Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ensonga eziyinza okukyaaya mu bungereza

Abantu bakyaawa abagaalwa baabwe olw’ensonga ezitali zimu . Gwe gy’okyayira bba wo oba mukyala wo olw’ebwenzi, e Bungereza kizuuliddwa nti omuntu okusanga munne nga tazizzaako kisanikira kya kabuyonjo kimala okumukyaawa Yye gwe obadde okimanyi nti mu Bungereza, obutayoleza muganzi wo kagoye k’akolerako dduyiro kiyinz aokukukyayisa. Okussa ennyo, n’obutasala njala zeezimu ku nsonga lwaki abantu bakyaawa abagaalwa baabwe. Abakyala  n’abasajja …

Read More

Liigi y’okubaka eyongezeddwaayo

  Liigi  y'eggwanga ey'omuzanyo gw'okubakal nate eyongezeddwaayo okutuuka omwezi ogujja. Oluzanya olw'okubiri olwa League eno lubadde lwakuddamu akawungeezi ka leero mu kisaawe e Namboole wabula club zigaanye okuzanyira e Namboole nga zitegeeza nga bwezitalina busobozi bwa nsimbi kupakira bazannyi kubatwaala Namboole. Kati ko akakiiko akateesi teesi kagyongedeyo okutuusa nga 19th Omwezi ogujja nga lwekasuubira ebisaawe bebibakirwaamu ebizimbibwa e…

Read More

KCCA etunze emmaali y’abatembeeyi

Kampala capital city authority ekakasiza nga bw’etunze ebintu byonna by’ezze ewamba ku basuubula mu bumenyi bw’amateeka Kino kiddiridde okwemulugunya okuva eria bantua batali bamu nga bagamba nti ebintu byaabwe ebiwambibwa tebibaddizibwa Omwogezi wa KCCA, Peter Kawuju agamba nti kooti y’ebalagira okutunda ebintu bino ssinga ebbanga lya myezi munaana liyitawo nga ba nyini byo tebabikimye

Read More

Minista Kibuule yekubye endobo

Minista akola ku nsonga z'abavubuka, Ronald Kibuule yekubye endobo. Ono kati ate yegaanye ebigambo byeyayogedde nti abakyala abambala enkunamyo bebaviirako okubakaka omukwano. Ono agambye nti alina abaana abawala, nyina kko n’emikwnao gy’abakyala nga tasobola kuwagira buliisa maanyi Ono agambye nti abakoze amawulire agamusibako ebigambo bino bagaala kuttattana linnya lye Ono agambye nti obuliisa maanyi musango ogwanaggomola era nga tayinza…

Read More

Ezzike kkanga baana

Mu ggwanga lya Amerika mu kibuga Dallas azzike eribadde liyigganya amazike amalala naddala amakyala lyakusengulwa litwalibwe mu kifo awakumibwa amakize amalala lyongera okubudabudibwa. Ezzike lino eriyitibwa Patrick libadde lyakamala mu kuumiro ly'ebisolo emyaaka 18 wabula nga teryagala kumanya naddala eri amazike amasajja. Ezike lino lirangibwa kukulusanya ganaalyo empisa abatwala ekuumiro lio zebatakyayinza kugumikiriza. Lino lyerimu ku mazike agasinga…

Read More

Musale ku z’abakungu

Abakulembeze b'amadiini bagala gavumenti esale ku nsimbi z'esasanya  ku bakungu baayo ab'enjawulo ezongeze abasomesa. Banaddiini bano bagamba ensimbi nyingi zisasanyizibwa ku baminister, abawi bamagezi, ababaka ba palamenti nabalala eziyinza okukendeezebwako abasomesa nabo nebongezebwa nebafuna ku sanyu. Sentebe w’akakiiko akagatta amadiini ag'enjawulo , Jonah Lwanga agamba nti gavumenti eddemu yekenenye emisaala gy'abakozi baayo efune ensimbi zeyongeza abasomesa Go amasomero…

Read More

Abakyala batabukidde minisita

Ebibiina ebirwanirira eddembe ly'bakyala biwanda muiro ku byayogeddwa minister omubeezi owa bavubuka n’ensonga z’abaana Ronald Kibuule . Kibuule yategeezezza nga abakyala abasobezebwako nga bambadde enkunamyo bwebasaana okugulwako emisango kubanga bebakema babasajja mu kikolwa kino. Ebibiina bino ebibadde bisoba mu 20 biragidde Kibuule yetonde oba ssi kyo bakutandika okukunganya e mukono okumujjamu obwesige. Omukwanaganya w’emirimu mu kibiina ekirwanyisa obutabanguko…

Read More

Temwerumya njala

Okwerumya enjala omuntu n’atalya mmere kyabulabe eri obulamu. Omusawo omukugu mu nsonga z’emitima, Wilson Nkyakoojo agamba nti obutalya kivaako omubiri okuzaala amasavu mu mubiri omuntu n’agejja ekimuviirako okufuna obulwadde bw’omutima. Omusawo ono agamba nti abantu bangi ennaki zino beerumya nnyo enjala ate ng’abamu bakigenderera naye nga baba bakosa bulamu bwaabwe.

Read More

Kenya erangiridde ennaku ssatu ez’okukungubaga

Gavumenti ya Kenya erangiridde ennaku ssatu ez'okukungubagira abantu abafiiridde mu bulumbaganyi obwakoleddwa abatujju ba Alshabaab. AKulira eggwanga lya Kenya, Uhuru Kenyatta agambye nti kyannaku nti bannakenya bayiiye omusaayi kyokka n'asuubiza nti olutalo ku butujju lukyagenda mu maaso. Yyo gavumenti ya Uganda  ekakasizza bannayuganda nti eby’okwerinda biri gguluggulu. Minista akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga, Gen Aronda Nyakairima agamba…

Read More

Omusajja asse mukyala we

Poliisi e Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’omusajja asse mukyala we ng’amulanga bwenzi Omugenzi ategerekese nga Joan Nakisekka omutuuze ku kyaalo Kabalungi e Bukomansimbi. Omusajja ono Fred Segujja ow’emyaka 20 kigambibwa okuba nti akomyeewo ewaka nga mukyala we taliiwo era wano weyatandikidde Ono yamulumbye gyeyabadde akyadde n’ejjambiya n’amutemateema Akulira ekyaalo Kabalungi, Christopher Sekikubo agamba nti abafumbo bano baludde nga bayomba…

Read More