Amaggye ga UPDF gaanirizza ekyasaliddwaawo abayekera ba Congo aba M23 okukomya okulwanagana n’amaggye g’eggwanga lya Congo.
Olunaku olw’eggulo abayekera aba M23 bategezezza nga bwe bagenda b=okuyita mkuteesa okutuukiriza ebiruubirirwa byaabwe
Omwogezi wa maggye ga Uganda, Paddy ankunda agamba kino kyakuteekawo embeera y’enteseganya okukomya okulwanagana kuno.
Eggwanga lya Uganda lyeribade likubiriza enteseganya wakati w’abayeekera ba M23 ne gavumenti ya…
Kooti e Nakawa eyisizza ekiragiro ekiyimiriza ab’ekitongole ky’ebibira okusengula abatuuze be Bukasa
Omulamuzi Gladys Nakibuue y’ayisizza ekiragiro
Bano babadde bagenda kusengulwa okuzimba omwaalo ogunagatta amawnaga ga East Africa
Omwogezi w’abatuuze be Bukasa Sowedi Semakadde agamba nti kati baddembe okukola egyaabwe
Ab’ekibiina kya FDC kyaddaaki bakkiriziganyizza ku myaka gy’omukulembeze w’ekibiina era nebawera okukolera awamu.
Olukiiko luno olukubiriziddwa Augustine Ruzindana lwayitibwa okusalawo eggoye ng’abamu bagamba nti pulezidenti alina ekisanja kya myaka ebiri ate abalala nti ky’etaano
Bonna basazeewo nti kibeera kya myaka etaano nebawera nga bwebagenda okukolaganira awamu okutwaala ekibiina mu maaso.
Mu kusooka wabaddewo akavuyo ekibinja ky’abavubuka bwekirumbye ababadde…
Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza ng'amawanga ga Africa bwegalina obusobozi bwonna obwetagisa okumalawo okulwanagana mu ggwanga lya Congo.
Ono agamba nti emikago omuli ogwa SADC, African Union ne n’ogutaba amawanga agali mu bitundu ebyetoloddwa Nalubaale girina obusobozi okukola ku kizibu kino , era nga akadde konna bagenda kutuula bateese ku nsonga eno.
Ono akwogera bino asinzidde…
Abantu bangi badduka ku mirimu lwa misaala mibi
Ssi bweguli eri omusajja ono omukugu mu byuuma bikali magezi eyasuddewo omulimu olw’ensimbi enyingi.
Sandeep Jia, yaweereddwa pawunda 45o ekintu ekyamwewunyisizza n’asalawo okuva ku mulimu
Omusajja ono enzaalwa ye Buyindi agamba nti ensimbi zino zimuleese ebirowoozo n’okumumaleko emirembe ky’abadde tasobola kugumikiriza
Ono agambye nti era abadde tasobola kutwala nsimbi mpitirivu bweziti…
Abantu bangi bambala nebatonnya ku lunaku lwebasaba abagalwa baabwe okukkiriza okubafumbirwa
Ssi bweguli eri omusajja Mike King yye asazeewo okwefuula masikiini ataliiko babe n’agenda mu maka agayamba abantu ng’eno mukyala we gy’akola
Ono atuuse mu maka gano ng’atintima , abantu olumulabye nebanguwa okumuyamba nga muno mwemubadde ne muganzi we era wano n’akka ku maviivi n’amusaba akkirize amufumbirwe
Obadde okimanyi nti okuseka kya mugaso nnyo eri omuntu?
Ng’ogyeeko eky’okugatta abantu abali mu ssany,u enseko zikuuma omubiri nga mulamu bulungi
Eky'enjawulo nti lino bweriba ddagala terigulwa era ng’omuntu wa ddembe okwekuumira mu bulamu bw’ensi nga musanyufu oba ng’asibye feesi.
Enseko ziyamba okwongera omuntu obutofaali obulwanyisa endwadde, zongera amaanyi ,zikendeeza obulumi kko n’okukendeeza okukunyigirizibwa ku bwongo giyite stress.
Mu…
Okutulugunya omwana nga muto Kireka enkovu ku bwongo bwe.
Eno y’ensonga lwaki abatulugunyiziddwa bafuna ebizibu ne bewunika ate abalala bakola ebikolwa ebibi ennyo olw’embeera eno.
Okunonyereza okwakoleddwa ku bavubuka kwazudde akakwate wakati w’omwana engeri gy’akuzibwaamu n’ekyo ky’afuuka mu bulamu ng’akuze.
Kino kiyitirira ssinga omwana ono aba atulugunyiziddwa ekisusse nga bangi bwebakola bakola ebintu ebyewunyisa omuli n’okutemula abantu
Abasawo babuulira…
Abadde akulira eby’obuzimbi n’enguudo mu kampala awummuziddwa ku mulimu.
George Agaba ku luno awummuziddwa lwa nguzi
Ono lweyasooka okuwummuzibwa yali avunaanibwa kukuba masasi mu bantue Luzira kyokka nga bamwejjereza.
Akulira abakozi mu KCCA, Jennifer Musisi agamba nti bafunye okwemulugunya okuwera nti ono abadde ajjako abantu ensimbi
Musisi agamba nti kino kimenya amateeka agatwala abakozi ba KCCA era nga bakusooka…
Embeera y’omuwala eyasobozebwaako ekirindi ezze ekuba ku matu.
Asobola kati okutambulamu nga tawulidde nnyo bulumi yadde nga kati ekisinga okumutawaanya birowoozo.
Omuwala ono agamba nti era ekimuluma kwekulaba nti abasajja bano tebannakwatibwa ng’alina okutya nti bayinza okumulumba.
Abasajja ababiri abamu ku baakola ekikolwa kino bakyawenjebwa oluvanyuma lw'okudduka mu ggwanga.