Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Obulwadde bwa mukenenya bukendedde

Alipoota efulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte ku bulwadde bwa mukenenya eraga nti bukenderedde ddala. Abantu abaafa omwaka oguwedde baali akakadde kamu mu emitwaalo 60 okwawukanako n’omwaka gwa 2005 abantu obukadde bubiri mu emitwaalo 30 mwebafiira Mu ngeri yeemu n’omuwendo gw’abantu abafuna ekirwadde kino gukenderedde ddala Bwegutuuse ku baana abato abafuna obulwadde buno ate kiyitiridde nga kumpi kitundu kiramba kitaasiddwa Mu…

Read More

Abasuubuzi mu Owino basattira

Abasuubuzi baddukanyiza egyaabwe mu katale ka St Balikuddembe emitima gibali ku mutwe Bano olunaku lwaleero basisinkanyeemu KCCA mu kawefube w'okutaasa akatale kaabwe Kiddiridde aba Banka ya Barclays okubawa nsalessale w'omwezi ogujja okuba nga basasudde obuwumbi 6 bwebabanja oba ssi kkyo bakwezza ekyapa ky'akatale Wansi w’ekibiina kya Slowa, abasuubuzi bagamba nti KCCA y’erina okubataasa n’efulumya ekyapa kubanga kyekivuddeko obuzibu. Bano…

Read More

Nsitaano e Kenya

Lutalo lwenyini ku kizimbe ekyawambiddwa abatujju mu ggwanga lya Kenya,amasasi geesooza. Wowulira bino ng’amaggye ga Kenya agamaze okwesogga ekizimbe omuli abatujju nga n’abakuuma ddembe beebulunguludde ekizimbe kyonna Yyo gavumenti ekakasizza nti abakoze obulumbaganyi buno ssi bakazi wabula basajja abeesabise mu ngoye z’abakazi. Abatujju bano era bakumye omuliro ku ludda lw’ekizimbe olumu bwebategedde nti amaggye gatandise okwesonga mu kifo…

Read More

Ono atamiira mpewo

Abantu bangi batamiira olw’ensonga nti beesiwa amagengere. Kubamu akafananyi ssinga ozuukuka otamidde naye nga tonnakomba ku mwenge. Omusajja ow’emyaka 61 awereddwa ekitanda ng’atamidde naye nga tannakomba ku kenge konna Abasawo bagamba nti omusajja ono alina obulwadde bw’okutamiira nga talina ky’anywedde ng’olubuto lwe lufulumya amazzi agalinga omwenge Mukyala we y’amututte mu ddwaliro oluvanyuma lw’okukeeranga nga bba atamidde era ng’oluusi alemererwa…

Read More

Abadde abuusa omwana gamumyuuse

Abakyala bangi babuusa abaana, nebabawuuba n’okuzannya obuzannyo obutali bumu okusanyusa abaana baabwe Binyuma ssinga bitambula bulungi. Omukyala abadde awuuba omwana mu butanwa amukasuse mu Nyanja negamumyuuka Elizabeth abadde awuuba omwana we ow’emyezi omukaaga nga bali ne bba ku lubalama lw’enyanja Omukyala ono okuva e Californi awogganidde waggulu n’okusiita ng’alaba mutabani we egenda kyokka nga bba n’abantu abalala ababadde ku…

Read More

Obubenje busse basatu

Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akagudde e Kabowa Bano abava mu famile emu beebamu ku musanvu babadde batambulira mu mmotoka kika kya double cabin nebatomera ki loole. Ate era mu ngeri yeemu, omuntu omu afiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde e Sagazi milo nga bbiri okuva e Lugazi ku luguudo oluva e Kampala okudda e jjinja Taxi ebadde…

Read More

Basibaganye enkalu

Olukiiko wakati w’abasomesa ne minister akola ku byenjigiriza, lwabuuse tewali kituukiddwaako Olukiiko luno lubadde lukubirizibwa Minista Jessica Alupo era nga abalwetabyeemu babadde balina okuvaayo n’ekyokuddamu eri akeediimo k’abasomesa akakulunguludde ssabiiti nnamba Ssabawandiisi w’ekibiina ky’abasomesa, James Tweheyo agamba ntio embalirira endala eyisibwe okukola ku nsonga zaabwe Yye minister Jessica Alupo alumiriza nti gavumenti terina ssente era ng’abasomesa basaanye okudda…

Read More

Amalwaliro temuli musaayi

Ebbula ly’omusaayi kikyaali kizibu kya maanyi mu malwaliro agasinga Eno y’ensonga lwaki abantu bakubirizibwa bulijjo bagabe nga omusaayi okumalawo ekizibu kino Olwaleero unit z’omusaayi 100 zeezikunganyiziddwa ku Datamine technical business school. Akulira ettendekero lino, Deo Nyanzi agamba nti omusaayi guno gugenda kutwalibwa mu malwaliro agali mu bwetaavu. Ono asabye abantu okwongera okugaba musaayi

Read More

Kamulali mulungi, ssi mulungi

Obadde okimanyi nti okulya kamulali kiyamba omuntu okulya emmere ewerako. Kino kisinga kukola eri abo abatatera kumulya Omusawo omukugu mu nsonga z’okulya, Gloria Nabasa agamba nti kamulali ono ayookya n’amasavu omuntu n'asigala nga mulamu. Mu ngeeri yeemu kamulali ono era alimu ne Vitamin A ne B Wabula Dr Nabasa alabudde abantu obutayitiriza Kamulali kubanga bw'ayitirira abeera wa bulabe era…

Read More

Omusujja gw’ensiri gukyatta abantu

Omusujja gw’ensiri zeezimu ku ndwadde ezakasinga okutta bannayuganda Alipoota ekoleddwa minisitule y’ebyobulamu ey’omwaka eraga nti abantu abasoba mu 5000 beebafa omusujja gw’ensiri mu mwaka gumu ate nga kitundu ku bannayuganda baakwatibwa ko omusujja gw’ensiri mu bbanga lino. Omusujja guno guddirirwa obulwadde bwa Pneumonia, Anemia ,endwadde ezikwata abaana nga bakazaalibwa kko n'akafuba. Minista akola ku by'obulamu, Dr Ruhakana Rugunda…

Read More