Bya Ritah Kemigisa.
Police etegezezza nga bwesenvudde mu kunonyerezza ku butemu bw'eyali omubazi w'ebitabo ku dwaliro lya case clinic nga ono ye mugenzi Francis Ekalungar.
Bwabadde ayogera eri banamawulire mu lukugana lwa polisi olwabuli sabiiti , omwogezi w'ekitongole kya Emilian Kayima agambye nti leero file eweredwa omuwabi wa gavumenti nga kuliko nabateberezebwa okuzza omusango guno 8.
Abateberezebwa kuliko;…
Bya Magembe sabiiti.
Abakulembeze mu district ye Kyegegwa baagala ministry y'ebyobulamu okwanguyako okusumusa edwaliro lyabwe okutuuka ku daala ely'edwaliro.
Ssentebe wa district ye Kyegegwa Kisoke John agamba nti omujjuzo gw'abalwadde mu Kyegegwa Health Center 1V guli waggulu nyo ate nga tebawebwa ddagala limala ekivirako abalwadde obutafuna bujanjabi.
Omubaka wa Kyaka North mu parliament Asaba Paul agamba nti baludde…
Abubaker Kirunda.
E Mayuge mu gombololaye Malogo ku kyalo Bukizibu waliwo abatuuze abatwalidde amateeka mu nangalo okukakana nga basse omutuuze gwebateberezza okubba embuzi.
Agavaayo galaga nga bano ababadde abakambwe ebitagambika bwebasoose okumusiba embuzi mu bulago nebamutabaaza ebyalo bwebamaze nemukuba amayinja okutuusa lw'afudde.
Attidwa abadde wa myaka 26 , nga ono bamuguddeko nga walalabanya embuzi y'omutuze agitwala kugitunda
Bya samuel ssebuliba
Speaker wa parliament Rebecca Kadaga atabukidde ekitongole ekiramuzi nga agamba nti kino kitandise okuyisa amaaso mu parliament, nadala munkola yaayo ey’emirimo.
Kinajukirwa nti kooti gy'ebuvudeko yayita speaker Kadaaga okwenyonyolako lwaki yagoba ababaka omukaaga mu parliament mukuteesa ku ky'okujja ekomo ku myaka gy'omukulembeze we gwanga, kyoka speaker naagaana nga agamba nti lino joogo lya kooti…
Bya Ruth Anderah.
Wetwogerera nga emikolo egy'okugulawo omwaka gwebyamateka omujja 2018 gigenda mu maaso wali kooti enkulu.
Mukaseera kano ssabalamuzi we gwanga justice Bert Kature waali, omumyuka awa president Edward Kiwanuka Ssekandi,
, kko ne speaker wa palament bamaze okutuuka wali ku ku kooti enkulu, okubawo mukuggulawo omwaka gw’ebyamateeka omujja, sipiika wa palamenti Rebecca Kadaaga, kko…
Bya Ben Jumbe.
Ekitongole eky’omusalaba omumyufu kisabye waberewo enkola empya eyitwamu okusonda musaayi oguludde nga gwabbula mu Uganda.
Kuno okuwabula kuggide mukadde nga omusaayi gufuuse gw'akusonda, songa era gukyagaanye okuwera.
Twogedeko ne Sarah Mutegombwa nga ono yaakola ku by’obulamu mu Red cross naagamba nti buli mwaka wabawo okusonda omusaayi kubanga buli lunaku egwanga lyeetaga omusaayi oguwereza dala unit…
Bya samuel ssebuliba.
Nga ebula mbale abaana batandike okudda mu masomero mu butongole, nate government erabude abazadde okwegendeteza amasomero gyebatwala abaana baabwe naddala ago agakyalemeddwa okufuna ebisanyizo ebyetaagisa.
Kuno okulabula kukoleddwa minister omubeezi atwala eby’enjigiriza Dr John Chrysostom Muyingo nga bino abyogeredde Ziroobwe Ku kyalo Ngalonkalu.
Minister Muyingo yategeezezza nga amasomero mangi agalemeddwa okutuukiriza ebisanyizo kale nga gano…
Bya James Kabengwa
Oluvanyuma lw’amagye okukwata akulira ekibinja kya Boda boda 2010 Abdul Kitatat ko n'abalala 30 nga egubavunanibwa gwabutemu ko n'ebirara, ye minister akola ku nsonga z'obutebenkevu Gen Henry Tumukunde ategeezeza nga bwagenda okuwayaamu n'ebibinja byaba-bodaboda abaludde abanga nga bagamba nti baliisibwa akakanja.
Ono agamba nti aludde nga awulira nti police ebikirira emisango egibakolebwako, kale nga…
Bya Getrude Mutyaba
Tutegeezedwa nga e bbula ly’eddagala eriweweeza ku kawuka akaleeta mukenenya bwerituuse e Lyantonde, era nga mukaseera kano lifuuse lyakugabana.
Akulira eby’obulamu e Lyantonde Dr Okoth Obbo agambye nti singa gavument teevaayo newagira ensawo ya AIDS Trust Fund, abantu bangi bolekedde okufa.
Dr Obbo agamba nti omuwendo gw’abalwadde abajja okufuna eddagala ku ddwaliro mungi nnyo kyokka…
Bya Malik Fahad.
E Kalisizo wano mu Kyotera police eriko omusajja gw'ewonyezza okuttibwa abatuuze nga ono bamulanga gwakubba bodaboda
Mubiru Ronald ow'emyaka 28 omutuuze we Kijabwemi wano e Masaka yawonye okutibwa abatuuze bwebamusanze nga aba bodaboda ku mukolo gw'okuziika.
Tutegeezeddwa nga ono bwalabiriza abantu nga bagenze e magombe ye naabagula bodaboda naavuga, kyoka abantu abaabede okumpi nebakubye enduulu…
