Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Poliisi enywezezza eby’okwerinda

Ng’abatujju beeswanta, poliisi mu kampala eyiye basajja baayo okwetoolola ebifo ebikungaanya abantu abangi. Enkya ya leero poliisi etuuse mu buli kanyomero akalimu abantua bangi omubadde ne paaka za baasi. Aduumira poliisi mu bukiikaddyo bwa kampala, Michael Mugabi agamba nti bakusigala nga bakebera buli muntua yingira n’okufuluma okulaba nti tewabaawo bantu bakyaamu balumbs ggwanga. Mu ngeri yeemu minisita akola…

Read More

Ebya Nebanda bya mpuna

Agambibwa okuba nti yeeyali muganzi w’omubaka Celina Nebanda nga ye Adam Kalungi awunikirizza kooti e Makindye bw’ategeezezza nga bweyasuubizibwa obuwanana bw’ensimbi okukkiriza nti yeeyatta muganzi we Kalungi asoose kwegaana b'avunaanibwa nabo ng’agamba nti tabamanyi era bamulagira akkirize nti abamanyi kyokka nga yali tabalabangako. Ono agamba nti nga bamukwatidde e Mombasa, abapoliisi ba Uganda bamulagira okukkiriza nti baalinga…

Read More

Bad Black akwatiddwa

Mwana muwala omuli w'ensimbi  Bad Black akwatiddwa Black bamukwatidde Rwanda. Akulira poliisi y’ensi yonna mu Uganda, Assan Kasingye agamba nti ono baali bamuyisaako dda ekiwandiiko ki bakuntumye . Kasingye agamba nti abe Rwanda  basoose kumusoya bibuuzo nga bagenda kumusindika mu Uganda akadde konna Kasingye agamba nti Bad Black agenda kuggulwaako emisango emiggya egy'obutalabikako mu kooti Black avuunanibwa kubwebwena nsimbi za…

Read More

Ono akozesa balongo

Abantu bayiiya ngeri zakufunamu baguzi Ow’ekirabo ky’emmere mu Russia asazeewo kukozesa balongo bokka okuva olwaleero okusobola okusika ba kasitooma Bano abambaza ebifanagana olwo nebagabula abantu Ono agambye nti yalabye firimu ekwata ku balongo ng’eno yazanyibwa mu gyenkaaga naye bw’atyo kwekutandika okukozesa abalongo Ono agamba nti ba kasitooma bayiikabuyiisi okuva lweyakoze kino

Read More

Eyatta abantu wakusula Luzira

Omukuumi agambibwa okukuba amasasi mu bantu n’atta omu asindikiddwa e Luzira Deogratius Ilukori, nga mutuuze we Naguru aguddwaako gwa butemu Oludda oluwaabi nga lukulembeddwaamu Debora Itwau ategeezezza nga Ilukiri bweyatta Johnson Rukundu ng’ono kanyama ku baala ya Top Pub mu kampala. Omulamuzi Araali Muhirwa omukuumi ono amusindise e Luzira okutuusa nga 30 omwezi guno ng’okunonyereza ku musnago bwekugenda…

Read More

America erabudde ku batujju

Ab’ekitebe kya America mu Uganda balabuddee nti Uganda yandilumbibwa abatujju Kino kizze ng’abatujju ba alshabaab bakamala okukola obulumbaganyi ku Kenya abantu 67 bamale bafe Mu kiwandiiko kyebafulumizza, banio bagamba ntui kyebatannakakasa lwelunaku lwebanakola obulumbangayi era wa. Abno basabye abantu baabwe okubeera abegendereza ennyo n’owkewala ebifo ebikungaanya abantu abangi Senkaggale wa pliisi Gen Kale Kaihura gyebuvuddeko naye yayisa okulabula ntia…

Read More

Lunaku lwa bya bulamu bwa bakyala

Gavumenti esabiddwa okwongera amaanyi mu kumanya ebiruma abavubuka mu byobulamu. Okusaba kukoleddwa akabondo k’ababaka abasawo ne ba minista mu kabonga Uganda yegatta ku nsi yona okukuza olunaku lw’okukandula amaloboozo ku by’enzaala y’abakyala Akulira akabondo kano, Sylivia Namabidde agamba nti Uganda esingamu bavubuka kyokka nga ebyobulamu byaabwe naddala abawala tebissiddwaako mulaka Namabidde agamba nti kino kivuddeko abaana abawala okufuna…

Read More

Ebbaala efuuse kabuyonjo

Mu nsi eno buli muntu ayiiya w'ajja ssente okweyimirizaawo Mu kibuga kalifoniya omusajja asazeewo ebbaala ye kugiteekamu ntebe eziringa kabuyonjo Buli kimu okuviira ddala ku ntebe, esowani, ebijiiko, nebirala byonna ebyatereddwa mu baala eno byakoleddwa mu kifananyi kya kabuyonjo. Kati kuba ekifananyi nga omwenge oguwutiibwa mu giraasi efanana nga kabuyonjo. Ba kasitooma beeyunira ebbaala enoabasinga bajja kulaba ku kyebatalabangako…

Read More