Bya Ruth Anderah.
Omukyala nAmba 2 eyalumbye mujjawe mukyala mukulu naayasa esowaani n'ebikopo asimbiddwa mu mbuga zamateeka.
Fariiya Sheika ow’emyaka 28 nga munansi ya Canada avunaniddwa mu maaso g'omulamuzi we daala erisosoka ku city hall Patrick Talisuna nakiriza omusango naye nasaba ekisonyiwo.
Omulamuzi amuwadde ekibonerezo kyakumala myezi enna nga tazizza musango, era singa addamu okulumba mujjawe wakutwalibwa butereevu…
Bya Damali Mukhaye.
Ebikonde kate binyooke wano mu kisenge bakansala ba KCCA mwebatesereza, nga kino kidiridde abakulu okuva kiwayi eky’ebyekikugu okwagala okuva mu lukiiko luno bakansala nebabagaana.
Embeera okutaama kidiridde akola ku by’amateeka Omara Charles okutegeeza bakansala nti abakola ku by’ekikugu bonna balina okufuluma kubanga minister Betty Kamya abagambye nti ebigenda mu maaso ye tabimanyi…
Bya shamim Nateebwa.
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayega akuutidde abaana aba Buganda Royal institute abattikiddwa nti tebageza nebatinkiza olw'amabaluwa gebafunye, wabula bafube okuteeka munkula by’ebasomye olwo babeera bankizo eri abalala.
Bino katikiro ebyogeredde wano e Mengo bwabadde atikira abaana abasoba mu 1,200 abafunye amabaluwa gaabwe okuli dipoloma ne certificate.
Katikiro bano abagambye nti buli kadde bagwana bayaayanire…
Bya Ndaye moses .
Akakiiko akakola ku nsonga z’ebyokulonda katadewo olwanga March 15th nga olunaku olw'okulonderako omubaka mu Jinja East okw’okudibwamu .
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Justice Simon Byabakama ategeezeza banamawulire nti okusunsulamu abagenda okuvuganya kwakubaawo nga 14th February wali ku kitebe kya district ye Jinja.
Ono agamba nti okutimba enkalala z’abalonzi kugenda kubaawo okuva nga 12th - 21st…
Bya Ritah Kemigisa.
Ekitongole ekikola ku by'enguudo ekya UNRA kitegeezeza nga omulimo ogw’okugaziya oluguudo olwa Northern by pass ogwatandika mu 2014, nga gulina okuggwa mu 2018 ate bwekizuuse nga gwakuggwa mu 2020.
Buno obweyamo buwereddwa akulira eby'okukuuma enguudo mu kitongole kino Eng. Samuel Muhoozi, nga ono agambye nti guno omulimo gukandaliriride olw'okusomozebwa okutaasoka kulengererwawo
Ono agamba nti okulwawo…
Bya samuel ssebuliba.
Police mu district ye Kapchorwa ekutte omuvubuka Chemtai Enock ow’emyaka 24 nga n alangibwa gwakudda ku mugandawe ow’emyezi ena gyokka n’amutemako obulago.
Eno enjega ebadde ku kyalo Sukut mu gombolola ye Kawowo.
Tutegeezeddwa nti omuvubuka ono azuukuse mubudde obw’ekkiro nayingira mu kisenge ky'abazadebe omubadde n'omwana ono okukana nga amutemyeko omutwe
Abazadde bagamba nti tebayinza kumanya mutabani…
Bya Abubaker kirunda.
Police ekutte omusajja nga ono abadde agufudde muze okubba abatuuze nga yeefude kyabanzinga wa Busoga.
Akwatiddwa ye Siraje Bogere, nga ono abadde yaginga omukono gwa Kyabazinga n’atandika okutabaala amasomero nga yeefudde agaba basale.
Aduumira police ye Jinja Martin Mbabazi agamba nti omukulu ono abadde aliko abaana beyafunira busale mu masomero agawerako nga abalimbye nti ye…
Bya Ben Jumbe.
Gavumenti erabudde ebibiina ebivuganya government obutagezaako okwetantaala okutegeka emikolo gyonna egyabwe egy'amefuuga gegwanga.
Okulabula kuno kukoledwa minister akola ku nsonga z'obwapresident Esther Mbayo nga ebula olunaku lumu okutuuka kubikujjuko by'amefuuga eby'okubeerawo olunaku olw'okutaano nga 26th January 2017 .
Minister Mbayo ategezezza nga ebikujjuko by'omwaka guno bwebigenda okutegekebwa ku kisaawe ekya boma mu district eye Arua.
Ono…
Bya Samuel ssebuliba.
Karamoja ab’obuyinza bakutte ente 500 nga zino ziteberezebwaa okuba nti zibadde nzibe.
Ekikwekweto kino wekigidde nga police ekyalwana okukakanya abalunzi okuva mu Kenya abaludde nga banyaga ente mu uganda
Tw’ogedeko n’omubaka wa president mu district ye Abim Samuel Mpimbaza Hashaka, n'agamba nti ente zebakutte zibadde ziva mu Kotido , kyoka nga abalunzi okuva e Moroto…
Bya Malik Fahad.
E Lyantonde police ekutte abantu basatu nga bano bagambibwa okubaako kyebamanyi kukutibwa kw’omutuuze, nga ono omulambogwe gwasangiddwa nga gusuulidwa mu mazzi.
Omugenzi ayogerwako ye Godfrey Mwesigye nga ono yali mutuuze ku kyalo ky'emamba mu gombolola ye Lyakajura
Abakwatidwa bonna baggidwa ku kyalo Kyamba , police bwekitegedeko nti babade bekukumye oluvanyuma lw’okuzza omusango guno
Okunonyereza kwa police…
