Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Abaana abato abanywa omwenge beeyongedde.

Bya Shamim Nateebwa. Ekitongole ekya Muvubuka weyogerera ekya straight talk foundation kitegeezeza nga bwewetagawo amateeka agagenda okukoma ku nkozesa y'omwenge wano mu uganda. Twogedeko n’akulira straight talk foundation -Suzan Ajok n'agamba nti mu uganda abantu abakozesa omwenge  bakola ebitundu nga 71.6% , kyoka nga bano bebaana abali wakati w’emyaka 10-17  okusinziira kukunonyereza okwakolebwa mu mwaka gwa 2014. Ono…

Read More

Eyali omubaka omukyala owa Jinja afudde.

Bya Steven Otage.   Amawulire g’etwalafuna galaga nga eyaliko omubaka omukyala owa Jinja district bwakedde okufa- nga entabwe evudde kukya oxygen kubula mu malwaliro. Omukyala ono afiiride Jinja, nga ab’oluganda bwalwana okunoonya amalwaliro agayinza okubayamba okubawa oxygen. Twogedeko ne muwala w’omugenzi nga ono ye Sylvia Kyansuti  n’agamba nti omukyala ono yalumbiddwa ekirwadde kya pulesa  mu budde obw’ekiro  nebamudusa…

Read More

Abawangaliira mu bwavu beyongedde mu Uganda

Bya Samule Ssebuliba Ettundu tundu eryabantu abawangaliira mu bwavu obusukiridde beyongedde nebatuuka ku 21.4% mu mwaka gwa 2016/17 okuva ku 19% nga bwegwali mu 2012/13. Wabula yyo mummabuka ge gwanga obwavu mu banan-Uganda bukendedde okuva ku 43.7% okudda ku 32.5%. Bwabadde afulumya alipoota gyebakungaanya mu mwaka 2016/17, ssenkulu wekitongole kyebibalo mu gwanga ekya Uganda Bureau of Statistics Paul…

Read More

Kibuule yegaanye okubba ettaka

Bya Ruth Anderah Olwaleero minister omubeezi owamazzi Ronald Kibuule yeeganye ebimwogerwako nti yoomu ku ba mukoko mu kubba ettaka e Buikwe. Kibuule olwalero alabiseeko mu kakiiko akatekebwawo okunonyereza ku mivuyo gye ttaka, neyegaana okubaako ky’amanyi ku bigambibwa nti yabba ettaka nokutulugunya abantu be Buikwe, natuuka nokutta omuntu. Kibuule okuyitibwa kyadiridde namuwandu omu okuva e Buikwe okutegeeza akakiiko nti…

Read More

Basatu Bafiridde mu kabenje

Waliwo akabenje akagudde mu district ye Kiruhura bus ya companya ya Kasaba, namba UAH-319/T bwegudde abantu 3 nebafiirawo, ate abalala 8 nebaddusibwa mu ddwaliro e Masaka, ngokuwona emagombe banasimbayo kitooke. Richard Bamwine aduumira poliisi yebidduka mu district ye Lyantonde akakasizza akabenje kano n’agamba nti abagenzi tebanategeerekeka mannya gaabwe nebiralala ebibakwatako. Omu ku ba kawonawo ababadde mu bus…

Read More

Kooti eragidde abayizi abagobwa ku UCU babaliyirire

Bya Ivan Ssenabulya Omulamuzi wa kooti enkulu e Mukono, Margret Mutonyi alagidde ettendekero lya Uganda Christian University okuliyirira abayizi babiri bebagoba mu bukyamu, nokubazza ku ttenedekero basome. Abayizi bamateeka Simon Ssemuwemba ne Yasin Ssentumbwe batwala ettendekero mu kooti mu April wa 2016, bwebabagoba olwokukuma omuliro mu bayizi baanbwe okwekalakaasa nga bawakanya ekyali kikoleddwa okwongeza ebisale. Kooti eragidde bano…

Read More

Kaihura Yegaanye Okuyimbula SOBI

Bya Kyeyune Moses Ssabapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura asabye abantu babulijjo, okwesammula ebyogerwa nga Paddy Sserunjogi bweyayimbuddwa. Sserunjogi, amanyiddwa nga SOBI yakwatibwa ku Bbalaza, mu kikwekweto ekyawamu. Bwabadde alabiseeko mu kakaiiko ka palamenti akebyokwerinda nesonga zomunda mu gwanga, omubaka we Butambala Muhammad Muwanga Kivumbi atadde Kayihura ku nninga okunyonyola kungeri omusajja ono, naye kennyini eyelangiridde nti mumenyi…

Read More

Kampala ekyali District

Bya Ruth Anderah Kooti eya ssemateeka olwaleero eramudde nti ekibuga Kampala kikyatwalibwa nga District. Abalamuzi okubadde Steven Kavuma, Richard Buteera, Solomy Bossa, Cheborion Barishaki ne Paul Mugamba, balamudde obutesalamu ku musango gwa munna FDC, omubaka wa Kampala Nabilah Nagayi Ssempala. Okusinziira ku nyukakyuka ezakolebwa, Kampala yasumisibwa okudda ku mutendera gwekibuga oba Capital city wabula newasigalawo ebiffo ebyaliko akabuuzo. Bano…

Read More

Omusajja atemye e miranga -omwana gw’abadde alabirira siwuwe.

Bya Ivan Ssenubulya. MUKONO: Ssemaka akubidde emiranga ku poliisi  oluvanyuma lw'eyali mukazi okukamutema nti omwana abadde abayombya nti ssi wuwe. Ibrahim Musisi nga mutuuze ku kyalo Butebe yaakabidde amaziga ku poliisi e Mukono oluvanyuma lw’eyali Mukazi we Patricia Birungi okuvayo n'amutegezza nti omwana wabwe Leticia Kinconco ow'emyaka 11 ssi ye kitaawe. Omukyala ono abade yanoba naaleka omwana ono…

Read More

E masaka e nsimbi z’obukuumi President aziweze.

Bya Getrude Mutyaba. E masaka Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ayimirizza enkola y’okusolooza ensimbi ku bantu saako n’okuteekawo abakuuma ebyalo. Bino bibadde mu bubaka bwe bw'atisse Minister Omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z’omunda mu ggwanga Obiga Mario Kania . Minister Kania asinzidde mu lukiiko olw'etabiddwamu abakulembeze ba zi district za greater Masaka saako n’abebyokwerinda mu Bukomansimbi town council n’agamba…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play