Omwana ow’emyaka esatu gyokka atavuga ndogoyi bitooke byebigwa afuuse ekyerolerwa
Omwana ono amanyiddwa nga Harry Edwards agenda kuvuga endogoyi eno ku lw’okusatu ku bikujjukukko by’okuvuga endogoyi mu ggwanga lya Bungereza
Omwana ono ekyewunyisa nti muto nnyo tannaba na kutandika kusoma kyokka nga buli omu amulinze kulaba ng’avuga endogoyi eno kubanga bangi bawulira muwulire
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri olwaleero asiibye mu ssaza lye erye Kyaggwe
Omutanda abadde atongoza mikolo gya bulungi bwa nsi ng'eno asimbyeeyo n'emiti.
Omutanda yasiimye okwetaba mu mikolo egya bulungi nga gino gikwatagana n’obwetwaaze bwa Buganda obukwatibwa nga 8 omwezi ogw’omunaana
Emikolo yadde gibaddemu enkuba eya maanyi tekirobedde bantu kugigumira okwaniriza beene mu ssaza lino
Emikolo gino gifundikiddwa…
Pulezident Museveni alumbye bannabyabufuzi abalemesa enteekateeka za gavumenti naddala mu Kampala
Ng’aggulawo akatale ke Wandegeya , president agambye nti tagenda kukkiriza muntu yenna ayimirira mu nteekateeka za nkulakulana
Ng’asonga mu babaka abaagobwa mu kibiina kya NRM, Pulezidenti era agambye nti ababaka bano bagobwa mu kibiina kubanga baali battattana butattanyi mu kifo ky’okuzimba.
Mu ngeri yeemu asabye loodi meeya…
Omwoleso gwa bannamakolero e Lugogo guyingidde olunaku lw’ekkumi n’olumu
Yadde nga guno gukulunguludde ennaku, abantu tebannajjumbira nga bulijjo.
Abamu ku boolesa betwogedde nabo kino bakitadde ku nkuba etonnya n’okutya okuliwo olwa bbomu.
Ate abalala bagamba nti n'abantu bayitiridde obwavu.
Enkuba eya maanyi etonnye e Mubende erese abantu beemagazza
Abasinze okukosebwa be Madudu nga bano tebasigazza mmere , ebisolo n’amayumba
Omwogezi w’ekitongole ekiddukirize ekya Uganda Redcross Catherine Ntabadde agamba nti basindise ekibinja kyaabwe okwongera okutegeera engeri abantu gyebakoseddwaamu balabe engeri y'okuyambamu
Poliisi mu Kampala emaze n’ekwata omusajja , agambibwa okukuba amasasi mu bantu ku baala eya Top bar.
Akwatidwa ategerekesse nga Deogratius Ilukol nga ono mukozi mu kkampuni eya Hash security era ng'ono y'abadde akulira ekitongole ekikuuma eby'okulwanyisa
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emirirano Ibin Ssenkumbi agamba nti okunonyereza kulaga nga Ilukol bweyafunye obutakkaanaya okuviira ddala ku muwala gweyaleese…
Ekiri mu ggwanika ly'emirambo mu ddwaliro e Mulago kibi nnyo.
Ekisu kyekyaniriza agendayo, ebyuuma ebinyogoza tebiriiwo, ebibaafu omunaazibwa abafu byatalagga dda ,abakozi abakola ku mirambo gino bafuna emitwalo 20 ate akulira eggwanika afuna emitwalo 35.
Eggwanika lyenyini terimala ng'abafu bapakirabapakire.
Ab'eddwaliro lye Mulago bagamba nti emirambo egireetebwa KCCA ne Poliisi gyegisinga okuttattana embeera nga mingi tegiriiko bantu.
Dr Baterena…
Abazadde bangi bazaala abaana nga tebamanyi nti baliko obukyaamu bwonna
Embeera yeemu eri omukyala Nicole eyazaala mutabani we ng’alaba mulamu awatali buzibu bwonna
Wabula omwana ono gyeyajja akula bakizuula nti yali akozesa oludda lumu okukola emirimu
Omwana ono bamutwala mu ddwaliro okwekebejjebwa kyokka era tewali kirabika
Omwana ono bayongera okumwekebejja era okukizuula nga yasanyalala ko ekyuuyi olw’obulwadde bw’ensimbi obwaali…
Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza amateeka amakakali ku nzirukanya y’emirimu.
Amateeka gano essira galisimbye ku nyingiz an’enfulumya y’ensimbi kko n’enyingiza
N’abakozi bonna mu bitongole ebitali bimu e Bulange bagenda kuddamu okuwandiisibwa okulaba nti babeera n’ebisnayiizo
Alangiridde bino ye mwogezi wa Buganda Owekkit Dennis Walusimbi Ssengendo
owek Sengendo agamba nti bagenda kunyweeza amakubo nga teri kumala gagulaawo akawuntu ku lwa mengo.
Mu…
Abantu bakozesa ebintu bya njawulo okwekuuma nga balamu
Omukyala ow’emyaka 63 akimazeeko abantu bw’ategeezeza nga yye bw’akozesa omusulo okwekuuma nga mulamu.
Omukyala ono Suylivia Chandler agamba nti buli ku makya omusulo gwe taguyiwa agunyw abunywi era nga kino akikoledde emyaka 20 amabega
Omukyala ono agamba nti amaze emyaka egisoba mu kkumi nga talwala olw’omusulo guno ogumukuuma nga mulamu
Agambye…