Abagoba ba Taxi bavudde mu mbeera nebaziba enguudo mu ngeri y’okweekalakaasa
Kino kiddiridde okukwatibwa kw’omu ku banaabwe ng’abakikoze basilikale ba KCCA.
Enguudo eziwera zigaddwa ekisanyalazza ebyentambula mu kitundu kino.
Nabe yenna avudde ku ba KCCA kuyoola mukyala abadde atunda ebinyebwa
Owa Taxi olugambye ku ba KCCA kwekutandika okumukuba era gyebigweredde nga bamusibye
Wabula oluvanyuma lw'akeediimo ono ayimbuddwa
President Museveni ayimirizza eby’okugoba abantu owketoolola eggwnaga lyonna,.
Ng'ayogerako eri bannamawulire mu maka ge e RWakitura, president agambye nti ekiragiro ky'ayisizza kitandikirawo okukola
Kino kiddiridde okwemulugunya okusukkiridde okuva mu bantu ababa basengulwa ku ttaka
President era takomye awo n’agugumbula abasizi b’ensimbi b’agamba nti tebalina lukusa kusnegula bantu
Eri abantu abalina ebyapa ebibiri, byonna byakusazibwaamu okumalawo okugugulana
Mu ngeri yeemu ensawo…
Ebigezo by'abayizi abasoba mu bina (400) bikwatiddwa.
Bano kigambibwa okuba nga bakoppye n'okubba ebigezo.
Amasomero agakoseddwa mulimu Naggalama Islamic,Sharing youth center,Valley SS Bushenyi, Lugogo hall, n'amalala
Minister akola ku byenjigiriza Jessica Alupo agambye nti amasomero agakoseddwa gakuweebwa akadde okwewozaako .
Ono agamba nti abakungu mu ministry bakusisinkana olunaku lw'enkya okutandika okunonyereza engeri abayizi gyebabbamu ebigezo yadde nga buli kimu…
Abayizi be Makerere abakwatibwa mu kwekalakaasa kyaddaaki bayimbuddwa
Bano basindikibwa e Luzira ku lw'okusatu ng ababalanga kwetaba mu lukungaana olumenya amateeka
Bano balabiseeko mu maaso g'omulamuzi Esther Nansambu abatadde ku mitwaalo 10 buli omu.
Students of Makerere University have been granted bail.
Abayizi bano beeyimiriddwa bayizi banaabwe abasabiddwa obukadde 10 ezitali za buliwo
Bano bakuddamu okulabikako mu kooti nga 26…
Baneekolera gyange abasoba mu 300 beebasenguddwa e nsambya nga kigambibwa nti ekifo kino kyaguliddwa omugagga Hassana Basajja Balaba.
Abagobeddwa beebatunda sayidi boodi, kabada n'ebilala ku luguudo lwe Gaba.
Abamu ku babazzi naababumba aboogedwako naffe bagamba nti baludde nga bawa obusuulu mu kitongole ky'eggaali y'omukkawabula nga tebavangayo kubalabula nga bwebagenda okubasengula
Bano bagamba nti bakedde kulaba bimotoka bi weetiiye…
Omuntu omu afiiriddewo mbulaga pikipiki ebadde ewenyuka obuweewo bw'emukoonye n'afiirawo.
James ow'emyaka 38 abadde yakava mu motoka ng'asala ekkubo piki w'emukoonedde.
Pikipiki eno teyimiridde.
Bino bibadde Rakai Bwanda
Mu ngeri yeemu era ki loole ekibadde kitisse kawo kikutte omuliro yyenna n'asirikka okufuuka evvu era ku luguudo lwelumu
Omukyala afumise owemyaka omukaaga ekiti mu mbugo.
Madina Nanangwe y'akutte omwana wa muggya we n'amusosonseka ekiti mu mbugo.
Omwana gw'akozeeko ekikolwa kino eky'ettima wa myaka 6 ng'ali mu kibiina kya kubiri ku ssomero lya Bulowooza primary school erisangibwa e Iganga.
Omukazi ono lumaze okukola kuno n'adduka ku poliisi n'awaaba ng;omwana ono bw'abadde asbezeddwaako
Omwana ono olumukebedde bausanzeemu ekiti era…
Abasibe mu kkomera lye Masaka olwaleero bavudde mu mbeera nebeekalakaasa olw'embeera mwebabaeera embi.
Bano era beemulugunya ne ku bbaga eddene lyebamaze ku alimanda.
Aduumira poliisi ye Masaka, Eddie Ssserunjogi agamba nti basazeewo okwongera ebyokwerinda ku kkomera okulaba nti abasibe bano tebatoloka.
Omwogezi w'amakomera Frank Baine agamba nti abasibe bano bandiba nga beekwasa nga bagaala kutoloka.
Mzee Amos Kaguta aziikibwa lunaku lwa nkya.
Kaguta ng'ono ye taata wa president museveni yafudde olunaku lwajjo ku ddwaliro lya International hospital mu kampala.
Omulambo gw'omugenzi guli Rwakitura olunaku lwaleero gyegusiibye ng'abantu bagulabako.
Okusabira omwoyo gw'omugenzi kwakutandika ku saawa 11 ez'okumakya kyokka ng'okuziika kwa ssaawa kkumi ez'owleggulo.
Wano ku Dembe FM tugamba nti Kitalo nnyo.
Poliisi erwanaganye nabatuuze be Kyakatebe ku luguudo lwe Mubende, abakedde okubba omwenge okuva ku ki loole ekyagudde mu kifo kino enkya ya leero.
Loole eno ebadde eva Mityana ku depot ya bbiya wa Nile, nga etwala kuleeti za bbiya ezisuka mu 2000 e Mubende ne mu byalo ebye njawulo.
Wabula e Kyakatebe ze mayiro nga abiri okutuuka…