana ensimbi…

Read More

Abali mu kunywa eddagala lya Mukenenya beyongedde

Akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya aka Uganda Aids Commission agamba nti omuwendo gw’abafuna obulwadde bwa mukenenya gukendedde olw’abantu abali ku ddagala okweyongera. Akulira akakiiko kano, Dr Kiwummulo Apuuli agamba nti omuntu buli lw;abeera ku ddagala emikisa gye egy’okutambuza obulwadde bwa mukenenya gikendeera Mu myezi 12 egiggya, abantu 240 abapya beebagenda okussibwa ku ddagala ekijja okubasobozesa okuwangaala Mu…

Read More

Kokoolo w’emba mu baana

Kokoolo afubutukira mu mba yeeyakasinga okuluma abaana. Ebituntu 60 ku bantu abatwaliddwa ku ddwaliro lya kokoolo e Mulago baali baana. Ku baana bano 10 mukaaga balina kokoolo ono ow’omumba Omusawo ajjanjaba abaana, Dr Allen Namaala agamba nti obuzibu bwebasinze okusanga nti abazadde abaana babaleeta baweddeyo era batono abawona Kokoolo ono atandika okulabika ng’omuntu azimba emba n’obulago era ng’oluusi…

Read More

Gavumenti yetegekedde obulwadde obwakutte abalamazi

Emmeeza ey’enjawulo essiddwawo ku kisaawe Entebbe okukebera abantu abava emitala w’amayanja Mu bano kwekuli abalamazi okuva mu ggwanga lya Saud Arabia . Kiddiridde ekirwadde ekikosa okussa kw’omuntu ekimanyiddwa nga MERS okulumba abalamazi ng’abasoba mu 51 beebakoseddwa Omukungu mu ministry y’ebyobulamu ng’akulira ekitongole ekinonyereza ku ndwadde ezigwaawo, Dr Isa Makumbi agamba nti abantu bonna abanakomawo bakukeberwa,abanasangibwa nga  balwadde baweebwe…

Read More

Aba Pakistani babawenja

Poliisi eyisizza ekiragiro ki bakuntumye eri abasajja enzaalwa ze Pakistan abasobya ku muwala ekirindi Zaheer Mohammed ne Sadiq Muhammed badduka oluvanyuma lw’okusobya ku muwala ow’emyaka 23 ekirindi ne badduka Ekiwandiiko ekissiddwaako omukono gwa senkaggale wa poliisi gen Kale Kaihura kyooleka nga bano bwebetaagibwa ku misango gy’okukaka omuwala omukwano n’okumukabasanya mu ngeri ekontana n’ennono. Kaihura era asabye omuntu yenna…

Read More

Omwenge gwa Kkapa guzze

Abantu bangi badda ewaka nga bakooye n’akajjamu negabula era n’ekikoowukoowu bagwa eri ng’ekiyinza okubakkakkanya kunywaamu. Gujabagira ssinga omuntu abeera muwuulu nga ky’alina mu nju by'ebisolo omuli kkapa oba embwa naye nga tasobola kunywa nabyo kugabana ku bukoowu Kino ssikyakubaawo kati ng’abasogozi b’omwenge bakoze ogunyweebwa kkapa Omwenge guno guli mu ggwanga lya China nga gukolebwa kkampuni ya Band H…

Read More

Aba Taxi gibasula ku mitwe

Abakulembeze b'abagoba ba taxi  bali mu kutya nti omulimu gwaabwe gwandiggwaawo mu kibuga kamapala. Kino kiddiridde ekitongole kya KCCA okufunza paaka empya nga kati emmotoka nga 350 zokka zeezisobola okusimbamu. Sentebe wa bakondakita ne ba dereeva ba Taxi Mustapha Mayambala agamba nti aba KCCA bandiba n'ebigendererwa ebirala kubanga engeri gyeyazimbiddwaamu teraga nti yakusimbamu taxi. Bino webijidde nga pulezidenti…

Read More