Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Omubaka Gregory Matovu aziikibwa lwa kuna

Omulambo gw’omubaka abadde akiikirira abe Bukanga mu Lukiiko olukulu ow’eggwanga olunaku lwenkya lwegugenda okutwalibwa mu palamenti Gregory Matovu afudde oluvanyuma lw’okumala akabanga ng’atawanyizibwa kokoolo w’emimiro Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa, omugenzi agenda kusabirwa enkya ku eklezia katolika eya Yesu ye Kabaka nga tannatwalibwa ku palamenti ababaka bamukubeko eriiso evvanyuma. Olweggulo, ababaka bakutuula ku Lukiiko olwenjawulo okusiima emirimu omugenzi gy’akoledde…

Read More

Abalongo ba nabansasana e Mbarara

Waliwo abalongo ba nabansansana abazaaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mbarara. Abalongo bano balina emitwe ebiri, amagulu abiri, emikono ebiri kyokka nga balina ekifuba kimu. Maama waabwe Anabella Kansiime balongosezza mulongoose mu kubazaala. Akulira eddwaliro lino Dr George Upenytho agamba nti bagenda kukyuusa abaana bano babatwale mu ddwaliro e Mulago kyokka nga baluddewo kubanga maama waabwe ekyagaanye Dr. Upenytho agamba…

Read More

KCCA yegaanye okugaana abasiraamu okwaziina

Ekitongole ekiddukanya ekibuga ekya Kampala capital city authority kyeganye ebigambibwa nti kyaweze okwaziina ku mizikiti gy’abasiraamu. Kino kiddiridde abakulembeze babayisiramu okuvumirira kino Kigambibwa nti mu bbaluwa gyeyawandiika nga 17th September, akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi yawandikira Mufti  Sheikh Shaban Mubajje, ng'amuyita mu lukungaana olwaali lukwata ku abawogganira abalala mu kibuga. Wabula Muisisi yeganye ebbaluwa eno n'ategeeza nga…

Read More

Endwadde ezitafibwaako

Ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku by’obulamu kyakutongoza enteekateeka enakendeeza ku  ndwadde ezitatera kufiibwaako. Enteekateeka eno eganda okumala emyaka 5 yakuwemmenta obukadde bwa doola 55. Akulira ekibiina ky’obyobulamu, Dr. Wondimagegnehu Alemu agamba nti kikakakata ku buli gavumenti okussa ensimbi mu ndwadde zonna okukendeeza ku muwendo gw’abafa. YYe akulira ekibiina ekikola ku ndwadde ezitafiibwaako, Dr . Edridah Tukahebwa agamba nti…

Read More

Ennaku z’obulamu

Disitulikiti ezisoba mu 10 zeezigenda okufuna mu nnaku z’ebyobulamu z’amaka ezitegekeddwa ab’ekitebe ekikulu eky’obuyisiraamu ekya Uganda Muslim supreme council. Omwogezi w’ekitebe kino, Alhajji Nsereko Mutumba, agamba nti abantu bangi abalwaala endwadde ezisobola okuziyizibwa nga beebagenda okussaako essira ku ku lw’okutaano lwa ssabiiti ejja Mutumba agamba nti endwadde eziva zitambulira mu maka abantu mwebava nga ssinga zitangirwa ku…

Read More

Ba maama abato beebaviirako abaana baabwe okufa

Abaana abazaalwa abakyala abali wansi w’emyaka 30 batera okufa okwawukanako n’abo abazaaliddwa bannaabwe abakulu Okunonyereza kuno kukoleddwa okumala emyaka 20 nga kizuuliddwa nti abakyala ababeera abato baba babulabe eri abaana baabwe Abanoonyerezza bano bagamba nti ba maama abato beetaga nnyo okuyamba okumanya abaana baabwe nebasobola okubalabirira obulungi nga banaabwe abakulu. Ba maama bangi tebamanyi kulabiria baana nga beebabaviirako…

Read More

Omubaka we Bukanga, Gregory Matovu afudde

Omubaka akiikirira abantu be Bukanga mu lukiiko olukulu olw'eggwanga Gregory Matovu afudde Ono afudde nkya ya leero mu ddwaliro lya Nakasero Hospital. Ono kigambibwa okuba ng'afudde kokoolo w'emimiri aludde ng'amuluma. Omwogezi wa palamenti, omukyala Hellen Kaweesa agamba nti kyannaku nti bafiriddwa omubaka omulala nga bakyaakungubagira ababaka abalala abaze bafa. Omubaka ono abadde ava mu kibiina kya NRM abadde atuula…

Read More