Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abasoba mu 60 bafu, Munnayuganda yoomu ku bakoseddwa

Gavumenti egamba nti waliwo munnayuganda akoseddwa mu bulumbaganyi obwakoleddwa e Kenya ku kizimbe kya WestGate shopping mall Ekiwandiiko okuva eri minisita akola ku by'amawulire, Rose Namayanja akakasizza kino yadde nga tayogedde bisingawo ku mannya g'omuntu ono, yadde ebimukwatako Tekitegerekese era ngeri ki omuntu ono gy'akoseddwaamu  nga gavumenti egamba nti yakwongera okuwa amawulire. BBo abayisiraamu wano mu Uganda bavumiridde…

Read More

Embalirira eyisiddwa, omusolo ku mafuta gugyiddwaawo

Ab'oludda oluvuganya gavumenti baanirizza ekya gavumenti okujjawo omusolo ku mafuta g’ettaala. Akakiiko ka palamenti akakola ku by'ensimbi olunaku lw’eggulo kayanjudde alipoota  nga kalaga ng'omusolo ogw'enusu 200 ku mafuta gano bwegwagiddwaawo sso nga ogw'ebitundu 18% ku mazzi ga taapu gwo gwasigaddewo. Minister w’ebyenfuna mu gavument ewabula , Geoffrey Ekanya agamba kino kibadde kyetaagisa naddala mu biseera bino nga…

Read More

Abasomesa bongedde okutabuka, Tetujja kusomesa

  Abasomesa bongedde okutabuka ku by’emisaala gyaabwe. Kati bayise minista akola ku byenjigiriza Jessica Alupo okubaawo mu Lukiiko olw’awamu lwebategese ku bbalaza okuteesa ku nsonga zaabwe Olunaku luno gavumenti lweyataddewo eri abasomesa okubeera nga bazze ku mirimu oba ssi kkyo boolekedde kugobwa. Ssabawandiisi waabwe, James Tweheyo agamba nti bagaala minister ayongere okutegeera ebibaluma oba olyaawo lw’anabakiikirira obulungi.

Read More

Kanyama agonze

Omusajja abadde awakanira obwa serulungi omukwano gumutisse n’akka ku maviivi n’asaba mukyala we akkirize okumufumbirwa Omusajja ono abadde ayambadde akapale ka kamiimo nga kalinag akawugirwaamu Omusajja ono abuse wakati mu ssnayu oluvanyuma lwa muganzi we okumukkirize. Omusajja ono agambye nti kino kimwongedde amaanyi okusigala mu mpaka zino ng’akimanyi nti agenda kufuna aboobeza ettooke  

Read More

Etteeka ku siriimu litankanibwa

Okukubaganya ebiroowozo ku bbago ly’etteeka erikwata ku mukenenya kuzzeemu. Kino kiddiridde alipoota okuva eri  minisitule y’ebyobulamu okulaga ng’obulwadde bw amukenenya bwebweyongedde ate nga ku luno buli mu bayizi ba University abali mu bisulo. Minista akola ku mpisa n’obuntu bulamu, Simon Lokodo agamba nti eetteeka lino lyakuyamba okutangira ku bulwadde okubuna Abawakanya etteeka lino basimbira ekkuuli akawayiiro akaka abantu…

Read More

Cranes efunye ekibinja

Cranes eyabazanyi abasambira ewaka eteredwa mukibinja B mukalulu akakwatidwa mukibuga Cairo akawungeezi ka leero. Mukibinja kino mulimu Zimbabwe,Morocco ne Burkina Faso. Empaka ezakamalirizo zakubeera mu South Africa omwezi gwa January omwaka ogujja. Bo abategesi South Africa bali mukibinja A omuli Mali ,Nigeria ne Mozambique. Guno gwemulundi gwa Uganda ogwokubiri nga yetaba mumpaka zino nga nogwasembayo eSudan mu 2011 Uganda…

Read More

Enkambi ziggaddwa

Ministry ekola ku byobulamu mu ggwanga eggaddewo ebifo byeyassaawo okujjanjaba abantui abalumbiddwa ekirwadde ekyefananyirizaako ekye Ebola ekya Congo Crimean fever Kino bakikoze oluvanyuma lw’obutafunayo bantu bapya balina kirwadde kino Obulwadde buno bwabalukawo mu district ye Agago nebutta abantu babiri Omukungu mu minisitule y’ebyobulamu Jane Aceng agamba nti bakyetegereza embeera nga bweri nga ssinga tewabaaow bapya bafuna kirwadde kino,…

Read More

Owino bababanja

Abasuubuzi mu katale ka Owino bandifiirwa ettaka lyaabwe ely’omu Kisenyi mu kaseera k’okukulakulanya akatale Wansdi w’ekibiina kya Slowa, abasuubuzi bano beewola obuwumbi 3 mu obukadde 800kyokka nga tebasasulanga Omwogezi waabwe, Wilberforce Mubiru agamba nti banka yabawadde okutuuka nga 28 omwezi ogujja okusasula ensimbi zino ezizze zeetuma okutuuka ku buwumbi 6 Abasuubuzi bagusalidde KCCA ebetolozza okutuuka ne banka okutandika…

Read More

Emotoka ziboyeddwa

Emmotoka eziriko namba puleeti z’ebweru 27 zeeziboyeddwa Ab’ekitongole ekiwooza beebayodde emmotoka zino nga bagamba nti emmotoka yonna atali ya Yuganda terina kusukka nnaku 90 nga tennafuna namba za kuno Ku mmotoka ezikwatiddwa, 15 zibadde mu ggwanga mu bumenyi bw’amateeka ate nga 12 zibadde ne namba puleeti za wano naye nga tezirina biwandiiko Akulembeddemu ekikwekweto ekiyodde emmotoka zino, Julius…

Read More

Okugema abaana

Abaana abali mu bukadde 2 abali wansi w’emyaka etaano beebagenda okugemebwa obulwadde bw’okugongobala Enteekateeka eno egenda okumala ennaku ssatu yakubuna mu disitulikiti 37 Muno mwemuli Amudat, Buduuda,Bugiri, Buikwe, Mayuge, Kyenjojo n’endala nyingi Omukungu mu minisitule y’ebyobulamu, Jane Aceng agamba nti bagaala kukendeeza ku muwendo gw’abaana abali mu bulabe bw’okugongobala. Abaana abali mu mitwalo 15 beebatali bageme ate nga…

Read More