Bya Ssebuliba samuel.
Tutegeezeddwa nga abade adumira police ye Buyende Muhammad Kirumira bwasazeewo okulekulira, nga agamba nti abakulu mu Police basusse okumuyiganya.
Kinajukirwa nti omwezi guno nga gwakatandika police yaggula emisango 6 ku Kirumira kyoka nga mikadde.
Emisango egy’ogerwako kigambibwa nti kirumira yagizza bweyali nga akyali Nansana mu mwaka 2013 ne Old Kampala mu 2014.
Kati ekiwandiiko kirumira kyatuwadeko,…
Bya samuel ssebuliba
Police mu district ye Kwen ku kyalo Kasiwo ekutte omusajja wa myaka 29 nga ono amulanze gwakudda ku mutabaniwe ow'omwaka gumu n'ekituntu namufumita ebiso ebimutidewo
Omusajja akwatiddwa ye Labu ismali, nga ono kigambibwa nti yageze mukyalawe taliiwo najjayo ekiso okukakana nga asse omutani ono Chemutai Regionese.
Ayogerera police mu kitundu kino Rogers Tayitika agamba…
Bya Malik Fahad Jingo.
E Butenga wano mu Sembabule police etandise okunonyereza kubantu abatanamanyika abakakanye ku nyumaba y'omutuuze nebagiteekera omuliro.
Enyumba eyayokeddwa ya Esther Namawanda omutuuze we Butenga wano mu Bukomansimbi.
Namawanda ono agamba nti abantu bano webaayokedde enjuuyi nga agenze kulima, agenze okudda nga enyumba ewedewo.
Lameck Kigozi nga ono yayogerera police yeeno akakasiza ebyabadewo, n'agamba nti okunonyereza…
Bya Moses Kyeyune.
Akakiiko ka Parliament akakola ku by’embalirira kawagidde ekya government okugatta ebimu kubitongole bya government okusobola okutaasa ku nsimbi eziyiika , kyoka nga ebimu bifanaganya emirimo.
Okusalawo kuno ababaka baakutadde mu alipoota ya budget y’omwaka gwa 2018-2019 nebagamba nti newankubadde kyali kyamugaso okutondawo ebitongole bino, naye kati bisusse obungi, kale nga byetaga lugata.
Wabula bano bagamba…
Bya Paul Tajuba
Kizuuse nga Uganda yayakafiirwa ebibira ebiweza ebitundu 30% mu myaka 20 egy’akayita
Kino ekyama kibotoddwa director akola kubutonde bwensi Paul Mafabi,- mukaseera kano nga uganda yetegekera okwegatta kunsi yonna okukuza olunaku lw’obutoonde bwensi.
Ono agamba nti newankubadde enkuba gyetufuna mu uganda ebitundu nga 40 % eva mu bibira, banna-uganda tebabirabyeemu kaabuntu bisaanyawo.
Ye minister wa uganda…
Bya Ruth Anderah.
Akuliira amagye gegwanga Gen. David Muhoozi alabiseeko mu kakiko akanonyerezza ku mivuyo egy'etaka , nga ensonga yakukozesa bubi taka lyamaggye .
Gen Muhoozi abadde awerekedwako ekiwanyi ky'abanamagye omubadde omuwandiisi w'enkalakarira Edith Butuuro wamu n'akola ku nsonga z'etaaka ly'amagye Lt Gen. Joram Mugume.
Mukwanja ensonga zze akakiiko kano tekakirizidwamu bamawuliire,wabula nga olufulumye ayogedde eri banamawuliire.
ono atugambye ngi…
Bya samuel ssebuliba.
Oluvanyuma lw'obunkenke obubadde mu gwanga lya Kenya wamu n'okwongezaayo okulayiira okuva mu December nga 12 2017 ,kyadaaki Raila Odinga amaze neyelayiiza nga omukulembeze omulonde ow'abantu be Kenya .
Ono mukulayira akwasiddwa ekitabo ekitukuvu mu langi eya kiragala songa ku lusegera wabadewo eyali omuyambiwe Miguna Miguna n'omubaka we Siaya James Orengo, Raila akubye ebilayiro bye…
By Damali Mukhaye
Olunaku olwaleero ministry ekola ku by'enjigiriza lw'efulumizza ebyava mu bibuuzo ebyakolebwa abaana abasoma ebyamikono, nga bino biraze nga abaana bano bwebaage enyo okubala noluzungu, kale nga kino kyabalemesa okuyita obulungi okutwaliza awamu.
Bwabadde afulumya ebibuuzi , Onesmus Oyesigye nga no yakulira ekibiina ekya Uganda business and technical examination board ekikola ogw'okugolola ebibuuzo bino ,…
Bya Steven Ariong.
Obunkenke buzeemu okuzingako ekitundu kya Karanmojja, nga kino kidiridde abalunzi b'ente abamanyiddwa nga aba Jie okuddamu okulwanagana n'amagye ga UPDF ababatangira okwetaba mu bubbi bw’ente.
Tutegeezeddwa nti abalunzi b'ente bano kati batandise okuteeka emisanvu mu makubo nga banyaga ente nadala mu district ye Moroto, Kotido ne Kaabong.
Capt Abert Arinaitwe nga ono yaduumira ekibinja ky'amagye…
Bya Samuel ssebuliba.
Mu gwanga lya Kenyaa ab'obuyinza bataamye okukakana nga baliko TV satu zebagye ku mpewo nga zino baziranze kwesiba ku kyakulaga butereevu ebigenda mu maaso kukulayira kwa Raila Odinga n’omumyukawe Kalonzo Musyoka.
TV eziigaddwa kuliko NTV- Kenya , Citizen ne Inoro TVs, wabula nga abazikulira batubuulide nti tebamaze nakufuna kulabula kwonna
Gyebuvudeko waliwo ekiwandiiko…
