Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Gvaumenti terina ssente za bazaalisa

Gavumenti ekakasizza nti tebajja kusobola kufuna misaala gya bazaalisa ku malwaliro ga health center 3 ne 4. Minister akola ku by’ensimbi, Matia Kasaija agamba nti batunuuliddwa byakutereeza byabuzimbi omuli enguudo sso ssi byabulamu Kasaija agamba nti wabula abasawo bano tebasaanye kuggwaamu maanyi . Wabula ekitongole eky’obwa nnakayeewa akola ku nsonag za bamaama abafiira mu Sanya kigamba nti tebagenda…

Read More

Tewannabaayo mulala agufuna musujja guva ku nkwa

Tewanabaawo Muntu mulala efuna musujja oguva ku nkwa ogumanyiddwa nga Congo Crimean hemorrhagic fever mu district ye Agago Akulira eby'obulamu mu district eno, Dr Emmanuel Otto agamba nti abantu abasatu abaweebwa ebitanda nabo baasibuddwa ku lunaku lw’omukaaga Abantu bano bagyibwaako omusaayi neguvaayo nga gulaga nti tebalina bulwadde buno Otto agamba nti kati kyebagaala kwekwongera okubangula abantu u ngeri…

Read More

Abakyala tebamanyi bikwata ku famile

Ministry y’ebyobulamu egamba nti omuze gw’abakyala okujjamu embuto guvudde ku bantu okutaputa obubi obubaka ku  nkola za kizaala ggumba. Abakyala abatannaba kwetuuka abawerera ddala emitwaalo 30 beebajjamu embuto buli mwaka. Minister omubeezi akola ku by’obujjanjabi ebisookerwaako, Sarah Opendi agamba nti abakyala bangi tebatamanyi bikwata ku nkola zino nga bazoogerera ebikyaamu ate gyebigweera nga bafunye embuto ezandibadde ziziyizibwa. Ono…

Read More

Baasi ssizakuggya

  KKampuni ekola ku byentambula eya awakula enume, etegeezeza nga bw’etagenda kuleeta baasi ndala nga bweyali esuubiza mu mwezi guno. Kino kivudde ku ntalo mu mawanga agali mu kyondo kya buwarabu Amyuka omwogezi wa kkampuni eno,Tebaijuka agamba nti baalina enteekateeka z’okuleeta bus endala buli mwezi , wabula kkampuni ebakolera baasi zino eya ebategeezezza nti kino ssikyakusoboka

Read More

Akukusa ebyenyanja mu mpale

  Omusajja abadde akukusa ebyenyanja mu mpale akwatiddwa nga yenna atobye. Bino bibadde mu new Zealand Omusajja ono enzaalwa ye Vietnam abadde adda mu ggwanga to Australia . Omusajja ono abadde n’obwenyannmja musanvu mu mpale kyokka nga’soose kubusiba mu buveera omubadde amazzi Obuzibu bwonna buvudde ku mazzi agatandise okutonnya era empale ye yonna n’etoba Omusajja ono wakutanzibwa pawunda emitwaalo 5

Read More

KKapa bagikoze masaagi

Abantu bangi bagaala nnyo ebisolo byaabwe era nga basobola okukola buli kimu okubisanyusa Mu ggwanga lya Thailand, omusajja ayagala ennyo kkapa ye asazeewo kugikola masaagi Kkapa en0 ekwatiddwa ku lutambi nga yonna olaba nti enyumirwa okufa ko obufi . Nyini kkapa enoabadde ajinyiga n’okugiweweeta ku bibegabeega

Read More

Ebbeeyi y’emmere erinnye

Ebbeeyi y’emmere ezzeemu okulinnya Ebbeeyi yy’ebintu elinnye okuva ku bitundu 3 ku kikumi okudda ku bitundu 5 Kino kigambibwa okuba nga kivudde ku musana. Omukugu ku kitongole ekikola ku miwendo gy’ebintu, Vincent Nsubuga gaamba nti enkuba ebadde yabbula ng’ate awamu yaleeta buleesi bizibu mu kifo ky’okumalawo ebbula ly’emmere. Enkuba eno era yalemesa abantu okusiga

Read More

Mu paakayaadi beekalakaasizza

Poliisi eyitiddwa bukubirire okukkakkanya abasuubuzi ababadde beekalakaasa. Obuzibu buvudde ku kwongeza ssente zebawa buli mwezi okuva ku mutwalo gumu kitundu okudda ku mitwalo ebiri kitundu Abasuubuzi bano babadde batandise okwegugunga nga bagamba nti sente zino nyingi. Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi mu kadde kano ali mu kwogerako n’abakulembeze b’abasuubuzi mu kawefube w’okulaba nti embeera teddamu…

Read More

Okutambula kukyuusa omubiri

Bannasiyansi bazudde lwaki omuntu alwaawo okumanyiira ekifo ky’atabeeramu buli lunaku Abanonyereza okuva mu university ya Oxford bagamba nti kino kiva ku mbeera omuntu gy’ayitamu ng’atambula naddala bw’aba atambulidde mu nyonyi. Bano abagamba nti byebazudde byakubayamba ookukola eddagala omuntu ly’ayinza okumira ng’ali mu nyonyi oba ng’agivuddeko omubiri gwe neguba nga gutereera mangu Mu ngeri yeemu era bano bagamba nti…

Read More