Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ekitongole ekikola ku by'ettaka ekya Buganda land board olunaku olwaleero kiwaddeyo ekizimbe kya Muganzirwazza eri  kkampuni ya Nakumat, omupangisa asinga bunene mu kizimbe kino. Omukolo guno gukoledwa minister w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde asabye kkampuni eno okwongera okutunda eby’amaguzi ebikolebwa mu Uganda. Ye minister wa Buganda ow’enteekateeka n’ekulakulana wekitiibwa owekitiibwa Waggwa Nsimbirwa agambye nti Buganda ekyagenda mu maaso n’okuzimba…

Read More

Quinine alemeza

Kizuuliddwa nti empiso za Quinine ezikubwa abantu zeezimu ku bintu ebisinga okulemeza abantu naddala abaana. Kigambibwa nti abantu ebitundu 40 ku kikumi eky’abalemera ku ngeri ezitategerekeka baba bakubiddwa mpiso zino Omusawo omukugu, Dr Michael Mukasa agamba nti ssinga eddagala lya quinine likozesebwa bubi ku muntu, asobola okulemala. Dr Mukasa agamba nti abazadde bangi bapapiriza okusaba nti abaana baabwe…

Read More

Abasawo b’amagumba tewali

Uganda erina abasawo 26 bokka  abayunga ga bano beebakola ku bukadde bw’abantu 33. Minista w’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda agamba nti  kino kirese abantu abawera abamenyese nga tebaliiko ayamba era gyebigweera nga bagenze ku basawo b’ekinnansi Rugunda agamba nti mu malwaliro agamu okwetoloola eggwanga teriiyo musawo yadde n’omu kyokka nga abamenya beebangi Ono agamba nti mu kadde kano okuweweraako,…

Read More

Gaumenti eyagala mikutu gya bwannanyini

Gavumenti ezze na nkuba mpya ng’eyagala kukozesa mikutu gy’amawulire egy’obwannayini okwogerako eri abantu Minister akola ku by'amawulire, Rose Namayanja agamba nti bagala okufuna essaawa nnya ku buli mukutu gwa TV oba Radio buli mwezi okutegeeza abantu ky’eba bakolako Kino bagala kukikola ku bwereere. Namayanja gaamba nti mu nteekateeka y’ebyempuliziganya gyebalina bakusindikanga abantu baabwe ku mikutu gino babasomese abantu…

Read More

Ebivvulu bissiddwaako amateeka

Abategeka ebivvulu bassiddwaako amateeka amakakali Teri kivvulu kakusukka saawa musanvu ogw’ekiro Abategeka ebivvulu bonna bakutegeezanga poliisi nga bukyaali basobole okuweebwa obukuumi Bino bibategeezezeddwa mu nsisikano wakati w’aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi kko n’abayimbi kko n’abategesi b’ebivvulu BBo abayimbi kino bakyanirizza kyokka nebasaba poliisi obutakoma ku kinop wabula enyweeze eby'okwerinda ng'ebivvulu bigenda mu maas

Read More

Agambibwa okulagajjalira omulwadde avunaaniddwa

Omusawo agambibwa okuvaako okufa kw’omukyala w’olubuto avunaaniddwa omusango gwa kutta Muntu mu butanwa. Christopher Bingi nga musawo mu ddwaliro lya health center 4 e  Mukono abadde mu maaso g’omulamuzi Joy Bahinguzi Ono ne banne abakyawenjebwa babavunaana kulagajjalira omukyala Florence Nakamya ekyamuviiriddeko okufa. Oludda oluwaabi lugamba nti nga 19 omwezi guno, omusawo ono yapasula omukyala ono mu ddwaliro lya…

Read More

Asanyudde abantu

  Abazadde bangi teri kibasanyusa nga kulaba baana baabwe nga bakoze bulungi naddala mu kibiina. Kati nno omusajja alabye ku bigezo by’omwana we ng’ayise efuuse ekyelorerwa okwetoloola ensi yonna Omusajja ono omuddugavu naye nga nzaalwa ye Bungereza akubye omulanga ogw'essnayu n’okubuukabuuka ng’omwana omuto oluvanyuma lw’okuwulira amawulire amalungi Ekisinze okumusanyusa kwekuwulira nti mutabani we abadde ayise okubala bulijjo okumuzannya Ekyewunyisa nti…

Read More

Tebakima ddagala

Ab’ekitongole ekitereka eddagala beesambye eby’okubeera nti beebali emabega w’amalwaliro agataliimu ddagala. Omwogezi w’ekitongole kino Dan Kimosho agamba nti kino kiva ku bakulira amalwaliro okusuulayo ogwannagamba ng’abasinga tebaweereza kusaba kwaabwe nga bukyaali Kimosho agamba nti kikakata ku buli mukulu mu ddwaliro okussaamu okusaba ku ddagala lyeyetaaga mu budde olwo n’abeera ng’akolebwaako naye nga bangi tebakikola

Read More