Bya Ivan Ssenabulya
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Lweza ekisangibwa mu Mukono Central Division mu Municipali ye Mukono bwebasanze ssemaka atemera mu gyo'bukulu amakuumi 50 nga yeyimbyemu ogwakabuggu.
Sam Ssebadduka kiteberezebwa nti abadde nebizibu, ebyamuyinze nasalawo okwetuga, ate abamu bagamba nti abadde atera okugwa akazoole.
Ono abadde yazaala abaana 8 naye abadde yasigaza omwana omu gwebeera naye atenga…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Mukono eriko omuvubuka gwekutte ateberezebwa okubeera omubbi ne Namba Plate ze mmotoka 26.
Adduumira Poliisi ye Mukono Rogers Sseguya ategeezezza nti omuvubuka ono atemera mu gy’obukulu 16 nga kisubirwa nti yoomu ku kabinja akabba nokusumulula Namba Plates ku bidduka by’abantu mu biffo ebyenjawulo.
Poliisi egamba nti amannya goono gasirikiddwa.
Bya Damalie Mukhaye
Abatuuze mu district ye Butaleja batadde omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni ku nninga nti agwana atukirize ebisubizo bye gyebali, byeyakola emyaka 15 emabega.
Bwebabadde bogerako ne bannaffe abolupapula lwa Daily Monitor ku mikolo gya Terehesita ejikyagenda mu maaso ku kisaawe e Boma abatuuze bagambye nti presidenti Museveni yabasubiriza okukuba kolaasi ku luguudo lwe…
Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni ayongedde okukakasa egwanga nti tewali anayinza okutabangula emirembe.
Buno bwebubadde obubaka bwe ku mikolo gyamagye ge gwanga egya Tarehecita egyomulundi ogwa 37 ejikwatiddwa mu district ye Butaleja.
President Museveni atagezeza nti amagye ge gwanga gasobodde okutebenkeza ebitundu bye gwanga ebyenjawulo, era nemirembe jitebenkedde.
Wabula asiimye abantu beeno olwokuwagira ekibiina kya…
Bya Abubaker Kirunda.
E Bugiri police ekutte abasajja 2 nga bano bavunibwa gwakusobya ku mukyala.
Abakwatiddwa bonna batuuze be Kasokwe mu gombolola ye Lwemba e Bugiri, nga bano kigambibwa okuba nga bazze kumukyala ono nebamusobyako mubudde obw'ekiro
Ayogerera police ya East James Mubi akakasiza okukwatibwa kwabano nagamba nti akadde konna bagenda mu kooti babitebye.
Bya ssebuliba samuel
Mu Kenya :ssabapolice we gwanga lino Joseph Boinnet kko n'akulira okunonyereza kubuzzi bw'emisango George Kinoti bayitiddwa mu kooti enkulu eya Kenya, banyonyole lwaki bakyaganye okuyimbula munamateeka wa NASA Miguna Miguna.
Omulamuzi wa kooti eno Luka Kimaru olunaku olw'eggulo yalagidde abakulu bano okuyimbula mu bwangu omukulu ono gwebaakwata ku lw’okutaano, naateebwa ku kakalu ka kooti,…
Bya Ritah Kemigisa.
Police esabye abantu baabulijjo okutandika okuteeka ekitiibwa mu baserikale , kubanga bakolera mubugubi, kyoka nebeewayo okutuukiriza emirimo gyabwe.
Twogedeko n’ayogerera police ye gwanga Emilian Kayima, n'agamba nti abaserikale bano baweebwa obusimbi bwamunyoto, basula bubi, eby’empuliziganya bikyabulamu, kale nga buli kyebakola gwonna mwoyo gwa gwanga.
Ono agamba nti situgaanye police ekyabulamu , era esobya , naye…
Bya samuel ssebuliba.
Tutegeezeddwa nga eyaliko omuduumizi wa police ye Buyende Muhammad Kirumira bwakomezebwewo leero mu kooti ya police ebitebye.
Kinajukirwa nti ku lw'okuna lwa sabiiti ewedde kirumira yakwatibwa nga Mwanga okugibwa mu makaage, navunanibwa emisango egy’okulya enguzi, okutulugunya, kko n’okusiiwuka empisa.
Ono oluvanyuma lw'okusimbibwa mu kooti yasindikibwa ku Police wano e eya Railway ground, kyoka oluvanyuma nagibwayo…
Bya Damali Mukhaye
Ekibiina ekigatta abategesi b’ebivvulu ekya Uganda Music promoters and Venue Owners Network kyagala wabeewo okuwandisibwa kw’abantu abamanyidwa nga BAKANYAMA abakola omulimu gwo’okukuuma ebifo bino okusobola okulondoola obulungi omulimu gwabwe.
Kino kigidde mu kaseera nga omuvubuka ateberezebwa okubeeraKanyama yakatta omuyimbi mowzey Radio
Tonny Ssempijja nga ono y’akulira ekibiina kino agambye nti kano kekaseera okutekawo ekibiina ekigenda…
Bya Kyeyune Moses.
Amagye ga UPDF agagenda okukola omulimo gwokuzimba oluguudo lwegaali y'omuka gagadde gategeezeza nga bwegagenda okukoze ekitongole kyago ekya National Enterprise Corporation okutendeka ba Engineer bonna abagenda okukola omulimo guno.
Bino byogeddwa akulira ekitongile kino Maj Gen James Mugira, bwabadde ayaniriziza banamagye ba uganda abaade mukutendekebew mu gwanga elya China era nga guno omukolo guno…
