Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Omujaasi eyatta atoba

Omujaasi eyatta omuvubuka gweyakwata ne muwala we agguddwaako emisango Sergeant Samuel Mubanywera aguddwaako misango gya ttemu mu maaso g’omulamuzi Elizabeth Alvidza kyokka ng’agyegaanye Omusajja nga yali mutuuze we lugala kigambibwa okuba nti mu mwaka 2011, yasanga omuvubuka eyali omuyizi we Makerere ng’ayimiridde nemuwala we n’amukuba emiggo egyamutta Omuvubuka eyattibwa ye Patrick Nabukika Omusango teguwuliddwa nga kooti etaddewo olunaku lwa…

Read More

Dduyiro ayamba abayizi

Okukola dduyiro eri abayizi kibayamba okukola obulungi mu bibiina Okunonyereza kuno okwakoleddwa ku baana enkumi ttaano kulaze akakwate wakati w’okukola dduyiro n’obuwanguzi eri abayizi mu masomo g’olungereza, Okubala ne sayansi. Buli mulenzi lweyeyongera okukola dduyiro ayongera okutereera emirundi 17 ate abawala emirundi 12. Okukola dduyiro kuno ate kuyanba n’abaana abawala mu kukola obulungi essomo lya sayansi.

Read More

Eby’omukyala eyafiiridde mu ssanya biranze

Gavumenti esabiddwa okwongera emisinde mu kawefube w’okuddabiriza amalwaliro ga gavumenti okwetoloola eggwanga okukendeeza ku muwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya. Omubaka we Bukhooli mu bukiikakkono, Baka Mugabi agamba nti gavumenti erudde ng’eyimba nga bw’eganda okuddabiriza amalwaliro kati emyaka esatu nga tewali kikolebwa. Ono agamba nti abakyala n’abaana beebasinze okukosebwa mu kino nga keekadde ministitule esitukiremu okuddabiriza amalwaliro Bbo ababaka…

Read More

Sikaani mu ddwaliro e Masaka efudde

Ekyuuma ekikola sikaani mu ddwaliro e Masaka kifudde. Ekyuuma kino tekikyasobola kufulumya bifananyi era nga tekisobola kukolebwa kale ng’ekipya kirina okugulwa. Akulira eddwaliro lino Eleazar Mugisha agamba nti bagezezzaako okulaba oba ekyuuma kino kisobola okuddabirizibwa naye byonna kusiiwa nsaano ku mazzi. Eddwaliro lye Masaka ssi lyelyokka eritalina bikola nga n’amalala mangi gakaaba. Minisitule y’ebyobulamu yavaayo dda nga bw’emanyi ekizibu…

Read More

Ono omubbi mugezi

Abazigu bakola kyonna ekisoboka okulaba nti tebakwatibwa naye ono naye yaleese. Omusajja ono Luis Santana omumerica alabye abasirikale bagenda okumutuukako kwekubakasukira enkusu ebadde epapaala Enkusu eno naye erabika ebadde yatendekebwa kubanga etanadikiddewo okubojja omupoliisi era mu kavuyo ako, omusajja ono yemuludde n'adduka. Ono wabula poliisi oluvanyuma emukukunudde mu nju bw’abadde yekwese era ng’agenda kuvunaanibwa misango gya bubbi nakulumba…

Read More

TTabamiruka wa Buganda atuuse

Obwakabaka bwa Buganda bugenda kutandika okwekubamu ttooki okulaba webunabeera emyaka 20 egijja Kino kigenda kukolebwa mu ttabamiruka w;omwaka guno agenda okutandika nga 18 owmezi gwa December. Ssabawolereza wa Buganda, Apollo Makubuya agamba nti bagaala kwetegereza oba bali mu kkubo etuufu n’okulaba aw’okutereeza Ttabmiruka ono agenda kubeera ku Hotel Africana

Read More

Enkoko zakusala enguudo awatali kutya

Waliwo akagero akagereesa mu lungereza nga lubuuza nti enkoko yasazeeko etya oluguudo. Ekibuuzo kino ssikyakuddamu kubuuzibwa mu ggwanga lya America anti waliwo obujaketi obuleeteddwa nga buno bwambazibwa enkoko. Obujaketi buno buli mu langi ezaaka era nga bwefananyirizaako bw’olaba ng’abapoliisi bambadde okulambika emmotoka ezitambula Akajaketi kano kagula pawunda 12 kaleeteddwa kukendeeza bubenje enkoko mwezifiirwa

Read More

Ferdinand ne Hodgson balondeddwa

Eyali akulira tiimu ya Bungereza Rio Ferdinand n’omutendesi wa tiimu eno Roy Hodgson balondeddwa ku kakiiko akagenda okuzza tiimu y’eggwanga engulu. Okulondebwa kwaabwe kuddiridde okwemulugunya ku kakiiko kano okuba nti kajjuddeko beeru na basajja Ferdinand nga muzibizi mu tiimu ya Man United  yakoma okuzannya ogw'ensimbi mu mwezi ogw’okutaano. Ono ye muntu atali mweru kutuuka ku lukiiko luno oluliko…

Read More

Enjuba okulwana n’omwezi- abalambuzi bajja

Bangi beesunga okulaba enjuba ng’erwana n’omwezi. Tekijja kukoma ku kunyumirwa, wabula n’eggwanga lyakuganyulwaamu buwanana. Abalambuzi abasoba mu mitwalo 3 beebasuubirwa mu ggwanga mu Uganda nga bano bagenda kuleka emisolo Omu ku bakulira kkampuni eyingiza abalambuzi eya  Great African Safaris Amos Wekesa agamba nti Uganda yamukisa okuba nti mu nsi yonna yalondedwa ng'ekifo ekigenda okulabibwaamu ensitaano eno. Wekesa agamba nti…

Read More

Balumbye ekibanda ky’emmotoka

Poliisi ekyagumbye ku kibanda ky’emmotoka ekya YUASA ab’ebibiina by’obwa nakyeewa gyebakedde okwekalakaasizza. Aba Action AID ne FIDA, beebakulembeddemu abeekalakaasi abalumbey ekibanda kino n’ebipande ebisaba nti abasajja abasobya ku muwala ekirindi nga baali bakola mu kibanda kino bakwatibwe Bano era baliko omukuku gw’ebbaluwa gwebakuutidde nnanyini kibanda kyokka nga tabaddewo. Wabula poliisi ng’ekulira Wesley Nganizi abatutte ne babugi ssimufungize Nganizi agambye…

Read More