Lunaku lwa bupiira bukali mpitawo mu nsi yonna.
Yadde abamu babukozesa, abalala beekwasa ebintu bingi omuli n'eky'okuba nti bubasiiwa
Ate abalala bagamba mbu tebanyumira kigwo nga babwambadde era nga kino kyekisinga okweralikiriz abali mu byobulamu.
Akulira ekibiina ekigatta abasawo mu ggwanga Dr Magaret Mungherera wano w'asinzidde n'asaba ministry y'ebyobulamu okussa amaanyi mu kusomesa abantu ku bupiira naddala obw…
Oludda oluwolereza Brig Henry Tukunde lwongeddwaamu amaanyi.
Munnamateeka ow'erinnya Macdusman Kabega olwaleero yegasse Oscar Kambona mu kufundikira omusnago guno.
Kabega agambye nti tewali nsonga lwaki Tumukunde avunaanibwa kubanga mu biseera ebyo buli kyeyayogera yakikola mu kitiibwa kye ng'omubaka wa palamenti
Kyokka era Kabega agamba nti oludda luwaabi lulemereddwa okukwataganya emisnago ku kifo Tumukunde weyyayogerera ebigambo ebigambibwa okukolokota gavumenti.
Asabye…
Loodi meeya wa kampala, Erias Lukwago agyiddwaako emisango gy'okukuma mu bantu omuliro ku byokwekalakaasa kwa 2009.
Okwekalakaasa kuno kwaddirira gavumenti okugaana ssabassajja kabaka okugenda mu ssaza lye elye Kayunga
Omulamuzi Eliana Khainza agambye nti Lukwago emugyeeko emisnago oluvanyuma lw'oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta yadde omujulizi omu okumulumiriza.
Omulamuzi agambye nti kino kiraga nti gavumenti ebadde tekyalina kigendererwa kyakugenda mu…
Abasalamala ababadde basala emiti ku ttaka alya Kabaka batutte nabugi ssi mufungize.
Bano emiti babadde bagisala ku ddwaliro lya Madala Health center e Mityana.
Eddwaliro lino lyazimbibwa ssekabaka Muteesa nga lyakukola ku ba bigenge wabula nga gavumenti yalyezza nelifuuka elya bulijjo.
Ababadde basala emiti bafubye kunyonyola nti bafunye olukusa nga buteerere era bwebatyo nebamalamu omusubi.
Abawagizi b'eyali akulira ekitongole ekikessi Brig Henry Tumukunde bagumbye ku kooti y'amaggye enkya ya leero.
Bano bagamba nti omuntu waabwe aluddewo nnyo okusalirwa .
Basoose kubagaana kuyingira mu kooti kyokka nga bamaze nebabakkiriza okuyingira wakati mu by'okwerinda kasiggu.
Tumukunde avunaanibwa kwogera bigambo biseketereera gavumenti bweyali ku radio emu wano mu kampala.
Ono nno byeyayogera byaali byekuusa ku nsonag enkulu…
Katemba ku ttendekero e Makerere tanaggwa.
Abayizi bataano bakwatiddwa bwebabadde bagezaako owkekalakaasa enkya ya leero.
Abayizi bano bawakanya enkola ya university eragira buli muyizi okusasula ebitundu 60 ku buli kikumi ku fiizi.
Abakwatiddwa bayizi abakola amateeka.
Bbyo ebibiina ne ofiisi ezisinga ku ttendkero lino bikyaali biggale nga poliisi ekyagumbye okulaba nti tewabaawo kavuyo konna.
Omusajja eyabba kasooli wa mutuuze munne mu nnimiro asaliddwa gwakulongoosa.
Juma tenywa yakwatidwa lubona n’eminwe gya kasooli 20 gyeyali akudde mu nnimiro ya Lastin Oketcho.
Omulamuzi Grace Alum, amusalidde ekibonerezo kya kumala emyeezi ebiri ng’ayera enguudo ze Budondo.
Ono nno teyegaanye misnago kyokka ng’asabye ekibonerezo ekisaasaamu n’alayira n’obutaddamu.
Omusnago yaguzza ng’ennaku z’omwezi 18 omwezi gwa january
Aba Kampala capital city authority ng’eri wamu ne poliisi emenye obuyumba obwazimbibwa okumpi ne Arua Park.
Obuyumba obumenyeddwa mubaddemu aba Mobile money, abatunda emmere nga n’abe bigaali tebabatalizza.
Ekikwekweto ekibadde kikulembeddwaamu, aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano, James Ruhweza n’abakwasisa amateeka mu KCCA.
Mu kiwekweto kino omuntu omu akwatiddwa ng’akuumirwa ku poliisi ya CPS.
Abantu abeenjawulo aboogeddeko naffe bavumiridde engeri…
Ab’ekibiina kya NRM baanirizza ebyavudde mu kulonda kwe Butalejja .
Bano bagamba nti basanyufu nti yadde abavuganya baboogeredde ebigambo bingi, omuntu waabwe yasobodde okuwagula
Omwogezi w’ekibiina kino Mary karooro Okurut asuubizza ng’ekibiina kya NRM bwekitagenda kuyiwa bantu be Butalejja
Nebanda yawangudde n’obululu 27,388 nga yaddiddwaako Betty Hamba eyafunye obululu 12,150 votes.
Mu ky’okusatu owa FDC Felistus Namuhiriri n’obululu 3,393,…
Munna NRM Andiru Florence Nebanda awangudde akalulu ke butalejja okudda mu bigere bya baaba we Cerinah Nebanda
Munna NRM yawangudde n'obululu obuweza mitwaalo ebiri mu kasanvu ate ng'owa FDC yavuddeyo n'obululu enkumi ssatu.
Abawagizi ba Nebanda ekiro kyonna basuze bajaguza nga bakuba embuutu n'okuzina akadodi kko n'enyimba eziwaana NRM.
Nebanda yaawangudde banne abalala b'abadde yesimbyeewo nabo okuli Betty…