Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Omusawo we Mukono yeeyimiriddwa

Omusawo agambibwa okulagajjalira omukyala w’olubuto ekyamuviirako okufa Dr Christopher Bingi alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Joy Bakunguza amweyimiridde ku mitwalo 75 Abamweyimiridde Kubaddeko Julius Mukwano, , Denis Mugisha,musawo munne ku ddwaliro lya health Center 4 ne Davd Sserunjogi Omulamuzi agambye nti Dr Bingi alina eddembe okweyimirirwa Okuwulira omusango kwongezeddwaawo okutuuka nga 13 omwezi ogujja oluvanyuma lw’oludda oluwaabi okutegeeza ng’okunonyereza bwekubadde…

Read More

Enyonyi eggula bbiya

Abanywi ba bbiya bangi bwebamufuna banoonya kaggulawo eccupa ate abangu bakozesa mannyo. Naye  obadde okimanyi nti engeri nyingi nnyo z’oyinza okuggulamu bbbiya  ono Mu ggwanga lya China, abagoba b’enyonyi bategekeddwa okukozesa ennyonyi zaabwe okuggula amacupa g’omwenge Abagoba bano baweebwa eddaakiika munaana okukozesa opena  essibwa ku nyonyi zaabwe wansi okuggula eccupa za bbiya Akazannyo kano kaleeteddwa kupima  bukugu abagoba bwebalina…

Read More

Okusonda ssente za masiro, katikkiro atalaaze ebitundu

Abaganda okuva mu bitundu bya Kampala ebitali bimu omuli ab’essaza lye Kyaddondo ne Busiro basonze obukadde 13, nga basinziira mu lusiisira katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga lw'akubye mu Masiro ge Kasubi. Olusisiira luno lwakugenda mu maaso okutuusa ku lunaku lw’okutaano olwa ssabiiti eno. Bw’abadde ayogerako eri abantu abakunganye ,Katikiro agambye nti buli muganda alina okwenyigira mu…

Read More

Emirimu gisanyaladde e Kyambogo

Emirimu gikyasanyaladde ku ttendekero lye Kyambogo abasomesa gyebali mu kwekalakaasa. Poliisi ekyagumbye ku ofiisi z’ettendekero ezitali zimu era nga teri kigenda mu maaso Abasomesa bano bonna basazeewo kimu nga nkuyege obutaddamu kusomesa oluvanyuma lw’akulira ettendekero lino, kakensa Omolo Ndiege okudda ku ntendekero ekintu kyebawakanya Yadde nga tasanze buzibu kuyingira mu ttendekero olw’abaana b’azze nabo nga bayimba , ebintu…

Read More

Eby’okwerinda ku masinzizo

Poliisi esabye abakulembeze ba kkanisa okukaliga eby’okwerinda ku miryango gyaabwe okutangira abatujju abayinza okwefuula abasabi Kino kivudde eri ssenkaggale wa poliisi  gen Kale Kaihura amaze okulagira nti ebifo byonna eby’olukale omuli ne kkanisa zissibweemu eby’okwerinda ebikakali. Kino abakulira poliisi ezitali zimu baatandise dda okukissa mu nkola nga mu bitundu bye Nateete, amasinzizo gonna galagiddwa okuwereeza abantu musanvu…

Read More

Enkuba e Sironko, enguudo ziguddemu

District ye Sironko esalise ku ndala ezigiriraanye olw’amataba agatasalako Entindo ssatu ezidda e Mbale tezikyasobola kukozesebwa motoka nga kati kwetoloola ate ng’amakubo mabi mazibu. Olumu ku ntindo ezaaguddemu lwazimbibwa omwezi gumu emabega nga luno lubadde lusinga kuyamba basuubuzi abatambuza ebya maguzi byaabwe okubituusa mu kibuga kye Mbale. Omubaka omukyala ow’ekitundu kino, Famiar Wadada asabye ekitongole ekikola ku by'enguudo…

Read More

Omwana attiddwa bakadde be, n’omukadde alidde ekisaanyi n’afa

Mu district ye Kamuli obutabanguko mu maka bubizadde oluvanyuma lw'omwana okufiira mu kavuyo nyina bw'abadde nga balwana ne bba. Omwana ono ow'emyezi 11 yafiiridde mu kavuyo kano oluvanyuma lwa maama we okulumba bba nebalwana nga amulanga kutunda birime ne yezza sente zonna. Sentebe w’ekyalo Wilberforce Kategere agamba bakwataganye ne poliisi okukola ku nsonga eno wabula nalabula abazadde…

Read More

Eddwaliro lye Mityana teririna ggwanika

Embeera y’eddwaliro lye Mityana yeeralikiriza. Kizuuliddwa nti  eddwaliro lino teririna  ggwanika nga kati waliwo kasitoowa akatono akatasobola nakugyamu mirambo gisukka 5 mwebagizinzika. Kasitoowa kano kafunda nyo nga ate temuli byuuma binyogoza , so nga n'akasolya katonnya. Kati giweze emyezi 2 nga tewali ddagala lyakukuba mu mirambo nga nekikwasa ennaku kwekuba nti akola mu ggwanika lino asasulwa emitwalo mukaaga…

Read More

Abasuubuzi ku Nasser Beekalakasizza

Abasuubuzi ku luguudo lwa Nasser beekalakasizza nga ssi kirala wabula masanyalaze. Bano abakolero ku kizimbe kya Muzza nga bava mu limu ku maduuka bagamba nti baweebwa bill ya masanyalaze ya bukadde busatu naye nga tebazikozesangako. Basazeewo okukuma ebipiira mu luguudo ekitataganyizza eby'entambula. Poliisi wabual atuuse mu budde era ng'akkakkanyizza abasuubuzi bano nebesogga akafubo okulaba engeri y'okukwatamu ensonga eno. Akulira…

Read More

Abasomesa be Kyambogo bediimye

Abasomesa b’ettendekero lye Kyambogo batandise akeediimo kaabwe. Kiddiridde eyali akulira ettendekero lino Prof Isaiah Ndiege okudda ku ttendekero lino, ekintu kyebaludde nga bawakanya Bano bagamba nti Prof eno adibaze enzirukanya y'ettendekero era nga tebasobola kukolagana naye. Abasomesa bano olulabye Ndiege, nebatandika okuggala ofiisi zaabwe era mu kadde kano teri kusomesa. Omwogezi w'ettendekero lino, Lawrence Madete agamba nti bbo kyebasaba…

Read More