Bya Shamim Nateebwa
Omuvubuka afumise muganda we ekiso n’mutta oluvanyuma lwokumutebereza nti abade asinda omukwano ne mukyala we.
Okusinziira ku Pamera Achan owemyaka 23 agamba omwami we Edward Kyakuwa, omutuuze w’e Kazo Angola mu division ye Kawempe yakomyewo awaka namusanga nga banyumya ne Ben omugenzi kati wabula ye natandiika okubakuba ngabalumiriza okubasanga nga basinda omukwano mu buliri.
Agamba…
Bya Ruth Andera
Kooti ejjulirwamu eriko ababaka babaliko obulemu babiri begobye mu palalmenti ensonga, lwabutaba na mpapula za buyigirize nokugulika abalonzi.
Abababka bano abajja ngabatalina kibiina kyonna, kuliko Norkrach Wilson abadde akirira abaliko obulemu mu mambuka ge gwanga ne Hood Katuramu owobugwanjuba bwe gwanga.
Abalamuzi ba kooti ejjulirwamu 3 okuli Remmy Kasule, Elizabeth Musoke ne Catherine Bamugemereire basizza…
Bya Ritah Kemigisa
President wekibiina kya Uganda People’s Congress gwebayuuyayuuya Jimmy Akena yegaanye ebyogerwa nti aliko olukwe lwaluka okutnda ekibiina kya UPC eri NRM.
Bbannakibiina okuva mu kiwayi kye kyennyini nga bakulembeddwamu Higenyi Kemba akulira emirimu mu UPC abavuddemu omwasi nga bagamba bagala Akena alangirire nti yegasse ku NRM wabula bbo abalekere ekibiina.
Bano bagamba Mwami Akena aliko enkiiko ezekyama zatuuza…
Bya Shamim Nateebwa
Okulumbibwa kwolubiri lwobwakaba bwa Buganda e Mengo kwaza nnyo Obuganda emabega nga kyekisera abantu ba Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 okukola ennyo okuzza Buganda ku ntiiko.
Bino byebimu ku bigambo bya Supreme mufti wa Uganda Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa bwabadde akulembeddemu okusala okwokujjukira emyaka 51 bukyanga eyali omukulembeze we gwanga Milton Obote alumba…
Bya Benjamin Jumbe
Akakiiko akebyempuliziganya mu gwanga aka Uganda communications Commission kategezezza nga bwekalagidde kampauni zamasimu zonna okuzaako essimu ezitali mpandiise ezabadde zijjiddwa ku mpewo.
Kino kizzwe oluvanyuma lwekiragiro eyayongezaayo ssalessale okuukira ddala ngennakzu zomwezi 30 mu mwezi gwomunaana.
Kati ssentebbe wakakiiko kebyempuliziganya aka UCC Godfrey Mutabazi abadde ayogerera mu lukungaana lwabananamwulire nategezezza nti essimu wakati wobukadde 2…
Waliwo omusajja eyewaddeyo ku poliisi mu district ye Palisa nga kigambibwa ono yakidde mukyala we namutta ngamulanga kumujjako kyayita eddembe lye okufuna akakboozi.
John Tukei kigambibwa yakidde mukyala we namutugmbula namutta ngoluyombo lwavufdde ku nsonga zamu kisenge.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Bukedi, Sowali kamulya ategezezza nti bano bafunamu obutakanya era omukazi gyebuvuddeko abadde yanoba ngomusajja…
Bya Moses Kyeyune, Sam Ssebuliba
Akakiiko ka palamenti ake ddembe lyobuntu akatekebwawo okunonyereza ku byokutulugunya abasibe e Nalufenya kategezezza nti kakizudde ng’abasinga ku basibe abagambibwa okutulugunyizibwa nti batulugunyizbwa tebanatwalibwa ku poliisi eno.
Ngennaku zomwezi 17th Mayi omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga yawa ababaka abatuula ku kakiiko eddimu okunonyererza.
Kati bwabadde ayanja alipoota yakakiiko kano, ssentebe waako omukaba Jovah…
Bya Damalie Mukhaye
Waliwo ekibinja kyabannakibiina mu UPC nga kiva munda mu kiwayi kyomubaka wa munisipaali eye Lira Jimmy Akena ekimukyukidde nga kigamba alina olukwesikwesi okutunda ekibiina eri ekibiina kya NRM.
Bano bakulembeddwamu akulira emirimu gyekibiina ku UPC, Higenyi Kemba ngono ategezezza bannamwulire nti Akena aliko enkiiko ezekyama zeyetabamu nomukulembeze we gwanga Yoweri Museveni mungeri yokukuta.
Bano bagala…
Bya Damalie Mukhaye
Ssabapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura talbiseeko mu maaso gakakiiko ke ddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Commission gyabadde asubirwa okunnyonyola ku nkola ya poliisi nebigambibwa nti batulugunya ababa bateberezebwa okumenya amateeka.
Gen Kayihura, abadde wakulabikakako mu kakiiko nomuddumizi wagye lye gwanga, Gen David Muhoozi nakulira ebitongole ebikessi, Col Abel Kandiho okubaako byebanyonyola.
Kati bwabadde…
Bya Ivan Ssenabulya
E Mukono ku kyalo Nsube mu gombolola yamasekati gekibuga, waliwo omusajja abutikiddwa ettaka mu kirombe kyamayinja.
Junior Kazibwe abadde atemera mu myaka 35 omutuuze ku kyalo kino, olwaleero lwakedde ngolunnaku olulala wabula tazibizza.
Ono ettaka lubumbulukuse ngali mu kinnya ne banne ababalala abasimattuse wabula yye tawonye.
Poliisi ye Mukono ezze nesima okujjayo omulambo negutwalibwamu gwanika mu…