Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ebibala bikola ku sukaali

Okulya ebibala nga apple n’entuntunu enzungu ziyite grapes kiyamba okukendeeza emikisa gy’omuntu okufuna obulwadde bwa sukaali. Ate bwo obubala obumanyiddwa nga blue berries bukendeeza obulabe okutuuka ku bitundu 26 ku kikumi okwawukanako n’ebibala ebirala. Okunonyereza kuno kwakoleddwa ku bantu abasoba mu mitwalo 18 mu ggwanga lya America Wabula nno abakugu abalala mu ndwadde ya sukaali bagaba nti ebibala…

Read More

Abaana abazaalibwa nga balina mukenenya bakendedde

  Omuwendo gw’abaana abazaalwa nga balina akawuka ka mukenenya bakendedde Ab’eddwaliro erijanjaba n’okubudabuuda abalina mukenenya ekya Mildmay bagamba nti buli mwezi abaana abazaalwa nga balina kawuka bali 14 bokka okwawukanako n’emabega bwebaali nga 40. Akulira eddwaliro lino,Dr.Babara Mukasa kino akitadde ku nkola eziyiza ba maama okusiiga abaana baabwe obulwadde. Ono agamba nti bafuba okukebera abakyala abali embuto nebatandikirawo okubawa…

Read More

Okuwandiisa abafa n’abazaalibwa

Ekitongole ekikola ku kuwandiisa abantu abazaalibwa n’abafa kisabye gavumenti kuvaayo n’enkola enayamba okulaba nti abantu bonna bawandiisibwa Ekitongole kino kigamba nti yadde tteeka nti abantu bonna abazaalibwa n’abafa bawandiisibwa, tekikoleddwa bulungi kubanga tewali nkola nnungamu ekirambika. Okusinziira ku alipoota eyakolebwa mu mwak agwa 2011,ku baana abato abali wansi w’emyaka 5, ebitundu 30 ku buli kikumi bokka beebawandiise Bino…

Read More

Alidde ekigere ky’omuntu

Omusajja alidde akagere k’omuntu mu baala atanziddwa doola ebikumi bitaano Akagere kano kabadde kasuuuliddwa mu mwenge nga bw’eri enkola ku ggwnaga lya Canada mu kibuga Dawson. Mu kibuga kino abaayo , wabaawo empaka ng’omuntu anyway omwenge guno okutuuka lweguggwaamu akagere kano nekakoona ku mimwa gye kyokka ng’ono yye olumutuuse ku mimwa n’akalya   Abategeka empaka zino bbo nakati bakyeralikirira…

Read More

Cranes esitudde

Team ye gwanga eya Cranes esitudde emisana ga leero ku nyonyi ya Kenya Airways nabazanyi amakumi 20,okwolekera  egwanga lya Botswana. Eno  gyebagenda okusamba omupiira ogwomukwano nga tebanagenda Morocco okusamba ne Senegal week ejja. Mu mpaka ez’okusunsulamu abaneetaba mu za World cup ezigenda okubeera e Brazil omwaka ogujja. Wabula Fufa ekyalemedwa okufuna ensimbi President Museveni zeyawa team eno okugiyambako…

Read More

Eza masaza

Empaka za kamalirizo eza massaza ez'omwaka guno zikakasidwa nga zakubeerayo nga 5th omwezi ogwekumi,october. Omuwandiisi wakakiiko akateesi teesi kempaka zino Rogers Mulindwa ategezezza nga Ssabassajja Ronald Muwenda Mutebi bwasiimye okuggalawo empaka zino era zigenda kubeera mukisaawe e,Nakivubo. Empaka zino ziri kuluzanya lwa semi finals eziri wakati wa Bulemezi ne Gomba kw'ossa  Ssingo ne Buluuli era zigenda kuzanyibwa…

Read More

Endwadde ezitawona

Gavumenti erangiridde enteekateeka z’okutuusa obujjanjabi eri abantu abalina obulwadde obutawona mu districts 112 ezikola Uganda Ng’ayogerera mu lukiiko olukubaganya ebirowoozo ku nzijanjaba eno, minster Sarah Opendi agambye nti bagenda kutandika na kusomesa ba naasi abakola ku bantu bano nga tebannatuuka mu bitundu eby’enjaawulo. Ku bantu 10 bannayuganda b’osanga, omu yetaaga obujjanjab buno kyokk anga bubadde bwa bbula…

Read More

Bakubaganye empawa

Gavumenti ekubaganye empawa ku by’omusujja oguva ku nkwa ogumanyiddwa nga Congo Crimean fever. Yadde nga waliwo abantu abalala bana abaakakasiddwa okufuna ekirwadde kino, ate minister akola ku byobujjanjabi ebisookerwaako, Sarah Opendi agamba nti tewali muntu mulala era nga bafunye okutaayiza obulwadde buno obutagenda mu bitundu birala. Opendi agamba nti bukyanga bulwadde buno bubalukawo ssabiiti bbiri emabega Ministry…

Read More

Tewali bitanda

Amalwaliro gonna mu ggwanga galina obuzibu bw’obutaba na bitanda Ministry ekola ku byobulamu egamba nti yeetaga obuwumbi 22 nga zino zakugula bitanda na mifaliso Minister omubeezi akola ku byobulamu, Dr Ellioda Tumwesigye agamba nga bafunye ensimbi zino omugotteko gujja kukendeerako mu malwaliro Ensonga eno  ereeteddwa ababaka Betty Amongi ne Kenneth Omona abalaze obwenyamivu olw’embeera y’amalwaliro embi ennyo naddala…

Read More

Makerere eggulawo nga 7 September

Ettendekero ekkulu e Makerere liggulwaawo nga musanvu omwezi ogujja Kino kituukiddwa mu Lukiiko olwetabiddwaako abakulira akakiiko akatwala ettendekero olw’eggulo lwa leero. Kino nno kiddiridde abasomesa okutuuka ku kukkaanya okuddamu okukola oluvanyuma lwa ssabiiti namba nga beediimye. Abasomesa bano kino bakikoze oluvanyuma lw’ettendekero okubongera ku kasente Wabula abasomesa bano bagamba nti terunaggwa bakusigala nga basaba bongezebwe omusaala Abakulira Mohammed Kiggundu agamba…

Read More