Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Enkuba ssi ya ddala

Obukuba obutonyerera ennaku zino tebusaanye kubuzabuuza balimi kutandika kusiga Akulira ekibiina ekigatta abalimi n’abalunzi mu ggwanga Charles Ogwang agamba nti abantu basaanye essira okulissa ku kutegeka ennimiro zaabwe nga bwebalind enkuba entuufu etuuke. Ono agamba nti ennaku zino kizibu okumanya embeera y’obudde nga kati abalimi basiga buli lwebalaba ku kakubo era nga kino kyekivuddeko ekyeeya Enkuba entuufu esuubirwa…

Read More

Ebibumbe biwanuddwaayo

Mu china ebibumbe 2 nga biri bwerere biwanuddwa ku kifo ekiribwaamu emmere  ekimu lw’abantu kwekubira enduulu mu b'obuyinza. Ebibumbe bya ba Budha bino nanyini kiriiro yali yabiwanika ku kasolya k’ekiriro kye wabula banansi bategezezza nti kuno kujooga kwenyini okwambula Budha abantu abangi gwebakiririzamu n’okugoberera ediini ye. Ebibumbe bino bibadde bibiri nga byakula ne biwola.

Read More

Abayizi be Makerere batabuse

Abayizi be Makererere abakedde okwekumamu Ogutaaka olw'amanya gaabwe okubula  ku lukalala lw'abagenda okutikkirwa basabiddwa okwekolamu omulimu bawandike amanya gaabwe bonna Omwogezi w’ettendekero lino Ritah Namisango ategezezza ng'amanya ge balina geegabo bokka abalina ebisanyizo , era nga bebagenda okutikkirwa . Wabula agamba  nti mu kaseera kano abatwala ettendekero lino bagenda kutunula mu nsonga zabwe nga bukyali Attendekero lino ligenda…

Read More

Uganda eyongedde okuyiiya

Mu kawefube ow’okutaasa ensimbi eziva e South sudan mu misolo, gavumenti evuddeyo n’enkola ezinayamba okuzibikira ebituli. Kamisona akola ku byobusuubuzi ebweru w’eggwanga mu minisitule ekola ku byobusuubuzi, Silver Ojakol agamba nti ekimu ku bino kwekulaba nti ebyamaguzi ebikozesebwa ebibiina ebiddukirize biva mu Uganda. Ono agamba nti ekigendererwa mu kino kwekulaba nti akatale ka Uganda tekafa eggwnaga lisigale…

Read More

Capt. Ramathan Magara akyaluliko

Kooti ejulirwaamu ekakasizza ekibonerezo ky’emyaka 14 egyaweebwa capt Ramathan magara. Abalamuzi abataano nga bakulembeddwamu Opio Aweri bagambye nti ekibonerezo kino ssi kikambwe okusinziira ku bantua babiri beyatta e Bulange mengo. Bano era bakakasizza nti Magara yakuba amasasi 16 era nga n’ebisosonkole ebyasangibwa mu kifo bino webyaali byali biva mu mundu ye. Magara yaddukira mu kkooti ejulirwaamu ng’agamba nti…

Read More

Egya Besigye ne Lukwago gyongezeddwaayo

Abavuganya gavumenti Dr Kiiza Besigye ne Erias Lukwago bassizza ku kikkowe Omulamuzi w’eddala erisooka ku kooti ya Buganda road Julius Borore akkiriza okusindika emisango gyaabwe mu kootie taputa ssemateeka y’eba esalawo eggoye Emisango egyogerwaako gyegy’okukuba enkungaana ezimenya amateeka nga zino kigambibwa okuba nga bazikuba mu mwaka oguwedde. Omulamuzi okusalawo bw’ati kiddiridde bannamateeka ba Besigye ne…

Read More

Gavumenti y’esse omupiira

Omupiira mu Uganda gwakusigala mu buzibu okutuusa ng’enkayaana mu FUFA ziweddewo Ssentebe wa superleague, Kavuma Kabenge bino y’abyogedde bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku byemizannyo nebyenjigiriza Ono agamby eni obuzibu bwa Uganda buviira ddala ku baddukanya omupiira nga bebeetaga okutereeza Kyokka yye omusango agusalidde gavumenti gy’agamba nti eremereddwa okusalawo ku nsonga zino AKinoganyizza nti FUFA zombie zirina…

Read More

Ono asomye ekirango kye

Okufa buli omu akumanyi nti gyekuli naye nga teri ayagala kukola kiraamo yadde okukkiriza nti atuuse okufa Mu ggwanga lya Sweden omusajja ow’emyaka 81 afunye obutakkaanya ne famile ye asazeewo kubasomera kiraamo kye Omusajja ono abadde ku ndiri , abenganda ze balowozezza nti afudde kwekukima ebintu abangu mu ddwaliro. Kibaweddeko okumusnaga ku kitanda kye ng’atudde era wano n’ayita…

Read More

Uganda Cranes ekyalimu essuubi

Yadde nga Uganda cranes yawanduddwa mu mpaka za Chan, abamanyi eby’omupiira bagamba nti tiimu eno yakoze nnyo Eyaliko omutendesi, Mike Mutebia gamba nti empaka zino zisinze kuyamba bazannyi bato kufuna obukugu Ono agamba nti bano basobola bulungi okuwawulwa nebazannya bulungi gyebujja ng’abantu tebasaanye kuggwaamu ssuubi Asabye ekibiina kya FUFA okufuba okunyweeza tiimu naddala mu mpaka za Africa ezigenda…

Read More

Ebya Besigye ne Lukwago bibi

Kooti ya Buganda Road eganye okugyawo emisango gy’okukuba olukungana olumenya amateeka egivunanibwa eyali ssenkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye ne loodi meeya Erias Lukwago. Omulamuzi w’edaala erisooka Julius Borore ategezezza nti yadde nga  ddala kitufu ababiri bano basibibwa mu buduukulu obw’enjawulo okusukka essaawa 48, banamateeka babwe balemeddwa okumumatiza nti ddala emisango gino temuli nsa. Bano bakwewozako olunaku…

Read More