Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Omubaka afudde

Omubaka akiikirira abantu be Buhweju mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Joy Arinaitwe Kariisa afudde Ono afiiridde ku ddwaliro lya International hospital mu kampala. Omubaka ono w’afiiridde nga wa myaka 27 Abadde mu kibiina kya NRM era nga kyekibadde ekisanja kye ekisoose mu palamenti Abadde atuula ku kakiiko akabalirira ensimbi z’omuwi w’omusolo n’ako akakola ku nsonga z’ekikula ky’abantu Ono ye mubaka ow’okutaano…

Read More

Omukwano gubatisse

Ebyentambula bisanyaladde abagaalana babiri bwebatandise okunyumya akaboozi wakati mu luguudo Abagoba ba motoka mu kibuga Shanghai ekya China babivuddeko eby’okuvuga nebadda mu kwelolera ku bayonta bano abatalinza kutuuka waka. Abagalana bano ekyewunyisa nti babadde mu motoka ya kupangisa era nga ne dereeva waabwe abadde ali ku ka filimuyenyini. Abangu bbo bakutte ne vidiyo ku masimu ezatandise okubuna ensi…

Read More

Amataba mu Sudan

Amataba gafuuse amataba e Nimule ku nsalo ya Uganda ne south Sudan Abasuubuzi abatunda ebintu ebivund ang’emmere beebasinze okukosebwa nga tebasobola kusala yadde okusomoka Enguudo ezisinga zzo tezikyayitikamu. Ssentebe w’abakolera e Sudan Rashid Manafwa agamba nti basobeddwa nga tebasobola kudda waka nate nga tebasobol akweyongerayo. Amataba gano gavudde ku nkuba etasalako mu kitundu kino

Read More

Obubbi

Abatuuze ku kyaalo Nabuti mu district ye Mukono baguddemu ensisi bwebagudde ku mulambo gw’omukuumi Omusajja ono ategerekese nga Justus Nahayima abadde mukozi mu maka g’omwogezi wa ministry ekola ku nosnga z’omunda mu ggwanga Kigambibwa nti ono yattiddwa abazigu abaabadde bazze okubba mu maka gano nebamutta ate nebakuulita n’emmundu ye. Abazigu bano baawalampye ekikomera nebagwa munda olwo nebakozesa ebiso…

Read More

Omwana abuze e Mulago

Ab’eddwaliro lye Mulago batandise okunonyereza ku mwana ow’omwezi ogumu eyabbiddwa Omwana ono ow’obulenzi yabuze olunaku lwajjo. Akulira poliisi ye Mulago, Hashim Kasinga agamba nti omwana ono yabuze ku ssaawa bbiri ez’oku makya olunaku lwajjo  kyokka nga nyina yawaabye ku ssaawa kkumi ez’olweggulo Omwana ono wa Aisha Nambejja owe Kamwokya nga yabadde amuleese kumugema Omukyala ono yeemuluddeko katono n’agenda mu…

Read More

Abakyala abaavu bafa mangu

Abakyala ababeera mu mawanga agaakula edda balina emikisa gy’okuwangaala okusinga banaabwe mu mawanga amaavu Ab’ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu bagamba nti abakyala batono mu mawanga agakyakula abasukka emyaka ataano. Kino kiva ku ndwadde ezibaluma ezitaggwa omuli n’ezo ezitalina kuba za bulabe Ekibiina kino kigamba nti walina okubaawo ebikolebwa ebya mangu okulaba nti abakyala bakoma okufa mu ngeri…

Read More

Obuteebaka ofunamu ndwadde za Mutima

Obuteebaka kimala kya bulabe nnyo eri obulamu bw'omuntu. Okusinziira ku basawo, omuntu alina okwebaka okumala essaawa munaana okubeera obulungi kyokka nga bangi tebaziweza. Bannasayansi bagamba nti obuteebaka buvaako endwadde z’omutima omuli ogwewuuba, nga gusobola n’okwesiba omulundi gumu omuntu n'afa ekibwatuukira. Abantu abaweza ebitundu 90 ku kikumi bafuna obulwadde bw’omutima olw’ensonga nti tebeebaka kimala. Kyokka era mu ngeri yeemu abakyala…

Read More

Prof Gilbert Bukenya abanja

Eyali amyuka omukulembeze w'eggwanga Prof Gilbert Bukenya abanja. Ono agamba nti tasasulwa nga yadde ekikumi ku nsimbi ezirina okuweebwa abaali abamyuka b'omukulembeze w'eggwanga. Ono agamba nti yakawandiika ebbula ssatu ng'abanja naye nga teri kavaayo. Bino bizze ng'ababaka mu lukiiko olukulu olw'eggwanga bakemulugunya ku ky agavumenti obutasasula abaali abamyuka b'omukulembeze w'eggwanga ne ba ssabaminisita

Read More

Ba kansala babakozesa

Ba kansala abagaala loodi meeya Erias Lukwago agyibweemu obwesige baliko ababakozesa Abategeezezza bino beebannamateeka ba Erias Lukwago bwebabadde bafundikira okwewozaako kwaabwe mu kakiiko akanonyereza ku kiwandiiko kya ba kansala 17 abagaala agyibweemu obwesige. Bano abakulembeddwaamu munnamateeka, Medard Ssegona bagambye nti akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi y’akozesa ba kansala bano era nga  beesanga bassizza emikono ku kiwandiiko. Ono…

Read More

Amataba e Bwaise

Enkuba etandise okutonnya etambuza bangi akanaginagi E Bwaise abaayo batandise okusula nga besimbye olw’amazzi agabamazeeko obwekyusizo. Enkuba ya leero erese bangi bafiiriddwa byonna byebazze bakolerera Bino bizze ng’ekitongole ekikola ku ntebereza y’obudde kyakamala okulangirira ng’enkuba bw’etagenda kusalako okutuukira ddala mu gwe kkumi n'ogumu.  

Read More