Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Temumala galongoosa matu

  Obadde okimanyi nti okulongoosa ematu go n’ojjamu omuzigo ogubamu kiyinza okuvirako okufuuka kiggala Abantu basabiddwa bulijjo okwanguwa okugenda okulaba abasawo nga tebannaba kulowooza ku byakugasokoola DR Phenekansi Bwambale okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago agamba nti okusokooza obuti mu matu kiyinza okusa amatu olwo omuntu n;’abeeta nga tawulira   Dr Bwambale agamba nti yadde amatu gano gayinza obutawona ,…

Read More

Sejjusa bumukeredde

Palamenti   emaze n'egaana okwongerayo oluwumula lwa general David sejjusa nga ono amaze ebbanga ng'ali mu luwumula mu gwanga elya Bungereza. Omukubiriza w'olukiiko olukulu olw'eggwanga Rebecca Alitwala Kadaga agamba nti akizudde nga Sejjusa tali ku mirimo mitongole nga bweyasaba ,kale nga amwagala mu palamenti obutasukka lunaku lwankya. Kadaga agamba nti ssejjusa tali ku mirimo gy'amaggye nga bw'agamba,…

Read More

Abe wa Kisekka bakaaye

Wabaddewo akavuyo ku  palamenti abakyala babiri okuva mu katale ke wa kisekka bwebagaaniddw okuyingira okulaba omukubiriza w'olukiik Rebacca Kadaga. Hajjati  Hamida Nassimbwa ne munne  Aisha Nakiranda,bakalambidde ne bawera okugumba ku parliament okutuusa nga   bamulabye bamukwange ekiwandiiko kyaabwe ekyemulugunya ku nkayana eziri mu katale kano. Bano bagamba  nti pulezdenti Museveni aludde nga agaba ensimbi nemubitalina mugaso, kale…

Read More

Temuddamu kuzimba Nakivubo

Ekitongole kya Kampala capital city authority kiyimiriza bunambiro okuzimba kwonna ku kisaawe kye Nakivubo. Kcca egamba abali emabega w'omulimu ,baava dda  kupulaani  y'okuzimba ekisenge nga bwebakkiriziganya nga kati bali mu kuzimba midaala ekitali mu pulaani. Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bazze nga balabula kampuni eri emabega w'okuzimba kuno eya   Ham enterprises okugendera ku…

Read More

Ekimotoka kikutte omuliro

Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje akafiiriddemu abantu 4 mu kibuga kye Kabale . Fuso eyabadde efumuuka obuweewo kigambibwa nti yalemeredde omugoba waayo neyevulungula enfunda n’oluvanyuma n'ekwata omuliro. Omuduumizi wa poliisi mu bitundu bye Kabale Olivia Wabwire  ,agamba fuso eno eyabadde esabaaza abasalamala nalinnye ku waya z'amasanyalaze n'ekwata omuliro Akulira poliisi ye Kabale, Olivia Wawire agamba nti abantu abafudde…

Read More

Eby’abasomesa tebinnaba kutereera

Abasomesa abeekalakaasa gavumenti ebatuunulidde n'eriiso ejjojji. Minisitule ey’ebyenjigiriza  egamba nti etandise okwwebuuza ku muwi w'amagezi aowa gavumenti ku ky'abasomesa abagaanye okulinnya mu bibiina. Minisita akola ku byenjigiriza, Jessica Alupo agamba nti bakuddamu okuyisa mu tteeka elikwata ku nneyisa y'abasomesa okulaba oba obutasomesa okumala ennaku eziwera tekitegeeza kwebuza ku mulimu. Alupo agamba nti okusinziira ku mateeka agafuga abasomesa, omuntu…

Read More

Obutimba bw’ensiri

Minisitule ekola ku by’obulamu olwaleero etandise okugaba obutimba bw’ensiri mu Buvanjuba bw’eggwanga. Ono yoomu ku kawefube wa ministry eno okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu ggwanga. Omwogezi wa minisitule, Rukia Nakamatte agamba nti disitulikiti 16 zeezigenda okusooka okukolebwaako ng’abe Bukedea ne Bukwo beebagenda okusooka okubwebakamu. Nakamatte asabye abafuna obutimba buno okubukozesa obulungi

Read More

Tewali ssente- Museveni eri abasomesa

Pulezidenti museveni ayanukudde abasomesa n’abategeeza nga bwewatali ssente. Pulezidenti agambye nti abasomesa baddeyo okusomesa ng’ensonga zaabwe zakutunulwaamu omwaka ogujja Bino pulezidenti abyogedde asisinkanye ababaka okuva mu kibiina kya NRM mu maka ge Entebbe. Agambye nti batunuulidde bitongole biyinza kuvaamu nsimbi ng’amasanyalaze n’enguudo sso ssi ate birya ndye. Abasomesa olunaku lwaleero lwebassizza mu nkola akeediimo kaabwe nga bangi baganye okulinnya…

Read More

Abasuubuzi bafunye paaka

Ekitongole  kya KCCA kiwadde olukusa abaddukanya akatale ka USAFI okubeerawo ne paaka ya taxi. Kino kigendereddwaamu kuyamba mu kukendeeza omugotteko. Omwogezi we kitongole kya KCCA Peter Kawujju agamba nti bawadde aba USAFI  ekiseera kya myezi 12 nga baddukanya paaka ya taxi nga yakukozesebwa emmotoka ezikozessa oluguudo lwa Entebbe road n'olwe Gaba. Kawujju agamba nti paaka eno yakuyamba kinene…

Read More