Bya Ivan Ssenabulya
Mu bantu abasoba mu 300 abawereddwa emidaali olunnaku lwe ggulo ku mikolo gyabazira be gwanga, abayimbi abamu basimiddwa nebanakatemba olwobuwereza bwabwe eri egwanga era nebalangirirwa ngabazira.
Kuno kubaddeko Presidenti wabayimbi Andrew Benoni Kibuuka, munnakatemba Abbey Mukiibi, Kato Lubwama Paul, Charles James Ssenkubuge nabayimbi ba Kadongo Kamu, okubadde Lord Fred Ssebatta, abagenzi Christopher Ssebadduka, Haman…
Bya Ivan Ssenabulya
Omulamuzi wa kooti enkulu e Margret Mutonyi alagidde government okuliyirira omusibe owemyaka 25 eytulugunyizibwa nensimbi za kunio obukadde 200 olwobuvune obwamanayi bwebamutekako.
Henry Muloki omutuuze we Namatooke mu ggombolola ye Busamuzi mu district ye Buvuma yakwatibwa ku misango gyokukujjula ebitanajja bweyawasa akawala aktto akemyaka 13 akaali kavudde mu ssomero mu mwaka gwa 2012.
Ono kati…
Bya Ruth Andera
Kooti enkulu mu Kampala ewadde ssabwlererza wa gavumenti ne Bank ya Uganda enkulu ennaku 15 zokka okutekayo okwewozaako kwabwe mu kooti eno mu buwandiike, ku musango ogubavunanibwa olwobulagajjavu bwebafuuka kyesirikidde abavubuka ba Rich Gang bwebamansa ensimbi mu ntaana jjolyabalamu mu kuziika omugagga Ivan Ssemwanga ekimenya amateeka.
Kino kidiridde Robert Senfuka, okuddukira mu kooti ngayagala…
Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka wa munisipaali eye Mukono Betty Nambooze alabudde nga bwagenda okuwandikira ssababalirizi webitabo bya Government ngayagala atunule mu nsasanya yensimbi mu kibiina kyabwe ekya Democratic Party.
Ono agamba obukulembeze bwandiba nga bulina engeri gyebubulankanyizaamu ensimbi.
Nambooze olunnaku olwe ggulo yatuzizza olukiiko lwabamemba e Mukono ngali wamu nomubaka we Masaka Mathias Mpuuga okwongera ku byenfuna bya…
Banannyini bizimbe wano ku Centenary Park bavudde mu mbeera amakya ga aleero olwebizimbe byabwe ebigenda mu maaso okusanyizibwawo.
Kino kidiridde abakozi bekitongole kyebyenguudo nabekitongole kyamazzi ekya okulumba ekibangirizi kino, nebatandika okukoonakoona ebizimbe okuyisaamu emiumu gyanmazzi.
Kati akulira Nalongo Estates Sarah Kizito Nyakaana, ngali wamu nabamu ku bakiise mu lukiiko lwekibuga, ategezezza nti baali bakanya nekitongole kya KCCA,…
Bya Magembe Ssabiiti
Abazadde nabayizi ku somero lya Mubende-Public-Modal P/S basobeddwa oluvanyuma olw’omuliro okusanyawo ekisula kyabayizi abalenzi
ebintu bya bayizi byonna nebisanawo.
Director we somero lino Magret Zziwa ategezeezza nti tebanazuula kivuddeko muliro guno, wabulanga batebereza nti wandibaawo omwana eyabadde asigadde mu kisulo nabaako byayonoona.
Ebintu byabayizi omuli ebitabo, engoye, ebyokulya nemifaliso byona bisanyewo.
Abazadde kati bategezeezza nga bwebatalina nsimbi
zakudamu kugulira baana era bandiwaliririzibwa okubatuuza awaka.
Bya Moses Ndhaye
Oluvanyuma, lwo'kulamaga olunnaku olwe gulo namungi womuntu bweyeyiye ku biggwa byabajulizi e Namugongo okujjukira abajjulizi ba Uganda abafirira eddiini yaabwe, abasinga kati bakyasobeddwa.
Kati omusasai waffe atuseeko e Namugongo amakya ga leero, wabula bangi ku balamazi bakyasobeddwa, abamu tebalina ssente za ntambula, ate abalala abaabwe bababuzeeko.
Kuno kwabadde kulamaga kwa mulundi gwa 132, okuva abajjulizi…
Bya Ivan Ssenabulya
Akulira ekiwayi kya kereziya katulika eyobuvanjuba mu Uganda, eya Evangelical Orthodox Catholic Church, Rev. Bishop Tom Kiiza Ssebayirwa okuva e Fortal Portal alangiridde ekkanisa ya Mamre Prayer Center e Namugongo ngekifo ekyolamagiramu buli mwaka eri abagoberezi benzikiriza eno.
Abakiririza mu kereziya eno bakunganidde ku kanisa eno nebetaba mu kusaba okwatagekeddwa Father Jacinto Kibuuka okusaba…
Bya Ivan Ssenabulya
Olunnaku olwe ggulo, ngenkumi nenkumi zabalamazi beyiwa ku biggwa byabajulizi okulamaga okujjukira abajulizi ba Uganda e Namugongo okunyweza okukiriza kwabwe mu Katonda, yye Omuyimbi Tendo Tabel amanyiddwa nga Lady Titie yabadde akuba birayiro okufumbirwa.
Ono yagattiddwa nomusubuzi we Masaka Tadeo Sserunjoji nalayira okubeer mukyala we, embaga eyabadde mu kanisa ya Masaka Pentecostal Church (MPC)…
Bya Ivan Ssenabulya
Omuyimbi Lady Titie Tendo Tabel amanyiddwa nga Lady Titie ngono era mukozi ku CBS neku NBS akubye ebirayiro mu bufumbo olwaleero.
Ono kitegezeddwa nti agatiddwa mu bufumbo e Masaka, oluvanyuma lwamawulire agabadde gayitingana ngono bwabadde agenda okufumbirwa.
Amawulire agava e Masaka galaga nti ono afumbiddwa Tadeo Sserunjoji, omusubuzi we Kimanya, e Masaka nga batuuse ku…