Abakuumi mu kkampuni Saracen bavudde mu mbeera nebeekalakaasa
Obuzibu musaala nga bafuna emitwalo 13 ne 14 zebagamba nti ntono nnyo ku mbeera nga bw'eyimiridde mu ggwanga
Abakuumi bano abasoba ku 400 bakedde kugumba ku ofiisi za Saracen ku Lugogo By-pass
Aduumira poliisi mu kampala n'emiriraano, Andrew Felix Kaweesi ayingidde mu nsonag zino era olukiiko lw'atuddemu n'abakulira kkampuni eno…
SSabasajja Kabaka ayagala wabeewo amateeka amakakali ku butonde bw’ensi
Ng’ayogerera ku mikolo gya bulungi bwa nsi ku mbuga ya ssekiboobo ,omutanda agambye nti wakyaliwo obwetaavu bw’amateeka okuzibikira ebituli ebiriwo.
Ayogedde ku nsonga ng’okusimba emiti ngagamba nti enteekateeka zino nnungi naye teziriiko kulungamya ng’ayagala y’azitumbula
Emikolo gino gimaze ennaku esatu nga gikwajja era nga lukwatagana n'obwetwaaze bwa Bukwatibwa obukwatibwa…
Pulezidenti museveni azeemu okulagira loodii meeya Erias Lukwago yetonde.
Ng’aggulawo paaka empya erudde ng’ekolebwa, pulezidenti agambye nti tagenda kuweera okutuusa nga Lukwago amaze okwetonda
Pulezident era yewaanye okuba ng’amaanyi agasinga yagawa akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi gw’asiimye okukola emirimu kinnawadda
Bino pulezident agenze okuddamu okubyogera nga ne Lukwgao ayogerako eri bannamawulire bw’asabiddwa pulezident okukoma okumujooga
Bbo aba Taxi…
Ebinyiiza mu nsi tebiggwaayo.
Omukozi mu uspermaket yekyaaye ebintu by’abadde yakamala okupanga byonna bwebiyiise
Ekisinze okumujja mu mbeera be bakyala babiri abazze nga bakebera ebintu bino nebabitataganya era gyebigweredde nga biyiise
Ekisinga omunyiiza nti ate olumaze okukola kino nebatambula nga tebalina kyebaguze
Wali oyogeddeko n’omuntu ng’acuuma akamwa.
Buli muntu ndowooza teyadyagadde kufulumya mukka mubi naddala nga guyita mu kamwa oba mu nyindo
Ekirungi nti embeera eno ssiyalubeerera era esobola okuwona.
Omukka guno nno guva mu kamwa , mu kibuno, mu mannya ne ku lulimi
Dr. Jeffrey Spiegel okuva mu America , agamba nti omukka guno guyinza okwewalibwa ssinga omuntu asenya amannyo…
Amyuuka sipiika Jacob Olanya apondose neyetonda
Ono bw’abadde ayogerako eri ababaka mu lutuula lwa leero yetonze olw’akavuyo akaaliwo ng’omubaka Semuju Nganda afulumizibwa palamenti
Ono wabula agambye nti yakikola kulaba nti tewabaawo ffujjo lyonna era nga akyayogeraganyaamu n’akulira abavuganya mu palamenti
Olanya era akkirizza ababaka bonna abasongwaamu ennwe okuddamu okuteesa yadde nga tebetonze.
Ababaka kino bakyanirizza nebamusaba obutaddamu kuwuba
Omusajja eyasobya ku mwana muzibe asibiddwa emyaka 30
Ronald Kule yasobya ku muwala ono ow’emyaka 15 ng’ono yakozesa akakisa nti talaba ate nga tawulira
Omusajja ono ow’ettima kigambibwa okuba nga yabaza omuwala ono ng’ali mu kinaabiro n’amugwiira.
Omulamuzi wa kooti enkulu e Kasese Dan Akiiki Kiiza agambye nti omuwawabirwa amuwadde ekibonerezo kikakali kubanga alimbey kooti ate nga n’omusango…
Abantu bangi bafuna ebizibu nebamenyekako emikono.
Kati nno okweralikirira kukome anti ab’eddwaliro e Mulago baleese emikono egyekimpatiira naye nga gino gikola buli kimu okwawukanako n’egibaddewo
Omukono guno ogugabwa e Mulago ku bwereere omuntua sobola okugukozesa okuwandiika okusitula omwana n’ebirala
Abantu bataano bafiiriddewo mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu
Ababaddewo n’akabenje kano kagwaawo bagamba nti emmotoka ye Makerere ekonaganye n’endala eya MTN
Abasatu ku bafudde babadde ba mtn ate 2 ne Makerere.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi agamba nti emirambo gya bano gitwaliddwa mu ddwaliro e Mulago ng’okunonyereza bwekugenda mu…
Abayizi ba yunivasite emanyiddwa nga Kaposvár basazeewo okwekalakaasa nga bali buswa nga bawakanya amateeka amapya agaleeta enyambala enkakali.
Abayizi bano babadde bagaaniddwa okwambala enkunamyo, n'okwemyuula nga bagenda mu bibiina
Yunivasite eno esangibwa mu ggwanga lya Hungary
Abayizi bano basoose kwekubisa nga bali mu ngoye n’oluvanyuma nebeyambula nga bayingira mu bibiina okusoma