Bya samuel ssebuliba.
Katikiro wa Buganda Charlse Peter mayega nate avumiridde emizze egy'okusambirira edembe ly'obantu, kko n'obutawangana kitiibwa okususse mu ugada, nga kuno okusinga kukolebwa ebitongole ebikuuma dembe.
Katikiro bino abyogerededde wano e Bulange e mengo mu Lukiiko lwa Buganda olutudde leero.
Mukwogera katikiro agambye nti kiruma okulaba nga abantu nadala abakulu mu gwanga bayisibwa nga eby'okutale ate…
Bya Sadat Mbogo
Kikakasiddwa nga eddagala eriweeweeza ku kawuka akaleeta mukenenya bwerikeeye mu district ey’e Mpigi nga kati abalwadde bamala ssabbiiti emu oba bbiri nga tebafunye ddagala lino okuva mu malwaliro ga gavumenti.
Dorothy Nassolo nga ono ayogerera ekitongole ekitakabanira okuyambako abantu b’akawuka ka mukenenya ekya NAFOPHAN, agamba nti district emaze kati abbanga lya myezi ena nga…
Bya Ritah Kemigisa.
Wano e Bukesa – Nakulabye agavaayo galaga nga ekitongole ekiketera amaggye ge gwanga ekya CMI nate kizeemu okulumba office zaba bodaboda 2010 e nadala ezosangibwa wano e Bukesa, era nebakwata abantu abawerako.
Kinajukirwa nti kino ekiwendo ky'atandikidde wakaliga era akulira ekibiina kino Abdul Kitata n'akwatibwa, songa neggulo amagye era gaalumbye wano e kabowa negakwata…
Bya Abubaker Kirunda.
Police eriko omusajja eyeyita omusawo ow'ekinansi gwetaasidiza okutibwa abatuuze abakambwe , nga ono bamulanga kusobya ku mwana wa myaka etaano gyokka.
Omusawo ono kigambibwa nti abadde yaweebwa akaana kano okukasawula, kyoka mukwogera ye agamba nti emizimu gyamulinyeeko negimulagira okukakabasanya eomwana ono.
Kati ono asabye Police okumusonyiwa kubanga teyabadde yekka emizimu gyamubade kujjoba.
Bya samuel ssebuliba.
Police mu district ye Kapchorwa eriko omusajja gw'ekutte nga ono kigambibwa nti aliko omukyala gweyasobyako mu mwaka oguwede era okuva olwo abadde aliira ku nsiko.
Omusajja ono Yeko George nga musawo ,kigambibwa nti nga akyakolera mu kwen district gyeyalina akalwaliro aka kwenne clinic and drug shop yasobya ku mukyala owe myaka 22 eyali azze…
Bya Ndaye moses .
Ekitongole ekya KCCA kiriko amateeka amakambwe gekifulumizza , nga gano gegalina okugonderwa bonna abatunda enyama mu kampala wano.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire, minister omubeezi owa kampala Benn Namugwanya agambye nti kaakano buli atunda enyama alina okubeera ne fridge , songa mungeri yeemu balina okuba n'amazzi amayonjo sosi kukozesa dagali elyobulabe eri abantu okugoba…
Bya Shamim Nateebwa.
Ekyuma ekikalirira kookolo kimaze okutongozebwa wano e Mulago, nga kino kirudde ebanga nga kirindiriirwa.
Bwabadde eyogerera mu kotongoza ekyuma kino,ssabaminister wa uganda Dr Ruhakana Rugunda agambye nti kino kigenda kukendeeza ku nsimbi ezibadde zigendera mu banayuganda abatwalibwa e bunayira okujanjabibwa.
Ono agambye nti buli mwaka uganda ebadde efiirwa ensimbi ezitagambika mu kutwala abantu bano e…
Bya samuel ssebuliba
E kitongole ekya kalisoliiso kitegeezeza nga bwekigenda okukolagane ne banka ez'enjawulo butereevu okusobola okulondoola ensimbi ezitambuzibwa eziyinza okuba ez'obulabe eri egwanga.
Twogedeko n’akulira ekitongole kino Justice Irene Mulyagonja n’agamba nti babade bakolagana n’ekitongole ekya Financial intelligence authority okubega banka zino , wabula kaakano baagala kwetuukira bakolagane ne banka z'enyini okumanya okupanya ensimbi za government…
Bya Damali Mukhaye.
Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni ategeezeza nga bwagenda okutandika okuteeka omukono kubiragiro eby’okuteeka abantu ku kalabba, nadala abaludde nga bali kibonerezi kino ate nga sibetegefu kukyusa mupisa zaabwe.
Bwabadde ayogerako eri abaserikale abafulumizddwa leero e Luzira, president agambye nti aludde nga talagira bantu kuteekebwa ku kalabba, wabula kakano webituuse alabika nga agenda kukyusa munkola.
Ono…
Bya Malik Fahad
Abatuuze be Lwabange mu kalungu district wetwogerera nga bali mu kusatira, nga kino kidiridde embwa enkambwe okulumba ekitundu kino
Ebimu ku byalo ebisinze okukosebwa kuliko Kigaju, ne Bugomola nga bino byona bisangibwa mu gombolola ye Lwabenge.
Tutegeezedwa nti embwa zino zitambulira mu bibinja ,era nga kakano zigenda ziruma buli gwezisanze omuli abatambula ekiro, kko n'abaana…
