Kampala capital city authority akanze nga bw’egenda okuyimiriza eby’okuddabiiriza ekisaawe kye Nakivubo.
Kino kiddiridde ebigambibwa nti abakiddabiriza bavudde dda ku pulaani
Ab’ekisaawe kino bakkirizibwa okuzimba ekikomera kyokka nga KCCa egamba nti bano bali mu kuzimba maduuka
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti agambye nti baawandikidde ab’ekisaawe kino okuyimiriza eby’okuzimba kyokka nga tebannasalako
Wbula yye omu ku bakozi mu…
Omusajja omu agambibwa okubeera omubbi akubiddwa amasasi agamuttiddewo .
Ono abadde ne banne mukaaga e Ntinda.
Abamu ku bano baali bakozi mu kkampuni y’amasimu eya MTN nga babadde bamenya muterekebwa byuuma.
Omwogezi wa poliisi mu kampla n’emiriraano, Ibin Senkumbi agamba nti abazigu bano babadde n’emmundu era nga basoose kuddiza poliisi masasi naayo n’ebaddiza okukkakkana ng’esseeko omu
Gavumenti egaanye ebyokutiisibwatisibwa abasomesa era newera nga amasomero bwegajja okuggulawo k'abe lubaale oba katonda.
Minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo agamba tewali agenda bateekako kazito kubakozesa nsobi era bakuggulawo amasomero gonna ku bbalaza.
Alupo wabula era yewunya lwaki ate abasomesa ababadde bateesa ne gavumenti babijjemu enta ku ssaawa esembayo.
Agamba akakiiko akateekebwawo okukola ku kwemulugunya kw'abasomesa bano kamalirizza okunonyereza kwaako…
Speaker wa parliament Rebeca alitwala Kadaaga ,avudde mu mbeera n'agaana ba minister bonna kko n'abakulira obukiiko bwa palamenti okuddamu okumala gafuluma eggwanga.
Kino kivudde ku babaka bano kulemerera kukola alipoota ku mbalirira y'omwaka guno .
Sipiika Kadaga okuva mu mbeera kiddiridde ennaku mwebalina okuleetera alipoota zino okugawako mu mwezi oguwedde , ssonga kuno kwebalina okwesigama nga baakaksa…
Emmotoka eyakasinga obutono eyingidde ebyafaayo. Emmotoka eno yenkanira ddala ng’eno abaana zebazanyisa naye ng’eno yaddala .
Esabaaza omuntu omu era nga kyangu emmotoka za bulijjo okugirinnya nga tebagirabye
Abantu abasinga abalabye ku mmotoka eno basigala bakuba nduulu nga balayira nti tesobola kutambula.
Bangi bbo obwedda bagigeza ku mmotoka zaabwe mu ngeri y’okwewunya.
Kooti eyise bukubirire naggagga Godfrey Kirumira okuginyonyola lwaki azimba ekizimbe mu kibuga nga talina lukusa
Ekizimbe ekyogerwaako kili ku luguudo lwa Nasser Mu kampala
Omuwaabi wa gavumenti Kakie atugonza agambye nti, Kirumira ono akianyi bulungi nti okuzimba mu kibuga, omuntu amala kufuna lukusa nga kino akibuusizza amaaso.
Omulamuzi Juliet Ahatanga kati amulagidde okulabikako mu maaso ge nga 24…
Eky’okuyingiza eggwanga lya south sudan mu mukago gwa East Africa kisimbiddwa ekkuuli.
Ababaka abamu mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagamba nti aba sudan bayitirizza okutulugunya abasuubuzi okuva mu mawanga amalala nga betaaga kubonerezebwa
Omubaka we Bukoto mu bugwanjuba, Mathius Nsubuga n’owe Bugweri, Abu Kauntu bagamba nti eggwanga lino lirina kusooka kusuubiza nti ssi lyakutulugunya bantu.
Bino bizze ng’eggwanga lino…
Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga akubirizza abavubuka okwewala ebyobufuzi ebyawula mu mbeera z’abantu.
Katikiro bwabadde asisinkanye abakulembeze ba NRM okuva mu district za Buganda, abasabye okwewala okulwanagana wamu n’okwelangira kubanga bona bantu ba ssabasajja.
Mayiga agambye nti ebyobufuzi ebibi byebyavirako obwakabaka okuwerebwa mu mwaka gwa 1966.
Bano era abasabye okwetanira ebyenjigiriza kubanga egwanga kweritambulira.
Omuntu omu abikiddwa ettaka n’afa mu bitundu bye Kabalagala.
Ono atategerekese manya yoomu ku basajja ababadde basima ettaka okussaayo pipo z’amazzi
OC we Kabalagala, Bernard Mugerwa agamba nti omugenzi afudde kiziyiro oluvanyuma lw’okumala essaawa esoba mu emu ng’abikkiddwa ettaka lino.
Bbo abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omusajja ono abadde ayingidde fuuti 10 mu ttaka ekyongedde okunafuya ebisenge.
Omulambo gw’omugenzi gutwaliddwa…
Olwaleero lwegiweze emyaka ena bukynaga kwekalakaasa okwabuutukira ebitundu bya Buganda kubeerawo.
Okwekalakaasa kuno kwava ku gavumenti okukugira omutanda okukyala mu ssaza lye erye Bugerere.
Abantu 27 beebafiira mu kwekalakaasa kuno.
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bbo omulanga gwaabwe guli gumu nti alipoota eyakolebwa ku kwekalakaasa kuno efulumizibwe.
Omubaka akiikirira abantu be kibuga kye Masaka, Mathius Mpuuga agamba nti kikyaamu…