Embeera ekyali ya bunkenke e kasenyi wali e Nalukolongo ng’amayumba 10 geegamaze okusanyizibwaawo,.
Amayembe agagambibwa nti gaagulwa omuntu atannaba kutegerekeka negamusaba abantu 7 era nga yattako babiri bokka.
Gano obwedda agoogerera waggulu era gategeezezza nga bwegetaaga obukadde buna okugenda oluvanyuma lw’okuwa eyagaleeta obugagga.
Akulira abasawo bekinansi mu ggwanga Mama Fiina yasuubizza okuyambako wabula nanenya poliisi okukuba amasasi mu…
Mu ggwnaga lya China omusajja abadde alunda ebiyenje ebiri mu kakadde bimutoloseeko okuva mu famau mw’abadde abikuliza
Ebiyenje bino bibadde bikozesenwa abasawo b’ekinnasnsi era ng’omulunzi ono yasalawo okubikuza yefunire akasente
Kigambibwa okuab ng’ebiyenje bino okutoloka waliwo akumye omuliro ku biyumba byaabyo.
Omuzannyi Daniel Sserunkuuma n’omukwasi wa goolo Abbey Dhaira ssibakwetaba mu gw’omukwano wakati wa Cranes ne Bostswana ku lunaku lw’omukaaga
Omutendesi wa tiimu Micho agamba nti Serunkuuma tiimu gy’asambira mu Kenya yagaanye okumuta ate ng’alina okutya nti Dhaira ayinz aokuba nga tannawona oluvanyuma lw’okufuan obuvune
Wabula MIcho agamba nti yadde bano tebaliiwo tiimu nnetegefu okukola kyomma ekisoboka okuwangula…
Abaana abawala abafuna embuto nga bato bali mu bulabe bw’okufuna ebizibu ate ebisingako
Abakugu mu nsonga z’abakyala bagamba nti buli muwala lw’afuna olubuto nga muto akosa obulamu bw enaddala nabaana kubanga aba tasobola kuwnairira lubuto
Omusawo mu ddwaliro e Mulago Dr Charles Kiggundu agamba nti omwana yenna bw'azaala nga muto amagumba ge gassibwaako amaanyi mangi olwo n'akosebwa…
Okubalukawo kw’omusujja ogva ku nkwa ogumanyiddwa nga Congo Crimean fever ssikwakosa abayisiraamu abagenda e Makka
Omwogezi w’ekitebe ekikulu eky’obuyisiraamu Alhajji Nsereko Mutumba agamba nti okwawukanako omwaka oguwedde Uganda bweyagaanibwa okutwala abalamazi olwa Ebola , ku luno babakkiriza okusindika abalamazi
Ono agamba nti omusujja guno ssigwamaanyi era nga tewali nsonag lwaki abantu beeralikirira
Abayisraamu abali mu 1200 beebasuubirwa okulamaga…
Ab’ekitongole kya Umeme bagenda kwongera okutuusa bu meter bwa yaka eri ebitundu ebitali bimu
Bu meter buno bwatandikira Mutungo nga bugezesebwa kyokka kati Umeme egamba nti ebintu byatambula bulungi keekadde okubissa mu nkola.
Ba customer abasoba mu mitwalo ena n’ekitundu beebagenda okutandika okukozesa meter zino.
Wansi w’enkola eno customer asasulira masnayalaze g’atannaba kukozesa era ssente z’asasula bwezigwaako ng’amasanyalaze…
Abakulembeze mu kitundu kye mpererwe beekubidde enduulu eri spiika Kadaga olw’obutale bwaabwe obusendebwa buli lukya
Bano bakulembeddwamu Kezekiah Damba ne Isak Ssemaka nga bagamba nti obutale bwaabwe mu kitundu kye Kikaaya ne Mpererwe bwasendebwa KCCA nga tebebuuzizza nako
Bagaala KCCa ebasasule olw’okufiirizibwa ensimbi
Babadde basisisnkanyeemu spiika Kadaga abasuubizza okuwandiikira minister akola ku nsonag z’omukulembeze w’eggwanga okukola ku nsonag…
Kooti olunaku lwaleero egabye ensawo egyazibwa ku mutembeeyi eyali azitundira ku nguudo mu kibuga
Ensawo zino ezisoba mu 30 ziwereddwa abasibe be Luzira.
Omusuubuzi amanyiddwa nga Christopher Agaba yeeyakwatibwa ng’atunda ensawo zino
Agaba alabiseeko mu kooti ya city hall ng’etwalibwa omulamuzi Juliet hatanga
Yye omusuubuzi ono alagiddwa okusasula emitwaalo 50 oba okusibwa emyezi mukaaga oluvanyuma lw’obutegaana butembeeyi
Ekyuuma ekikola sikaani mu ddwaliro e kkulu ee Mulago kizzeemu okufa.
Guno gwakusatu ng’ekyuuma kino kifa mu mwezi etaano gyokka
Ekyewunyisa nti ekyuuma kino kyagulwa omwaka oguwedde ku buwumbi 2
Abalwadde 40 beebakolebwaako buli lunaku ku kyuuma ku shs emitwalo 12
Sikaani mu malwaliro amalala yamitwaalo 20 ne 25 era nmg’ekozesebwa ku balwadde abalina obuzibu ku bwongo, mu kifuba…
Gavumenti ya ssabasajja kabaka esabye ababaka mu kabondo ka Buganda okukoma okunenengana
Kino kiddiridde akulira akabondo kano Godfrey Kiwanda n’omumyuka we Betty Nambooze okusika omuguwa ku ndagaano eyatuukibwaako Buganda ne Gavumenti ya wakati
Omwogezi wa Buganda, owek. Denis Walusimbi agamba nti ababiri bano basaanye kwongera kutegeera ndagaano mu kifo ky’okulwaana
Walusimbi agamba nti ababiri bano bakolerera Buganda era…