Ensi yonna ezukuukidde ku mawulire g'ennaku ag’okufa kw’eyali omukulembeze w’eggwanga lya South Africa omudugavu eyasooka Nelson Madiba Mandela.
Ku myaka 95 kwafiiridde Mandela yakulembera eggwanga lya South Africa ekisanja kimu kyokka okuva mu 1994 okutuusa mu 1999.
Ekyewunyisa ono yali yakamala emyaka 27 mu kkomera wabula neyefiiriza obukulembeze mu nkola ya demokurasiya ewekimemente.
Ono Amaze akabanga ku ndiri…
Ababaka ba palamenti abayigga emikono egijja obwesige mu minista Frank Tumwebaze baseetudde
Bano bamaze okufuna omukono gw’omuwandiisi wa palamenti nga kati bagenda kutandika kuyigga mikono mu butongole egijjamu minista ono obwesige
Bamulanga kulemererwa mirimu n’okuvoola ekiragiro ky’amateeka.
Twogeddeko n’omubaka Gerlad Karuhanga ku nteekateeka eno n'ategeeza nga bwebetaaga emikono 125 okubeera nga basindikiriza minista ono.
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga olwaleero lwebafunye ebyuuma eby’omulembe ebimanyiddwa nga IPAD
Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga olwaleero akwatisizza IPAD eziwerera ddala 384 eri bakozi b’amateeka bano
Kino bakikoze okukendeeza ku nsimbi ababaka zebassa mu kukubisa ebipappula ababaka byebabadde basoma
Kadaga agambye nti IPAD zino baziguze obukadde 976 era nga zakuyamba n’abakaka okumala ebbanga nga bateesa ku byebatategeera…
Kubamu akafanyi ng’otutte omwana wo okulaba ku firimu oba gamba muli waka.
Mu butanwa, akatambi akalaga ka buseegu, olowooza wandikoze ki
Kati nno abazadde ababadde batutteko abaana baabwe out mu kibuga Florida ekya America kibaweddeko, ebifananyi by’abantu abali obwereere bwebitandise okujja ku ntimbe.
Abamu ku bazadde balabiddwaako nga babikka abaana amaaso ate abalala bakwakuddewo abaana bano nebafulumirawo.
Gwe wandikoze…
Ssabawandiisi w’ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku mupiira gw’ebigere ekya FIFA asabye bannansi ba Brazil okuwagira eggwanga lyaabwe okutegeka empaka z’ekikopo ky’ensi yonna.
Banansi ba Brazil beekalakaasizza nga bavumirira omusimbi omuyitirivu oguyiiriddwa mu kuzimba ebisaawe omugenda okubeera emipiira gino.
Valke agamba nti yadde abantu bano balina eddembe okwekalakaasa, bakikoledde mu budde bukyaamu
Omuloodi wa kampala ssalongo Eria Lukwago olwaleero alambuddeko abasuubuzi b'omu park yard.
Ono nga ayogerako eri abasuubuzi bano,agambye emiriro egikwata akatale kano , kiviira dala kubula lyakakiiko akategekera ekibuga mukitongole ekya kcca.
Lukwago era yebaziza gavumenti olwokuwayo akawumbi eri abasuubuzi abafiriddwa ebyabwe wabula nasaba eyongere ku nsimbi zino zituuke ku buwumbi 4.
Wabula oyye Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi…
Abaana basatu babbidde .
Wetuwandiikidde amawulire gano nga poliisi yakanyululayo mulambo gumu.
Akabenje kano kabadde ku fulaati za akright ku luguudo lwa Entebbe.
Akulira ekitongole ekziinya mooto Joseph Mugis agamba nti abaana bano babadde bagenze kuwuga nebatendewalirwa nebanywa amazzi era tebasobodde kudda ngulu.
Abaziinya mooto bakola kyonna ekisoboka okunyululayo emirambo emirala.
Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni adduukiridde tiimu y'eggwanga ey'okubaka eya She Cranes n'ensimbi obukadde shs 103.
Tiimu ebadde yetaaga obuyambi oluvanyuma lw'ebikozesebwa mu Singapore okuba eby'ebbeeyi ennyo nga tebatambula na nsimbi zimala.
Tiimu eno yeyongedde okukola obulungi olunaku lwa leero mu mpaka zino bw'ekubye abategesi aba Singapore ku goolo 60-32.
Kati erindiridde mupiira gwakulwakutaano ne Sri Lanka era…
Wali okubyeeko omuzimu ekifananyi
Kati manyi bangi mugamba nti mbalimba naye mu ggwanga lya America omuvubuka abadde akuba ebifananyi yewunyizza okusangamu eky’ekisiikiriza ky’atategeera
Cameron Hamilton abadde ali mu kulambula ne mikwano gye kimuweddeko ate nga nebabadde nabo teria tegedde kino kwekivudde era nga bangi balowooza nti gwandiba omuzimu.
Omusajja eyakwata embuzi kimuweddeko mu kooti embuzi eno bw'emulumirizza nga bweyagikabasanya
Embuzi eno ereeteddwa ng'obujulizi era ng'eyimiriddewo ng'omusango gugenda mu maaso.
Omusajja ono ategerekeseeko erya Gona obwedda yebwaarabwaala ng'atunuulira embuzi era nebamusingisa omusango guno bw'atyo n'akaligibwa emyaka kkumi mu kkomera.
Ono omusnago yaguddiza mu kibuga Mombasa