Abasomesa kyadaaki bapondose nebetondera pulezidenti Museveni
Bano babadde basisinkanyeemu pulezidenti Museveni mu maka ge e Nakasero.
Pulezidenti ategeezezza nga gavumenti bw'ebadde mu kawefube w'okuyigga ensimbi ez'okubongeza omwaka ogujja
Pulezidenti akkirizza nti waliwo obuzibu bungi mu minisitule y'ebyenjigiriza nga waliwo abasasulwa omusaala mu bukyaamu kyokka nga kino kyakukolebwaako
Mu kusooka, akulira ekibiina ekigatta abasomesa, Margret Rwabushaija ayanjizza ensonga ezibaluma omuli…
Namutikkwa w'enkuba akadde okufudemba mu bitundu bye Masaka alese abantu 7 banyiga biwundu anti amaka agasoba mu 50 tegasigazza mmere
Omwogezi w’ekitongole kya Redcross Catherine Ntabadde atutegezeezza nti bagenda kwongera okunonyereza ku muwendo gw'abantu abakoseddwa enkuba eno.
Enkuba y’omuzira ezze nga egoya ebitundu by'omumasekati ga Uganda nga district ye Luweero, Masaka, Mubende , Rakai, ne Lwengo.
Poliisi eriko abasajja 2 b’ekutte nga bano nzaalwa ye Pakistan .
Bano kigambibwa okuba nga beebasobya ku mukyala munnayuganda ekirindi
Ono yali mukozi waabwe.
Abakwatiddwa ye Wangas Muhammed ne Ahmed Shabib nga bano omusango baguzza mu mwaka oguwedde.
Omuduumizi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi agamba nti abasajja bano baali bataano nga bakkakkana ku muwala ono era…
Kyadaaki poliisi eyabulidde amaka ga col Dr Kiiza Besigye nga muno mw'ebadde ekuumira abavuganya gavumenti , okuva akawungeezi akayise.
Bano bakwatiddwa poliisi olunaku lw'eggulo bwebekandazze nebabuulira awaabadde emikolo gy'ameefuga mu ku kisaawe e Rukungiri.
Wabula twogeddeko ne lord mayor wa kampala ssalongo Erias Lukwago , natutegeeza nti poliisi emaze n'egyawo emisanvu gyeyasizza mu maka ga Besigye
Olwaleero ekitongole kya KCCA kitandise okuwandisa bodaboda mu kampala.
Omukwanaganya w’enteekateeka eno Robert Kalumba atutegeezeza nti buli kimu kitambudde obulungi ,era nga mpaawo kavuyo konna kabaddewo mu bifo 24 ebyatereddwawo okuwandiisibwamu boda zino.
Mu bifo muno mwemuli ku ddwaliro lye Kyanja, ku kitebe ky'egombolola ye Nakawa, ne ofiisi zamagombolola ga KCCA gonna.
Kinajjukirwa nti bano akawungeezi akayise bakkiriziganyizza…
Kooti ey'okuntikko mu gggwanga eragidde ababaka abana abagobwa mu kibiina kya NRM ,okusigala nga bakiika mu parliament
Bakukikola okutuusa ng'emisango gyonna egibavunaanibwa giwedde okuwulirwa.
Aboogerwako kuliko Theodore Sekikubo, Banabas Tinkasimire, Wilfred Niwagaba and Mohammed Nsereko ,nga bano beekubira enduulu mu kooti eno, nga bawakanya ekyasalibwaawo kkooti etaputa semateeeka nga eno yali eragidde nti bagire nga nga bava…
Olwaleero Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okulaba
Olunaku luno lwassibwaawo okussa essira n’okujjukiza abantu ku bizibu ebiyinza okuviirako omuntu obutalaba
Muno mwemuli endwadde ezikwata amaaso negafa naye nga zisobola okwewalibwa
Abakugu mu nsonga z’amaaso bagamba nti okulya obubi oba okulya ebitali bituufu kyekimu ku bivaako abantu okuziba amaaso
Dr Vincent Karuhanga okuva ku ddwaliro lya Friends poly…
Abakyala abafuna okunyigirizibwa nga bali embuto bali mu bulabe bw’okuzaala abaana abanyigirizibwa nga bakuze
Abaana abaazalwa abazadde ab’ekika kino batera okutabukira ddala nebagwa n’eddalu
Okunonyereza okwavuddemu bino kwatunuulidde bamaama abawerera ddala kanaana abafuna okutawanyizibwa nga bali embuto
Embeera ku ggwanika e mulago yakusigala nga mbi okutuusa nga KCCA amaze okuddabiriza eggwanika lyaayo.
Aba KCCA bagamba nti eggwanika lyaabwe lyakuggwa okuddabirizibwa mu mwezi gw’okusatu omwaka ogujja.
Akulira eddwaliro lye Mulago, Dr Baterena Byarugaba agamba nti mu kadde kano tebalina kyakukolera mbeera eno.
Dr Byarugaba agamba nti eggwanika lino lyazimbibwa emyaka 51 emabega era nga telisobola kubeera…
Pulezident Museveni azzeemu okukinogaanya nga bwewatali musaala gwa kwongeza basomesa
Bw’abadde ayogerera ku mikolo gy’amefuga e Rukungiri, Pulezident agambye nti mu kadde kano gavumenti erina ebintu by’esimbyeeko essira omuli eby’obuzimbi n’amasanyalaze kko n’enguudo n'asaba abagaala owkongezebwa omusaala okubeera abagumikiriza.
Anyonyodde nti mu kaseera kano gavumenti tesobola kukwataganya bintu bingi ng'ensonga y'emisaala yyo yakugira ng'erindamu
Wabula emikolo gino ekyenjawulo…