Omusajja eyayokya mukyala we n’asirikka okufuuka evvu asinziddwa ku mere e Luzira
Egesa Yoweri nga mutuuze we Kakiri mu Kayunga yayiira mukyala we amafuta nga yebase n’amala n’mukoleeza
Obuzibu bwonna bwava ku mukyala ono omugenzi Thereza okugaana okugenda okuziika neighbor eyali efudde nga bba bweyalia mulagidde
Omusajja ono teyegaanye musango guno bwabadde mu maaos g’omulamuzi Margret Tibulya nga…
Mu ggwanga lya Srilanka gavumenti etaddewo okunonyereza ku mbwa za poliisi 18 ezagattiddwa mu bufumbo.
Embwa zino zagattiddwa ku mbaga makunule eyasombodde abantu okwerolokera
Wabula minister wa Srilanka akola ku by’obuwangwa agamba nti embaga eno teriiyo era yavvodde ennonno ku bufumbo.
Poliisi yeetonze dda okutegeka omukolo guno kyokka ng’egamba nti yakikoze okusikiriza embwa zino okuzaala.
Omusajja omubuusi w’okumwezi akoze akatiisa eri muganzi we
Omusajja ono David Osario abuse n’awandika ku mwezi ng’asaba muganzi we akkirize okumufumbirwa
Bwebityo omwezi gutuuse negweyoleka n’amusaba atunule waggulu.
Omuwala bimusobedde okulaba ng’asomako ebigambo ebimusaba obufumbo era mu ssanyu ery'ekitalo n'akiriza okumwagala
Omusambi w’omupiira enzaalwa ye Brazil Kaka ayabulidde tiimu ya Real Madrid n’addayo mu tiimu ya AC Milan
Madri yagula kaka obukadde bwa pawunda 56 kyokka nga kigambibwa okuba ng’addiddeyo ku bwereere nga tiimu zigula n’okutunda abazannyi
Kaka nga yeeyawangula ekikopo ky’omuzannyi ow’ensi yonna ey’omwaka 2007 endagano gy’asizzaako emikono ne AC Milan ya myaka 2
Akakiiko akakola ku byempuliziganya kanyonyodde lwaki amasimu gatannaba kuwandiisbwa gakyaali ku mpewo
Omwogezi w’akakiiko, Fred Otunnu agamba nti bakyetegereza namba zewandiisa basooke batandike okugajja ku mpewo
Otunnu wbaula agamba nti kino nga kiwedde begnda kujjako amasimu ano ku mpewo
Wabula bbo ekiirwanirira edembe lya bannamawulire ekya Human rights network for journalists Wokulira Sebaggala agamba nti tebannabawa bukakafu nti…
Bannayuganda ababeera emitala w’amayanja bagaala kufuna mukiise mu palamenti
Akulira ekibiina kya Oxfam International, Winnie Byanyima asabye gavumenti okutunuulira abantu bano kubanga beebatunda Uganda emitala w’amayanja
Ono yabadde ayogerera mu Lukiiko olugatta bannauganda ababeera mu bukiikakkono bwa America
Ono era yawadde bannayuganda bano amagezi okutwaala ensonga eno mu maaso kubanga kigasa bbo okusooka n’eggwanga okutwaliza awamu,.
Byanyima era agamba…
Kampala capital city authority eyongedde okutabukira abatembeeyi
Omuvubuka eyawatibwa ng’atembeeya engoye enkadde zonna zisanyiziddwaawo
Joel Kisekka ow’emyaka 20 yagyibwa mu bitundu bye Nakivubo ng’engoye zino gy’azitundira
Alagiddwa era okusasula emiitwaalo 20 oba yeebake e Luzira omwezi.
Mu ngeri yeemu, abatunzi ba orbit bana batanziddwa emitwaalo 10 buli omu.
Kuno kubaddeko Joseph Nyagwe nga bano nno ssinga balmeererwa okusasula bakusula e…
Ba nnabakyaala abawerera ddala 70 bakuba bataka wano okwetaba mu Lukiiko lwaabwe olusoose
Olukiiko luno lutegekeddwa maama Sylivia Nagginda nga lugendereddwaamu kukubaganya birowoozo ku bizibu ebiruma abakyala, mukenenya n’ebikyalemesa abaana bawala okusoma
Akulira ekibiina kya Maama Nabagereka Solome Nakaweesi agamba nti essira bagenda kulisimba ku bakyala abali mu byaalo ng’olukungaana luno lugenda kuggulwaawo president museveni
Bannamateeka abawolereza ba councilor 17 abagaala loodimeeya agyibweemu obwesige basabye akakiiko okukkiriza loodimeeya agyibweemu obwesige nga ba kansala bwebasaba.
Nga bafundikira oludda lwaabwe olwaleero, bano abakulembeddwaamu Kiryoowa Kiwanuka agambye nti akakiiko kaleme kwonoona budde kakkirize ba kansala bagyeeu loodi meeya obwesige kubanga bimulemye
Kiryoowa agambye nti loodimeeya emilimu gyamulema bweyagaana okuyita enkiiko za bonna mu myezi mukaaga
Agasseeko…
Obulwadde bw’akafuba kizuuliddwa nti bwava mu Africa emyaka bufukunya amabega
Kino kisanguddewo bulijjo ebyogerwa nti obulwadde buno bwava ku nsolo emyaka omutwalo mulamba emabega
Okunonyereza kuno kulaza nti abavaako obulwadde buno baali bayizzi emyaka emitwaalo 70 emabega
Wabula tebalaze wa wenyini mu Africa wava obulwadde buno.
Obulwadde bw’akafuba butta abantu abasoba mu kakadde buli mwaka mu nsi yonna.