Bya Ruth Anderah
Omukyala ow’emyaka 26 agambibwa okwenyigira mu bunyazi akwatiddwa navunanwa mu mbuga z'amateeka.
Basemera Shadia yaavunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi w'edaala erisooka Patrick Talisuna wabula neyegaana emisango ebbiri ogw’obubbi , n’okumenya edduuka ly’omuntu.
Kigambibwa nti Basemera n’abalala abatanakwatibwa nga December 23rd 2017 ku luguudo Mukalazi e Bukoto wano mu Kampala bamenya edduuka…
Bya Kato Joseph.
Abadde adumira police ye Buyende Muhammad Kirumira nate agiddwa wano mu kampala wabadde aggaliddwa naatwalibwa e Nalufenya ewakuumirwa abazzi b’emisango egy’amaanyi.
Ayogerera police ye gwanga Emilian Kayima ayogedeko ne munamawulire wa daily monitor n’amugamba nti kitufu Kirumira atwaliddwa e Nakufenya, wabula obudde bw’amutwalidemu, n’ekimutwazizaayo mpaawo akitegedde.
Mukyala wa Kirumira nga ono ye Mariam Kirumira atubuulide…
Bya Ben Jumbe.
Minister akola ku by’obulimi n’obulunzi omukulu Vincent Ssempija alabudde abalimi bannayuganda okwewala okutunda buli kamere kebalina, kubanga enjala eyinza okubazingako akadde konna.
Ono waavirideyo nga abalimi ba uganda nadala abalina kasooli bamutunda okumulawo, neberabira enjala eboolekedde gyebujja.
Kati minister agamba nti buli alima emere ey’okutunda agwana asooke kufa ku bantube kyebagenda okulya, olwo alyoke atunde.
Bya samuel ssebuliba.
Parliament esabye ministry ekola ku by'enjigiriza okuteeka munkola amateeka agafuga amasomero mungeru y'obwenkanya, waleme okubaawo okusosola wakati waago aga government ko nag'obwananyini.
Kuno okusalawo kugidde mukadde nga banyini masomero ag’obwananyini bakukuluma olwa government okuggala amasomero gaabwe geegamba nti tegalina bisaanyizo, kyoka nga aga government aggali mu mbeera yeemu ggo gakola.
Bweyabadde asooma alipoota ku nsonga…
By Ritah Kemigisa.
Olunaku olwaleero omulambo gw’omugenzi Moses Ssekibogo abadde amanyiddwa nga Mowzey Radio gwakutwalibwa wali ku National Theater abantu ebenjawulo webagenda okumulabirako.
Kinajukirwa nti olunaku olw'eggulo Mowzey Radio yafiiride wano ku Case hospital gyabadde ajanjbibwa obuvune bweyafunira wali ku baala emanyiddwa nga ''The Ntebe''.
Okusinziira ku ssentebe w'akakiiko akategeka amaziika nga ono ye Balaam Barugahara, okusabira omugenzi…
Bya ben Jumbe ne ssamuel ssebuliba.
Wano e Bulenga agavaayo galaga nga bwekabadde kabiga kenyini nga police ekwata musajja waayo Muhamad Kirumira nga ono abade yeggalide munyumba.
Amakya ga leero police eya Flying squad ekedde mumaka ga Kirumira okumukwata, nga ono bamulanga kwogera bigambo eby’akasalo, ko n’okumenya amateeka ga police agamugaana okumala googera buli kyayagala
Mukusooka twogedeko ne…
Bya Ben Jumbe ..
Nakaakano obubaka obukungubagira omuyimbi ow’erinya Mosey Radio bukyayiika, nga n'obwakasembayo buvudde eri Omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni .
Mubukabwe, president ayogedde kumugenzi nga omusajja abadde munabitone , kale nga okufaakwe kusaanyizawo ebiserabye ebyomumaaso.
president agambye nti abade yakawaayo obukadde 30 eri ensawo ey'okujanjaba Radio, kyoka naye kimubuuseko okutegeezebwa nti afudde.
Bya samuel ssebuliba.
Amawulire ag’enaku g’etwakafuna geeg’okufa kw’omuyimbi ow’erinya Moses Ssekibogo abadde amanyiddwa nga mosey Radio nga ono afiiride wano ku case Hospital.
Radio ono emitawaana egimutuusiza okufa yaagifunira wali entebe ku Baaala emanyidwa nga ''the Bar'', omu kubakanyama b'ebaala eno bweyamukwata namukuba wansi okukakana nga omusayi gugenza mu bwongo.
Ono aludde nga ajanjabibwa mu dwaliro elya case…
Bya Ruth Anderah.
Kooti eya Mwanga 11 road eyimbudde abagoba ba bodaboda 8 aba Century Boda -Boda Co-operative society, nga bano bebabade bavunanibwa ogw'okwonona ebintu by'abanaabwe aba Boda-Boda 2010.
Omulamuzi Esther Nyadoi nga yagubadde mu mitambo bano buli omu amulagidde okusasula akakalu ka koot ka mitwalo 500, 000 ,songa ababeyimiridde buli omu awadde nsimbi obukadde 3 ezitabadde…
Bya Damali Mukhaye.
Ekitongole ekya KCCA kitegeezeza nga bwekigenda okuyigga amasomero gonna agatalina bisaanyizo wabula nga gasuubira okugulawo ku Monday gasomese olusoma luno olusooka.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire wali ku city hall, omukyala nga ono yakulira eby’enjigiriza mu KCCA agambye nti waliwo amasomero 48 gebaawadde obutasuka lw'akutaano okutuukiriza ebisaanyizo, oba sikyo gagalwe
Ono agamba nti amasomero agatalina bizimbe,…
