Omusajja enzaalwa ya Nepal agamba nti y'asinga obumpi mu nsi yonna.
Master Nau ow'emyaka 73 alina centimeter 40
Kikakasiddwa nti eggwanga lya Sweden lyelisinga okuwembejja abakadde.
Afghanistan ate yeeyasinga okubakijjanya ku luuyi luli
Ab’ekibiina ky’amawanga amagatte beebatuuse ku bino mu kunonyereza kwebakoze mu mawanaga 91 era ng’okunonyereza kuno kukwatagana n’olunaku lw’abakadde olukwatiddwa mu nsi yonna olwaleero.
Ab’ekibiina kino bagamba nti amawanga mangi tegalina nteekateeka nnambulukufu eyamba bakadde olwo nebafuuka abasabirizi ate nga baba tebakyasobola kukola
Ab’ekibiina kino…
Ekitongole ekikola ku by'eddagala mu ggwanga ekya National Drug authority kyewozezzaako ku musolo ogujjibwa ku bantu abayingiza obupiira bu galimpitawa mu ggwanga
Bano bagamba nti ensimbi ezijjibwa ku bantu bano ziyamba mu kwekebejja bupiira buno okulaba nti butuukagana n’omutindo.
Omwogezi w’ekitongole kino, Fred Sekyana agamba nti ensimbi zino wabula bafuba okuzikuumira wansi okusobozesa buli Muntu okuyingiza obupiira.
Ono…
Abasomesa abeebuzaawo ku mirimu beebasinze okutattana omutindo gw’ebyenjigiriza
Alipoota efulumiziddwa minisitule y'ebyenjigiriza egamba nti abasomesa abawerako beepena okusomesa nebadda mu lugambo mu yafiisi zaabwe.
Ate bbo abalina okubalondoola okulaba oba bakola bavivaako dda nga nabo basiiba mu byaabwe
Minisita akola ku byenjigiriza Jessica Alupo agamba nti abasomesa bano era abamu balina ebizibu okutaputa byebasomesa abaana kale nga n’abayizi…
General David Sejjusa y’akyakulira ekitongole ekikessi mu ggwanga.
Bino abyogedde ye minister omubeezi akola ku by'okwerinda, Jeje Odong bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakwasisa empisa akanonyereza ku nneyisa ya Sejusa ey’okusuulawo emirimo
Odongo agamba nti Sejjusa tagobwangako mu maggye ate ng'era tebannafuna amuddira mu bigere.
Ono wabula agamba nti ssinga anakomawo wakaunyonyola lwaki yadduka ku mirimo nga…
Abatembeeyi abasoba mu mitwaalo 2 beebali mu bulabe bw’okusengulwa mu katale k’oku kalerwe
Bannanyini ttaka lino bagala kulikulakulanya
Sentebe w’akatale, kano, Salamini Damulira agamba nti obutale obuwerako ku kalerwe buli ku ttaka lya bwannanyini nga buli omu ayagala kuzimba bizimbe bya mulembe
Ono agamba nti bagaala wabeewo enkolagana ettaka lino likulakulanyibwe nga nabo balinamu omukono.
Akatale ke Wandegeya kaggulwaawo nga munaana omwezi guno
Akatale kano kawemmese obuwumbi 21 era nga kisuubirwa nti kakuyamba abantu abawerako abakozesa enguudo ezikaliraanye
Akulira abakozi mu KCCA, Jennifer Musisi agamba nti buli kimu kiwedde nga ssabiiti ejja bajja kuba bakaggula
Ono agamba nti kati amaanyi bagatadde mu nguudo ezituuka ku katale okulaba nti tewabaawo mugotteko nga zitambuza bulungi…
Akakakiiko ka palamenti akakola ku mateeka agatwaala palamenti n'okukwasisa empisa kalagide bannamateeka ba Gen David Sejusa okuleeta obujulizi okulaga nti omuntu waabwe obulamu bwe bbuli mu katyabaga ssinga amala n'adda mu ggwanga.
Bino bituukiddwako olwalweero bannamateeka be okuli Fred Mukasa Mbidde ne Joseph Luzige bwebabadde balabiseeko mu maaso g'akakiiko kano okuwolereza omuntu waabwe kaakano ali e…
Abalongo ba nabansasaaana abazaaliddwa e Mbarara bafudde.
Abalongo bano babadde balina emitwe ebiri, amagulu abiri, emikono ebiri kyokka nga balina ekifuba kimu.
Maama waabwe Anabella Kansiime yagaanye eby'okukyuusa abaana bano okubazza e Mulago era nga kino kyekyalemesezza eb'eddwaliro okubaako nekyebakola.
Akulira eddwaliro lino Dr George Upenytho agamba nti abaana bano babadde ba bingi ebitambula bulungi mu mibiri gyaabwe…
Buli muntu aliko engeri gy’ava ku mulimu gwe ng’agukooye.
Omuwala ow’emyaka 25 Marina Shifrin, abadde akooye mukama we okumutuntuza nga ky’akoze kwekuyiiya akayimba ng’ono akunganyizza bakozi banne ne mukama we ng’abasuubiza okubaleeterayo akapya.
Atandise kuyimba akayimba kano wakati mu kuttottola nga bw’abadde akooye mukama we okumutuntuza era abatandise nga bamukubira mu ngalo bonna bibaweddeko nabasigala nga basamaaliridde.