Abasomesa basitudde buto ng'olusoma olujja lusembedde.
Bano bagamba nti teri kulinnya mu kibiina okutuusa nga bongezeddwa ssente.
Bano bagaala gavumenti esooke ebongeze omusaala ebitundu 20 ku kikumi.
Ssabawandiisi w'ekibiina ekibagatta, James Tweheyo agamba nti abasomesa tebakyalina ssuubi mu kakiiko akateesa ne gavumenti ku nsonga eno.
Tweheyo agamba nti olukiiko lwebabaddemu ne minister w'ebyenjigiriza, Jessica Alupo alemereddwa okutwaala ensonga zaabwe…
Poliisi yakugenda mu maaso n'okulawuna ekibuga okulaba nti tewabaawo mivuyo gikolebwa abagoba ba boda boda.
Akulira ebikwekweto mu poliisi, Grace Turyagumanawe okwogera bino abadde ayogerako eri aba bodaboda ababadde beekalakaasa e Mulago
Bano babadde batadde emisanvu mu luguudo n'okukasukira poliisi amayinja.
Turyagumanawe agamba nti tewali nsonga lwaki abagoba ba piki bano beebakalakaasa oluvanyuma lwa KCCA okusazaamu ebirango byonna…
Poliisi etandise okussa mu nkola eky'okutta b'ekwatira mu bubbi
Abasajja babiri, ababadde babba amafuta okuva mu geneleeta z'emirongooti gya MTN bakubiddwa amasasi.
Peter Nkondwe ne Julius Nkutu babasanze lubona nga babba amafuta enkya ya leero.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n'emiriraano, Ibin Ssenkumbi agamba nti ababiri bano baddusiddwa mu ddwaliro e Mulago ng'okunonyereza bwe kugenda mu maaso.
Mu ngeri…
Omusajja enzaalwa ye Brazil asazeewo nti bagattibwe mu bufumbo obutukuvu n’embuzi ye.
Omusajja ono ow’emyaka 74 asazeewo okumala obulamu bwe bwonna obusigadde n’embuzi ye gy’aludde nayo naye nga temwabuulirangako.
Embaga egenda kubeerawo nga 13 omwezi ogujja
Ekyewunyisa nti embuzi eno olugoye lwaayo lwebasoose okugigulira yalulidde naye nga bagenda kugifunira olulala.
Abaana abali wakati w’omwaka 1- 15 bawereddwa omukisa okukozesa kabuyonjo ku bwerere mu bitundu bye Katanga.
Kino kikoleddwa okukendeza ku kumansa kazambi mu kitundu kino.
Ssentebe w’ekyaalo, Hassan Wasswa agamba nti abaana bano babadde basanga obuzibu okufuna webeyambira olw’ensonga nti eziriyo za ssente.
Wabaluseewo obutakkaanya mu katale ke wa Kisekka
Abasuubuzi abamu balumbye abakulembeze baabwe nga babalanga kutunda katale
Abasuubuzi bano bakulembeddwaamu Hamida Nasimbwa nga bagamba nti bafunye amawulire ng’omwaka ogujja wegunatuukira ng’akatale Mye
Wabula omwogezi w’akatale, Mubarak Kalungi agamba nti kino ssi kituufu nga ssinga baba bakukulakulanya akatale bakwebuuza ku buli omu.
Ababaka abagobeddwa mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga baweze nga bwebatagenda kuva mu palamenti yadde kooti ebagobyeeyo.
Kooti etaputa ssemateeka olwaleero eragidde nti ababaka Mohammed Nsereko, Barnabas Tinkasimire,Wilfred Niwagaba ne Theodore sekikubo bave mu palamenti ng’okuwulira omusango gwaabwe bwekukolebwa.
Nga boogerako eri bannamawuwlire, ababaka bano bagambye nti bbo bagoberera byasalibwaawo spiika eyabawa ebifo ebyenjawulo.
Wabula bbo bannamateeka baabwe abakulembeddwamu Medard…
Abasomesa e Makerere bakakasiddwa ku nsako eyabongezebwa gyebuvuddeko.
Kino kiddiridde ebigambo ebisoose okuyita nga biraga nti tewaliwo nsimbi zigenda kussa mu nkola byasalibwaawo mu Lukiiko.
Abasomesa bano bakkiriziganya okudda ku mirimu oluvanyuma lw’okusuubizibwa okubongeza ensako
Omwogezi w’abasomesa Louis Kinda agamba nti bafunye obukakafu okuva eri abakulira ettendekero nti buli kimu kijja kubeera kirungi.
Abakulembeze b’akulembeze ba boda boda basitudde buto.
Bano baweze nga bwebatagenda kukkirizza KCCA kugenda mu maaso na kuwandiisa pikipiki kutuusa ng’egyeewo obulango obulangirira okuwandiisa kuno.
Mu Lukiiko lwebatuddemu, abakulembeze bano bagambye nti bakkanya nti buli kimu kiyimirizibwe kyokka nga kibewunyisa okulaba nga KCCA terina kyeyatadde mu nkola.
Omuyima w’ekibiina kya Bodaboda 2010, Abdu Kitatta agamba nti bagenda okulinnya…
Enkambi abantu mwebanayita okumanya ebikwata ku bulamu bwaabwe yakubaawo ku lw'omukaaga luno.
Enkambi eno amanyiddwa nga Full Woman health camp ku luno essira yakulissa ku bya ndya bya baana n'abakyala abali embuto.
Omukungu mu Monitor publications, Jackie Tahakanizibwa agamba nti enkambi eno egenda okubeerawo omulundi ogw'okutaano, yakukozesebwa abakyala ,abaami n'abaana okumanya ebisingawo ku bulamu bwaabwe ate ku…