Omukyala amaze emyaka ena ng’ali lubuto asobeddwa ea ne mu kibira
Omukyala ono okuva e kasese yafuna olubuto luno mu mwaka gwa 2009 kyokka nga negyebuli kati tasumulukukanga.
Omukyala ono yeewuubye mu malwaliro naye nga talina kyafuna
Ebisingawo mu mawulire gaffe agabaawo buli ssaawa
Enkuba eyamaanyi efudembye mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu erese bangi bagyevuma.
E Ssembabule omwana ow’emyaka 10 akubidddwa eggulu elimulese ng’agongobadde Catherine Musimenta muyizi ku Kikondeka Priary school ng’ono akyajjanjabibwa.
Catherine Musimenta muyizi ku Kikondeka Priary school ng’ono ajjanjabibwa
Ssentebe we Kyaalo busaana awabadde akabenje kano, John Kamugisha agamba nti aayumba amalala 10 gasanyeewo
Amaka amalala geegakoseddwa ku byaalo bye…
Abantu basatu beebafiiriddewo ekimotoka kilukululana bwekiremedde omugoba waakyo nekisabaala abantu
Abalala abalala kkumi n'omu batwaliddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka
Akulira poliisi ye kawempe Siraje Bakaleke agamba nti ekimotoka number UAK 801J kireemeredde omugoba waakyo nekiserengeta okuva ku luguudo lwa Sir APollo Kaggwa okukkakkana nga kisabadde emotoka ezisimbye ku luguudo.
Ekimotoka kino kisinze kusabaala motoka ezibadde mu mugotteko…
Eklezia Katolika esagambiza oluvanyuma lw'okufuna Paapa omuggya.
Ono y'azze mu bigere bya Paapa Benedict owe 16 ng'amannya ge ye Yozefu Rasinger enzaalwa ya Germany, eyawumudde olw'obukosefu.
Abadde Kalidinaali Jorge Mario Bergoglio enzaalwa ya Argentina, eggulo yalagiddwa namungi w'omuntu eyakungaanidde ku kibangirizi kya St. Peter's Basilica mu Vatican, enduulu ez'olulekereke nezisaanikira ekifo kyonna.
Lyabadde ssanyu lyokka na kujaganya nga…
Ono ye Paapa Francis I omupya kati akulembela Ekelezia Katolika munsi yonna.
Eyali minista w'ebyobulamu era nga mubaka we Soroti Mike Mukula ayimbuddwa
Ono agyiddwaako emisnago gy'okwezibika ensimbi mu mankweetu
Omulamuzi wa kooti ekola ku gy'obukenuzi. David Wangutsi agambye nti obujulizi obwaleetebwa bwaali tebusobola kukozesebwa kusingisa mukula musnago gwa kwezibika nsimbi
Mukula yali yajulira nga awakanya ekibonerezo ekyamuweebwa n'okusingisibwa omusango gw'okwezibika ensimbi.
Omuvubuka eyazaalibwa n’ebitundu by’ekyama ebibiri kyadaaki alongoseddwa
Isaac okuva e Jjinja yalongoseddwa abasawo ku ddwaliro lya International hospital mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero.
Omuvubuka ono ow'emyaka 26 afunye ky'aludde ng'asaba nga kwekufuuka omusajja omujjuvu
Isaaca yava Jinja gyeyazaalibw an'ebitundu bibiri era ng'okuva olwo aboolebwa
Mulekwa bakadde be baafa muto era ng'obulamu buno abuyiseemu lw amukama
Dembe FM yeeyakwataganye n'abantu…
Akakiiko akalondesa u ggwanga lya kenya kalangiridde Uhuru Kenyatta ku bukulembeze bw'eggwanga lino.
Ono ye mukulembeze ow'okuna okukulembera Kenya ng'agenda mu kifo kya mwai Kibaki.
Uhuru yafunye obululu 6,173,433 obuweza ebitundu 50.03 ku kikumi okuyitawo obutereevu.
Odinga yafunye obululu 5,340,546 nga biweza ebitundu 43.28%.
Akulira akakiiko akalondesa, Amb. Yusuf Nzibo agamba nti beetegerezza ebivudde mu kulonda okukakasa nti Uhuru…
Abantu 10 beebafudde omusajja atannategerekeka bwalumbye baala n’asasirira abantu amasasi.
Omwenda bafiiriddewo mbulaga ate omulala n’afa nga batuuka egogonya mu ddwaliro
Mu bafudde mwemuli Nanyini Baala ategerekesenga Maama Jackie, Sarah Akot, mukyala Odere, Private Kennedy, Isaac Osere, Musana n’abalala
Abantu abalala 2 bakyajjanjabibwa mu ddwaliro e bombo kyokka nga nabo bali mu mbeera mbi ddala
Amyuka omwogezi wa poliisi…
Munnabyabusuubuzi Hassan Basajja Balaba asindikiddwa ku alimanda e Luzira
Kiddiridde kooti ekola ku gy'obukenuzi okusazaamu okweyimirirwa kwe omusango gwe n'egusindika mu kooti enkulu.
Basajjabalaba avuunanibwa wamu ne muto we Muzamir Basajjabalaba nga bano babalanga kwepema misolo, okujingirira ekiwandiiko kya kooti n'okukozesa ebiwandiiko ebikyaamu.
Omulamuzi wa kooti ekola ku gy'abalabbayi, Irene Akankwasa y'asazizzaamu okweyimirirwa kwa Basajja bw'atyo n'amusindika e…