Ababbi buli lwebeyongera okuyiiya nga n’abantu bayiiya engeri y’okukuumamu ebyaabwe
Mu ggwanga lya Bungereza, omusajja akozesezza enkola empa ey’okuwandiisa essimu n’eggulawo ng’ekulabye oba ng’ewunyirizza ekitundu kyo
Ono yye yawandisaayo nywato ya bbeere lye.
Omusajja ono alese buli omu asamaliridde bw’akutte enywanto ye n’agissa ku ssimu neyeggula.
Ono agambye nti essimu ye teri mulala ayinza kugiggula okujjako ng’asizzaako enywato ye
Bw’oba obadde olowooza nti abajaasi tebalina budde bwa laavu osaanye okuwulira gano
Abakulembeze mu maggye bategese embaga y’ekirindi eri abajaasi ng’emigogo gy’abajaasi 70 gyegigenda okugattibwa mu bufumbo obutukuvu.
Aduumira eggye ly’eggwanga Gen Katumba Wamala agamba nti bategese embaga eno okuwewula abajaasi ku byetaago by’okutegeka embaga
Kampala capital city authority ekyagenda mu maaso n’okuwandiisa pikipiki z’obwannanyini
Kino kibaddewo yadde aba bodaboda bbo baali bawakanya n’ezo bwannanyini okuwandiisibwa
Omwogezi wa KCCA peter Kawuju agamba nti piki eziri mu nkumi nnya mu bitaano zeezakawandisibwa
Kawuju agamba nti basanyufu nti abantu bongedde okujjumbira enkola eno
Poliisi etandise okunonyereza ku musajja enzaalwa ye buyindi eyejje mu bulamu bw’ensi eno.
Capesh Patel ow’emyaka 35 yabuuse kuva ku kizimbe n’agwa wansi n’afiirawo
Ono abadde akolera ku tundiro ly’eddagala giyite pharmacy emanyiddwa nga good Day esangibwa ku luwum street mu kampala.
Okusinziira ku beerabiddeko n’agaabwe,omusajja ono asoose kufuna butakkaanya ne bakama be nga tannabuuka kuva ku kizimbe…
Spiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alagidde minisita omubeezi akola ku nsonga z’abavubuka okunyonyola ku bigambo byeyayogeddde ku bakyala bambala enkunamyo.
Okulagira kwa spiika kuddiridde ababaka Florence Namayanja, Gerald Karuhanga, ne Winnie Kizza okusaba minister ono yetonde oba si kkyo alekulire
Kibuule yagambye nti abakyala abambala enkunamyo betaaga kukaka mukwano bagweemu akajanja
Bweyabuuziddwa kiki ky’ayita enkunamyo, yayogedde ku…
Minister akola ku byenjigiriza Jessica Alupo alagidde amasomero gonna gaggulweewo yadde abasomesa bakyagenda maaso n'akeedimo kaabwe.
Alupo agamba nti newankubadde abasomesa bano basaba okwongezebwa omusaala , naye ministitule yamaliriza dda okukola embalirira ng'essira erissa ku byanguudo na buzimbi.
Minister okwogera bino abadde sisisnkanyeemu abagenda okulambula amasomero , agagenda okutuula ebibuuzo bya pulayimale eb'yakamalirizo ebitandika mu mwezi gwa…
Amaggye g'eggwanga gategeezezza nga bwegali obwerinde okwanganga abatujju.
Amaggye ge gwanga Gen Katumba agamba nti bakunyweeza ebyokwerinda ku nsalo zonna kyokka ng'asabye abantu okutandika olutalo luno nga bakolagana n'abakuuma dembe.
Katumba agamba nti baliko abakugu beebawerezza okuyambako mu kunonyereza yadde tebawerezza bajaasi
Mu ngeri yeemu Gen Katumba Wamala alabudde abantu abalina ekigendererwa ky'okutataaganya emirembe.
Katumba okwogera bino kiddiridde ebiyitingana nti…
Ekibiina ekilondoola ensonga z’ebyobulamu kyeralikiridde olw’abakyala abakozesa empiso okufumita emibiri gyaabwe
Ekibiina kya National Institute for Health and Care bagamba nti abakyala bayitirizza okubomola emibiri gyaabwe mu ma saluuni n’awaka ate nga kyabulabe.
Abasawo bagamba nti okukozesa empiso zeezimu kissa obulamu bw’abafumitibwa mu katyabaga k’okufuna endwadde nga siriiimu ne Hepatitis C
Okwebasa omwana omuto okumala wakiri essaawa emu ng’amaze okulya eky'emisana kimuyamba okukwata by’asoma.
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku baana basatu abali wansi w’emyaka esatu.
Abasawo bagamba nti buli mwana bweyebakako akkakkana n’okukakasa by’asoma era ng’agenda okuzuukuka ng’awummuza obwongo.
Obulwadde bwa Hepatitis B obwalumba abantu ne Serere butunduzza emitima gy’abakulembeze mu kitundu kino.
Okusinziira ku bakulira district eno, abantu ebitundu bitaano ku kikumi eby’abantu mu district eno balina ekirwadde kino.
Kino kitegeeza nti buli lw’obala abantu 100, bataano baba balina ekirwadde kino.
Minisitule ekola ku by'obulamu gyebuvuddeko yasindika ekibinja ky’abakugu okwetegereza ekirwadde kino n’oluvanyuma bakole alipoota.
Omubaka omukyala…