Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abafunye akabenje bakyaali bubi

Abantu basatu  ku abo  24 abafunye ebisago mu kabenje ku luguudo oluva e Mbarara okudda e Bushenyi bakyali mu mbeera mbi ddala. Kuno kuliko  Rita Nasaasira, Fred Mugarura ne  Brian Akankwasa eyafunye ebisago ebya manyi ku mikono n’amagulu. Bano babadde mu baasi ye’kika kya Isuzu eyayambalaganye ne lukulunana ya kampuni ya cocacola eyabadde yetisse sooda. Adumira poliisi ye…

Read More

Omukazi omutemu

Poliisi e Bwera ekutte omukazi akutte omwana we ow'emyezi omwenda n'amugunda wansi enfunda nga ayagala kumutta lwa kitaawe kuganza  mukazi mulala. Irene Masika  omutuuze we Mpondwe Kasese y'akwatiddwa poliisi oluvanyuma lw'okwagala okutta omwana we ow'obulenzi. Poliisi yoomu kitundu kyekimu  ekutte omukozi w'awaka ow’emyaka 17 azadde omwana n'amusuula mu kabuyonjo. Ono abadde akolera mu  maka ga Wilson Mujungu omutuuze…

Read More

Ebigezo bya Siniya y’okuna bitandise

Abayizi ba siniya ey'okuna olwaleero lwebatanidse ebigezo byaabwe ebya kamalirizo Abayizi abasoba mu mitwalo 29 beebatudde  ebigezo bino okusinga ku mitwalo 26 abatuula omwaka oguwedde. Ebifo ebisoba mu mitwalo ebiri mu kanaana byebituuliddwaamu ebigezo okwetoloola eggwanga nga nebakalondoozi abasoba mu lukumi beebabaddewo okukuuma ebigezo Bbo abazadde balabuddwa obutawa baana babwe nsimbi mbu zakugula bibuuzo kubanga byonna ebitundibwa bikyaamu.

Read More

Omugole asazeeko enviiri

Abakyala bangi beesunga embaga zaabwe olw’okwagala okwambala batonnye Mu birala byebalowozaako ennyo zee nviiri era nga zino buli omu afuba okulaba nti y’asinga ennungi. Kati nno ono yye yewunyisa kubanga ku mbaga ye yasazeewo asale akawalaata okufanaana bba. Omukyala ono ow’emyaka 31 ategeezezza nti yakoma okusala enviiri nga wa myaka 16 era ng’akikoze ng’abanonero akalaga nti atandise bulamu…

Read More

Ekikopo Kya Eid

Nga abayisiramu bakuza Eid olunaku lw'enkya,wategekeddwaawo ekikopo kya Eid Aduha wakati wa team ya Express ne KCCA FC mu kisaawe e  Nakivubo. Nga omupiira ogw'ekikopo tegunazanyibwa, wagenda kusookawo omupiira ga bama Sheik ne ba Haji ku ssaawa munaana. Omugenyi omukulu ye Deputy Mufti, Sheik Mukulu wakika era abanawangula bakukwasibwa ekikopo ne Ente. URA FC beebasembayo okuwangula ekikopo kino…

Read More

Meddie Sentongo aweze

Munnabyabusuubuzi Meddie Ssentongo alemereddwa okukkaanya n’eyali bba wa muganzi  David Greenhag Green hagh ono nga yeeyali bba wa Bad black yawaaba mu kooti ng’ayagala Meddie omusasule obukadde bwa doola 3 Badblack bweyamujjako Meddie agambye nti tasobola kusasula nsimbi zino kubanga yye takolagana ngako na muzungu ono Meddie agamba nti bamusiba n’amalayo ekibonerezo kye era nga tasobola kukkiriza ate…

Read More

Omuwala eyakakakibwa omukwano afuney obuyambi

Minister akola ku nsonga z’ekikula ky’abantu  Karooro Okurut avumiridde ebikolwa by’obukambwe ku bakyala. Ono abyogedde akyaalidde omuwala eyakakibwa omukwano ekirindi ky’abasajja enzaalwa ze Pakistan. Karooro agambye nti ekyakolebwa ku muwala ono kyannaku era nga kibi nnyo Bbo ab’ekibiina kya Action Aid omuwala ono bamuwadde enyumba mw’agira ng’abeera olw’abamukka omukwano okumutiisatiisa nga bwebagenda okumutta Akulira eby'amawulire mu kibiina kino Samanya…

Read More

Omusajja asazeeko omwana we omutwe

Entiisa ebuutikidde abantu be Kikaramoja Waluba Jjinja omusajja bw’akkidde abaana be n’abatemateema Omuwala omu ow’emyaka 10 amutemyeeko omutwe ate omulala asobodde okumwesumattulako n’adduka Omusajja ono ategerekese nga Moses Olakol nga kigambibwa okuba ng'afunye obutakkaanya ne mukyala we essungu n'alimalira ku baana AKulira ekyaalo kye Kikaramoja, John Mwiru agamba nti omusajja ono bamusanze naye agenda kwetuga nebamukwata

Read More

Eby’abasiraamu bigaane

Kooti egaanye okuyisa ekiragiro ekiyimiriza ebigezo bya siniya y’okuna olunaku lw’enkya Ekibinja ky’abayisiraamu kibadde kiddukidde mu kooti nga kyagaala abayizi abayisiraamu bakkirizibwe okulya eid nga bali waka Abayizi beeboogerako beebali mu kukola ebigezo era siniya y’okuna Bano bakulembeddwaamu Sadic kakaire ne Isota Maguma gamba bagaala kooti eragire ab’ekitongole ky’ebigezo basazeemu ebigezo ebirina okubaayo enkya byongezebweeyo. Ab’ekitongole ky’ebigezo barangiridde nti…

Read More

Eddagala erigema mukenenya

Kawefube w'okugezesa eddagala erigema obulwadde bwa Mukenenya egenda bukwakku. Abagezesa batambuddeko ebitundu 50 ku kikumi yadde nga tebaatudde ddi lwebamaliriza omulimu. Okugezesa kuno kugenda mu maaso mu Kenya, Tanzania ne America Omuwi w'amagezi eri gavumenti ku by'okugema mu kibiina ky'ensi yonna ekikola ku byobulamu Dr Andrew Bakainaga agamba nti okugezesa kuno kwetabiddwaamu bannayuganda 42 n'abantu abalala 20 abavudde…

Read More