Bya Gertrude Mutyaba
Omumyuka womukulembeze we gwanga Edward Kiwanuka Ssekandi ayogedde ku bibaluwa ebitiisatiisa ebyamusulirwa mu mu maka ge.
Sekandi asinzidde ku gombolola e Kabonera mu district ye Masaka nasaba abakuuma ddembe okwongera amaanyi mu mulimo gwabwe.
Agambye nti kno kitadde obunkenke mu bantu.
Gyebuvuddeko abantu abatanategeerekeka basuula ebibaluwa mu maka ga Ssekandi agasangibwa mu Kizungu ku mu kibuga…
Bya Ruth Andera
Abantu 5 kwabo abangi abakwatibwa ku byekuusa ku kutemula eyali omwogezi wa poliisi mu gwanga, omugenzi Andrew Felix Kaweesi bawawabidde ssabawolererza wa gavumenti mu kooti enkulu olwokubatulugunya nebafeenya bwebakwatibwa nebatwalibw aku poliisi ye Nalufenya mu district ye Jinja.
Abantu bano 5 bakulembeddwamu Godfrey Musisi Galabuzi ngono ategezezza nti ku makya ngennaku zomwezi 23rd March police…
Bya Rita Kemigisa
Muwala wo’mugenzi Boniface Byanyima, Winnie Byanyima ngera ye ssenkulu wekitongole kya Oxfam International mukyala wa Dr. Kiiza Besigye alabudde gavumenti ya NRM obutagezaako kutigatiga ssemateeka we gwanga kulwebigendererwa byabwe kyayise okweremeza mu buyinza.
Winnie Byanyima bino abyogeredde mu kuziika kitaawe, Omugenzi Boniface Byanyima wali ku kyalo Ruti mu district ye Mbarara.
“Obungi bwababaka NRM mu…
Bya Ivan Ssenabulya-Mukono
Abaami balabuddwa ku bwenzi nti kikosa amaka era tekiwa baana kyakulabirako.
Omulabirizi wa West Buganda, George William Kambugu yawadde obubaka buno.
Mungeri yeemu, akulira abasajja abafumbo e Mukono mu bulabirizi bwe kanisa Ya’ba Advent mu masekati g’egwanga Apollo Mubiru ategezezza nti obuvunayizibwa bwokutereza amaka bwa buli muzadde.
Bino bibadde ku kanisa ya SDA e Nasuuti mu kibuga…
Bya Ivan Ssenabulya
President Museveni ayongedde okungubagira eyali ssentebbe we kibiina kay Dp mu gwanga Boniface Byanyima.
Mububaka bwe obumusomedwa minister wensonga ze'bweru we gwanga Sam Kuteesa, president Museveni agambye nti omugenzi yali mpanji nenne mubyenkulakulana okuli omutindo gwebyenjigirizza byegwanga nebilala binji okubitakabanira bweyali akyali omubaka mu palamrnti ngakirira Ankole North East mu palamenti.
President Museveni ayongeddeko nti bazadde be bebalonda…
Bya Ivan Ssenabulya
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 alaze obukulu bwobumu mu bukulembeze nti kyekijja okuyamba okumalawo ebizubi ebiruma bann-Uganda.
Buno bwebubaka bwomutanda bwabadde alabiseeko eri Obuganda wali ku mbuga ye ssaza lye Mawokota e Butooro.
Ssabasajja yakulembeddemu emikolo gyolunaku lwa gavumenti ezebitundu mu bwakabaka bwa Buganda olwomwaka guno.
Empologoma, ekalatidde Obuganda nti buvunayizibwa bwa buli Muntu obutasirikira…
Bya Damalie Mukhaye
Police eriko abantu 6 Abamasaba nga bano babadde mu kibinja nga bakaalakaala mungeri yokwekalakaasa olwebigambo bya Minister webyobuwangwa Peace Mutuuzo eyavumirira Emablu jjolyabalamu.
Abakwate kuliko Twaha Kriss Namakola, Jeff Bogere Mukhwana, Jastus Masaba, Daisy Nagudi, Clet Masiga nomulala ategerekese nga Liz nga bakwatiddwa nga bolkere Namboole.
Mu kiseera kino bakumibwa ku poliisi ya Jinja Road.
Bibo…
Bya Shamim Nateebwa
Ssabasajja asasudde ebbanja ery'obukadde 27 ezibadde zibanjibwa Nnaalinnya Beatrice Namikka eryamuzalidde leenya okutuuka okumusiba mu kkomera e Luzira era omumbejja ayimbuddwa.
Nnaalinnya Namikka yatwalidwa mu kkomera e Luzira gye yasuze ekiro ekyakeesezza ku Olwokutaano ngabadde wakwebakayo emyezi egyiwera.
Nalinnya yavunaniddwa mu kkooti olwokulemererwa okusasula ensimbi ze yaggya ku bantu be yaguza ettaka erigamibwa okuba nti…
Bya Shamim Nateebwa
Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, agenda okulabikako eri Obuganda olwaleero, ngakulembeddemu okukuza olunnaku lwa Gavumenti ezebitundu mu bwakabaka bwa Buganda olukwatibwa buli ngennaku zomwezi 20th mu mwezi gwokutaano.
Emikolo gyomwaka guno gikwatoiddwa Butooro ku mbuga ye ssaza lye Mawokota.
Olunnaku luno lukuzibwa mu ssaza eribeera lyawangudde empaka zamasaza mu nsonga zenkulakulana…
Bya Moses Kyeyune
Essiga lya gavumeneti erifuga erya Executive bagamba betegese okweyanjula mu kakiiko ka palamenti akamateeka.
Kino kikakasiddwa Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa.
Nankabirwa abadde ayanukula ku kiragiro kyomuubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu Rebecca Kadaga, Minister webyamwulire Frank Tumwebaze okulabikakako eri akakiiko kamateeka olwokujemera ekiragiro kya palaementi nebalyoka basalako essimu za'bantu songa palamenti yabadde eragidde ssalessale eyongezebweyo…