Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ekisaawe ky’enyonyi mu Buganda kijja

Gavumenti ya ssabasajja Kabaka netegefu Okwaniriza  by’okuzimba ekisaawe ky’enyonyi mu Buganda Katikkiro Charles Peter Mayiga agamba nti bagaala kusooka kumaliriza masiro batandike okukola ku nteekateeka ez’omuggundu ng’eno. Amyuka akulira ekitongole ky’enyonyi, David MPango anyonyola ategeezezza ng'enteekateeka eno bw'ejja okusitula Uganda ne Buganda era nga yetaaga buwagizi Bano okutuuka ku kino, nga bali mu nsisinkano, ab’ekitongole kyennyonyi mwebayise okuddukirira…

Read More

Embizzi enywedde omwenge neyekola obusolosolo

Abantu okugenda mu ma baala nebanywa omwenge olwo nebanaawuza entalo tekikoma ku bbo bokka, N’ebisolo bikikola Embizzi enywedde obucupa bwa beer 18 eguddewo olutalo ku buli kintu. Omwenge guno tegwakomye kukutamiiza mbizzi eno wabula n’okugileka ng’erumwa enjala. Embizzi eno obwedda etomera buli gw’esanga kko n’’okuyiwayiwa kasasiro ng’enoonya eby’okulya.   Embizzi eno okumanya yewaga etuuse n’okulumba…

Read More

Temutiisatiisa Basomesa

Ensonga z’abasomesa zisitudde buto mu lukiiko olukulu olw’eggwanga. Ababaka bagaala akakiiko akalwanirira eddembe ly’abantu okukola ku ky’abasomesa abatiisibwatiisbwa buli lweboogera ku nosnga zaabwe Kino kiddiridde minister akola ku nsonga z’ebyenjigiriza, Jessica Alupo okulagira abakulira ebyenjigiriza okufuba okulaba ntu abasomesa bakola. Akulira kakiiko akalwanirira eddembe ly’abanti Meddie Kaggwa asuubizza okutunula mu nsonga eno.

Read More

OKuwandiisa Piki kuteredde

Okuwandiisa abagoba ba bodaboda kyaddaaki kuweddemu emivuyo Abagoba ba piki bano batandise okugenda okwetaba mu kubawandiisa ku bitebe ebitali bimu Wetwogerera nga piki ezisoba mu 1000 zeezimaze okuwandiisibwa ate ng’abalinze bangi Omwogezi a KCCA Peter Kawuju agamba nti bakusigala ng’era basomesa aba piki bano ku makulu agali mu kwewandiisa Leero okusomesa kuno kubadde nateete

Read More

Kaawa mulungi ku bakyala

Abakyala basobola okukendeeza ku bulabe obw’okufuna kokoolo akwata olubuto ssinga banywa ku kakaawa n’okulya obulungi. Abakyala era basobola okukola dduyiro olwo emibiri gyaabwe negiba bulungi Okunonyereza okukoledwa mu Bungereza kwekulabye bino era ng’abakyala bawereddwa amagezi okukozesa wakiri eddakiika 30 okwekuuma nga balamu bulungi. Wabula ate abasawo abalala bagaba nti kino tekisaanye kwesiguza bantu kwekamirira kaawa kubanga naye bw’ayitirira…

Read More

Wuuno akola masaagi

Mu ggwanga lya Georgia omukazi akola ssente empya n'enkadde lwa kukola basajja masaagi. Wabula ekimufuula ow'enjawula kubanga  masaagi agikozesa mabeere amanene obulungi. Bere ddene ono Kristie love agamba omulimu gwe guno agwenyumirizaamu nyo kubanga gumufudde wattutumu ate nga tasasula zabupangisa kubanga agukolera wuwe.

Read More

Okusomesa ku musujja gw’ensiri

Minisitule ekola ku by'ensimbi yakuvaayo n’enteekateeka namutaayiika ey’okulwanyisa omusujja gw’ensiri. Kino kizze nga Uganda ekyalwana okwejja mu kibinja ky’amawanga agakyatawanyizibwa obulwadde buno naddala bwegutuuka ku baana Ng’ayogerako eri bannamawulire, minister akola ku byensimbi, Maria Kiwanuka agambye nti omwaka guno ,bakukwatagana ne ministry y’ebyobulamu okutongoza enteekateeka eno okwetoloola eggwanga lyonna Ono era  agamba nti bagenda kukolagana era n’ebibiina by’obwannakyeewa…

Read More

Ababaka baluyiseeko

Ababaka abagobwa mu kibiina kya NRM bafunye ku buweeerero. Abalamuzi musanvu abatuula mu kooti y'okuntikko mu ggwanga nga bakulembeddwamu omulamuzi Bart Katureebe basazizamu ekya kkooti etaputa semateeka okugoba ababaka bano. Kiddiridde kooti eno okulagira sipiika Rebecca Kadaga okugaana ababaka bano okulinnya mu palamenti okutuusa ng'omusango gwaabwe gumaze okuwulirwa Wetwogererea nga bano baddembe okukiika mu parliament, okutuusa nga 18…

Read More

Yeerabidde Mukyala we

Omusajja gwebakubye eddagala nga bamulongoosa akimazeeko mukyala we bw’azze engulu nga takyamujjukira. Omusajja ono atandise na kwegomba mukyala amubadde mu maaso era n’atandikirawo okumusuula obugambo ng’amutenda nga bw’ali omubalagavu. Omusajja ono yebuuzizza oba abasawo beebabadde bamuwadde omukyala ono oluvanyuma lw’okuyita ku kufa. Omusajja bw’ategeezeddwa nti oyo y’abadde mukyala we, awogganidde waggulu nti abadde awangudde akalulu.

Read More

Gavumenti etabukidde abasomesa

Ministry ekola ku byenjigiriza mu ggwanga alagidde abakulira eby'enjigiriza mu district zonna okukola kyonna ekisoboka okulaba nti abasomesa bagenda mu bibiina.   Ekiwandiiko ekifulumiziddwa minisita w’ebyenjigiriza, Jessica Alupo agamba nti abasomesa bonna balina okugenda okukola n’okubaawo okuyingiza abaana mu bibiina.   Alupo asabye abasomesa obutalekerera mirimu gyaabwe mu kaseera webasinga okwetaagibwa.   Olunaku lwajjo, abasomesa balangiridde ng’akeediimo kaabwe bwekatandise nga tebagenda…

Read More