Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Gavumenti ekonaganye ku Sejusa

Ng'ensonga za Gen David Sejusa` zikyalinya enkandago , nate obujulizi obuleetebwa mu kakiiko akamubuulirizaako bwongedde okukonagana. Akawungeezi akayise minista  omubeezi akola ku by'okwerinda Jeje Odong yategeezezza nga  Sejusa bw'akyakulira ekitongole ekikessi mu ggwanga  , kyokka ate bino byonna minisita akola ku  butebenkevu Muluuli Mukasa abisaabuludde, bw'ategeezeza nti ono  bbo tebakyamumanyi Muruuli  ategeezeza nti wofiisi ya ssejusa baagiggala…

Read More

Omutujju yesozze eggwanga

Poliisi egamba nti waliwo omutujju ayingidde eggwanga Mueller Ahmed Khalid yayingidde Uganda olunaku lwajjo Ekiwandiiko kya poliisi kiraga nti omusajja ono enzaalwa ye Bugirimaani era nga yayise Limulu ng’akozesa baasi ya kaliita Ono yavudde ku baasi eno ng’aliko w’atuuse awatannaba kutegerekeka ku luguudo lwe jjinja Senkaggale wa poliisi, Gen Kale Kaihura agamba nti bakwataganye n’ebitongole ebikuuma ddembe okulaba nti…

Read More

Pulezidenti Museveni alabudde Sejusa

Pulezidenti Museveni  alangiridde Gen David Sejusa mu lubu lw’abajaasi abasuulawo emirimu gyaabwe era wakukolwaako ng’amateeka bwegalagira Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu maka ge e Nakasero, pulezidenti agambye nti Sejusa alekere awo okwogerera gy’ali bw’aba musajja. Ono agamba nti kimenya mateeka munnamaggye yenna okusuulawo emirimu gye era ng’agamba wakukolebwaako President era agambye mwetegefu okufafagana ne Sejusa ssinga kamutanda n’agezaako…

Read More

Omubaka Semuju Nganda ku mpaka afulumiziddwa palamenti

Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti beekendazze nebafuluma olukiiko olukulu olw’eggwanga Kiddiridde amyuka spiika Jacob Olanya okulagira abasilikale ba palamenti okuwalawala omubaka Ibrahim Semuju Nganda okumufulumya mu palamenti Ono asoose kugaana kwetonda ekinyizizza Olanya Nganda yali yawummuzibwa okumala entuula ssatu nga tateesa era olwaleero lw’akomyeewo kyokka nga bamulagidde nti okuteesa amala kwetondanaye ky’agaanye ng’agamba nti yamaze okukola ekibonerezo…

Read More

Omwana azadde mwana munne

Abasawo mu ggwanga lya China batunudde nebasamaalira oluvanyuma ow’okukizuula ntu omwana omulenzi owemyaka 2 abadde lubuto lwa mwana. Omwana ono bamulongoosezza okumujjamu ekintu ekyefananyirizaako omwana yenyini Ekintu kino nno kibadde kinywedde omwana ono ng’alinga eyalwaala entumbi nga yenna amyuukiride akabuto. Abasawo bagamba nti omwana ono ng’akyaali mu lubuto lwanyini yali alina okuzaalibwa ne mulongo munne wabula n’akulira muyye…

Read More

Mukole dduyiro

Obadde okimanyi nti okukola dduyiro abangi zemumanyi nga exercise kyongera okunyweeza omubiri gwo obutalwaalalwaala. Dr.Phenecance Bwambale okuva mu ddwaliro e Mulago agamba nti okukoladuyiro  kuba nga kuyonja mubiri era nga buli Muntu nga bwakeera n’alongoosa enyumba bw’alina okulongoosa omubiri BWambale agama nti omubiri buli lw’okukozesa dduyiro gunaaza ebikyaafu byonna nebifuluma olwo omuntu n’asigala nga muyonjo.

Read More

Bakulawuna amalwaliro

Ababaka ba palamenti abakyala abali mu kisinde ky’ababaka abakyala ne ba minister ku semazinga wa Africa bakujaguza ameefuga g’eggwanga mu ngeri ya njawulo nnyo. Bano bagenda kumala olunaku luno nga balambula waadi z’amalwaliro agatali gamu Akulira ekisinde kino mu Ugandan Sylivia Namabidde agamba nti okutalaaga waadi zino bagenda kukutambuliza ku mulamwa gw’okukendeeza emizizoko egivaako abakyala okufiira mu…

Read More

Owa Mukwano akyaali mu bulumi

Eyali omukozi mu kkolero lya mukwano, akyaali mu bulumi, Omusajja ono yalumbibwa abasilikale ba poliisi bweyali agenze okubanja ensimbi ze era okuva olwo ali bubi Kassimu suuna abadde abanja kkampuni eno oluvanyuma lw’okutemwaako engalo bbiri bweyali ali ku mirimu Kassim agamba nti obulumi katia buwulira mu kifuba mu mutwe nga n’okugulu okumu tekusobola kutambula Aba kkampuni ya Mukwano beegaanye…

Read More

Omuzungu afiiridde mu loogi

Poliisi e Kayunga etandise okunonyereza ku mukyala enzaalwa ye Hungary asangiddwa mu loogi nga mufu Omukyala ono ategerekese nga Catherine Onsoria Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi agamba nti omukyala ono abadde akomyeewo kutegeka mbaga ne muganzi we Godwin Binyiri owemyaka 30 Kigozi agamba nti omukyala ono yazze n’eddagala eriwera eky’omusujja gw’ensiri nga batebereza nti lyandiba…

Read More