Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Okuwandiisa piki

Okuwandiisa abagoba ba pikipiki kugenze mu maaso n’olunaku lwaleero. Ku kitebe kya KCCA ku cityhall, kkampuni eziwera zeeziwandiisizza pik.i Omu ku bawandiisa, Tony Bagala agamba nti babadde bakawandiisaako abantu 100 okuva lwebwakedde era nga basnayufu nti bitabudde bulungi. Ono agamba nti bannanyini kkampuni beebawandisizza piki kko n'aba bodaboda abatono ddala. Yoomu ku bawandiisizza piki,  Farook Sekandi agambye nti talabawo kimugaana…

Read More

Omukyala ono tasaaga

Mu bakyala ate mulimu abakazi. Mu ggwanga lya Georgia ,omukazi ow'emyaka 40 akuumye omulambo gwa mutabani we okumala emyaka 18 nga gukyaliwo. Oluvanyuma lwa Joni Bakaradze  okufa ku myaka 22,  maama we yasalawo akuume omubiri gwe kubanga mukyala we yali lubuto kale ng'ayagala muzzukulu we alabe nga kitaawe bweyali afanana. Ono agamba akozesa mwenge omuka okukuuma omulambo gw'omugenzi…

Read More

Eyatta kitaawe bamusibye ssaawa

Omuwala ow’emyaka 18 eyatta kitaawe eyali ayagala okumukwata asingisiddwa omusango Omuwala ono Hafuwa Namata owe Masaka yayatiikirira nnyo bweyakuba kitaawe gweyali agamba nti amukaka omukwnao olutatadde nga kino akikola ne ku nyina kko ne baganda be abalala. Omulamuzi agubadde mu mitambo, Margaret Ouma  Oguli omuwala ono amusalidde ekibonerezo kya kwebaka mu kkomera okumala essaawa mukaaga nga zino…

Read More

Okunyw amazzi kugogola omubiri

Amazzi ga mugaso nnyo eri obulamu kyokka nga bangi bagagayaalirira Obadde okimanyi nti amazzi gakuuma omubiri nga mulamu nga gakola ebitundu 60 ku buli kikumi ez’obuzito bw’omubiri gwonna Amazzi gano nno gayamba okugogola ebikyaamu ebibeera mu mubiri kko n’okukola ku Matu , enyindo n’emimiro. Omuntu atanywa mazzi era abeera akoowa koowa olw’omubiri okubeera omunafu nga gukaze. Omuntu yenna okubeera…

Read More

Spiika Kadaga akuutiddwa ku Babaka abaagobwa

Spiika wa Palamenti omukyala Rebecca Kadaga asabiddwa okwekenneenya ennyo ensonga y'ababaka abana abagobwa mu palamenti. Kino kiddiridde kkooti okugoba ababaka mu palamenti ng'omusango guno bwegugenda mu maaso n'okukolebwaako. Munnamateeka w'ababaka bano, Medard Lubega Ssegona agamba nti ababaka bano balina okusigala nga bateesa oluvanyuma lw'okujulira mu musango guno. Ababaka abagobwa kuliko, Mohammed Nsreko, Theodre Ssekikubo, Barnabas Tinkasimire, ne Wilfred…

Read More

Akatel ke Wandegeya kaggulwaawo mwezi gujja

Akatale k’omulembe akamu tekamala mu kampala Loodi meeya Erias Lukwago agamba nti obutale obulala bulina okuzimbibwa ng’ake wandegeya kawedde Lukwago agamba nti wansi w’enkola ya MATIP, baafuna obukadde bwa doola 70 nga zonna zakukola ku butale Lukwago agamba nti batunuulidde obutale mukaaga. Wabula bbo abasuubuzi beemulugunyizza dda nti tebannategeera bigenda mu maaso na midaala ki gyebatwala .  

Read More

Aba biloole batoba

Abagoba ba bi loole abaddukanyiza emirimu gyaabwe mu ggwanga lya Congo bakyatoba olw’amataba. Amataba gano gaava mu mwezi gw’omunaana era nga gaziba amakubo nga teri mmotoka zitambula Akulira ekibiina ekigatta abagoba ba bi loole mu ggwanga lino, Bylon Kinene agamba nti bangi ku banaabwe tebalina bwebasomoka ate ng’emmaali yaabwe efa. Abasinze okukosebwa beebalina ebyamaguzi ebyonooneka

Read More

Asinga olulimi oluwanvu

Omusajja eyakasinga olulimi omuwanvu ayogedde okwewunyisa abantu Olulimi lwe luweza inch ssatu n’obutundutundu munaana Stephen Taylor kizuuliddwa nti olulimi lwe lweyongedde okuwanvuwa ate nga lukyakula Ono nno yadde abamu bamutya , eri abalala  kyakwelolera era nga yoomu ku bantu abakasinga okunywegerwa emirundi egisinga obungi mu butikitiki 10.

Read More

FUFA evuddemu omwasi- Kati tutunuulidde CECAFA

Omwogezi wa Fufa Rogers Mulindwa asabye banayuganda n'abawagizi b'omupiira obutaggwaamu essuubi  olw'ebyo byonna ebyaliwo ku lw'omukaaga oluwedde ,oluvanyuma lwa Cranes okuwanduka mu mpaka z'ekikopo ky'ensi yonna. Mulindwa ategezezza ng'omupiira gwa Uganda bwegukyaliwo era kati batunulidde empaka za Cecafa ezigenda okubeera mu kibuga Nairobi omwezi gwa November. Ayongedde n’okwebaza omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni,abawagizi wamu n'abassaamu ensimbi olw'obuwagizi.    

Read More

Abavubuka tebakyafaayo ku mukenenya

Minisitule ekola ku by’obulamu akakasizza nti abavubuka okumala geegadanga  kyekivuddeko mukenenya okweyongera. Minisita akola ku by’obujjanjabi obusookerwaako, Sarah Opendi agamba nti abavubuka bangi balowooza nti waliwo eddagala eriweweza ku mukenenya olwo nebalowooza nti baba bawona. Opendi wabula agamba nti bakusigala nga bakola obubaka obugenda eri abavubuka okulaba nti kino kikendeera Okusinziira ku minisitule y’ebyobulamu, abantu 7 ku kikumi…

Read More